TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okugenda mu kkooti nasooka kulemesebwa magye - Muka Kitatta

Okugenda mu kkooti nasooka kulemesebwa magye - Muka Kitatta

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2018

SUMAYA Ninsiima, mukyala wa Abdallah Kitatta ategeezezza nti okwekubira enduulu mu kkooti yasooka kugenda mu ofiisi ya Gen. Kale Kayihura gye yava n’agenda ku ofiisi z’amagye e Mbuya wabula ne bamugoba.

Turn 703x422

Ninsiima, muka Kitatta.

SUMAYA Ninsiima, mukyala wa Abdallah Kitatta ategeezezza nti okwekubira enduulu mu kkooti yasooka kugenda mu ofiisi ya Gen. Kale Kayihura gye yava n’agenda ku ofiisi z’amagye e Mbuya wabula ne bamugoba.

Yagambye nti Kayihura yasooka kumutegeeza nti Kitatta tali mu mikono gya poliisi olwo kwe kugenda mu magye ate nabo ne bamugoba nti bba tebamulina era kati ziweza ennaku munaana nga tamanyi kimufaako.

Yagambye nti yasazeewo agende mu kkooti naye era tebannaba kumuyamba era singa tafunayo buyambi agenda kweyongerayo mu bitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu yeekubire enduulu.

Kyokka eggulo we bwazibidde nga bba amaze okusimbibwa mu kkooti eyatudde mu nkambi y’amagye e Mbuya.

Eggulo omukyala ono yayogedde ne Bukedde ku kkooti enkulu esangibwa ku Twed n’annyonnyola bw’ati; Kati ennaku munaana nga taata w’abaana tewali mmemba wa famire yenna amulabyeko wadde amanyi kituufu kimukwatako.

Bwe yakwatibwa nasooka ne nninda nga tulowooza nti nga bwe baatugamba nti banoonyereza bayinza okuba nga bakyalina ebyabwe bye baagala okuzuula. Ennaku zaayitawo nga tukyalinda.

Nasalawo ne hhenda ku ofiisi ya Kayihura n’endala okunoonya ku baze. Bahhamba nti bo tebamulina era tebamanyi wadde ebimukwatako.

Navaayo ne hhenda ku ofiisi y’omuduumizi w’amagye, Chief of defence Forces [CDF] nayo bahhamba nti tebamulina.

Nasazeewo okwekubira enduulu mu kkooti ngisabe ewalirize amagye agamulina gamutwale mu kkooti kubanga bonna bamwegaana. Mu ggwanga mulimu amateeka lwaki ku Kitatta tegakola?

Lwaki bamumaza ennaku munaana nga talabye ku bantu be wadde okuwulira ebimufaako?

Njagala kkooti eyise ekiragiro bamuleete mu kkooti oba alina emisango bamuvunaane oba talina bamuyimbule.

Oyo taata w’abaana mmanyi bulungi abamulina bamulwanirako ntalo ye talina musango. Sigenda kukoowa kunoonya baze.

BAAGALA MUSEVENI ABIYINGIREMU

Abamu ku bakulembeze ba NRM ku lukiiko olufuga Disitulikiti y’e Lubaga beegasse ku mukyala Kitatta ne bagenda ku kkooti ya Twed mu Kampala okulindirira ssentebe waabwe n’okusaba bamuleete mu kkooti basobole okumweyimirira.

Omumyuka wa ssentebe, Muky. Justine Buchana yagambye nti, “Lwaki omuntu asibibwa mu kifo ekitategeerekeka ne bagaana okukkiriza wadde omukyala okumulaba!

Twagala bamuleete tumuyambe oba alina emisango avunaanibwe,” Buchana bwe yagambye. Ate omwogezi wa NRM e Wakiso, Muwanga Lutaaya, yagambye nti Kitatta mukulembeze munnaabwe gwe bateekwa okuyamba ng’agudde mu bizibu. “Oba alina emisango bamutwale mu kkooti avunaanibwe.

Tetusobola kukkiriza magye kuwamba bitongole bya Gavumenti byonna ate nga kkooti ekola.

Ssentebe wa takisi mu kibiina kya UTRADA, Mustafa Mayambala yakulembedde banne ne bawerekera Muky. Kitatta ku kkooti n’ekigendererwa ky’okumuyamba kubanga wadde Kitatta ayinza okuba n’emisango naye ekiseera kino atwalibwa ng’ateeberezebwa.

“Bamuleete mu kkooti ekakase nti alina emisango naye si kumukuumira mu mbeera gye tutamanyi,”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.