TOP

‘Kitatta babadde bamuyisa nga mutujju’

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2018

ABASAJJA be baasibye ne Kitatta mu kaduukulu k’amagye bagamba nti engeri mukama waabwe gye bamuyisaamu mu kkomera eringa ya basibe abavunaanibwa obutujju.

Kita 703x422

Omu yategeezezza nti okwawukanano n’abasibe abalala, ennaku mukaaga ze baamazeeyo, mukama waabwe Kitatta abadde asiiba ku njerege era nga kwe bamusuza. Kitatta era nti baamumaza ennaku ssatu ng’ali ku mpingu ate nga ku magulu kuliko enjegere.

Frank Makumbi omutuuze w’e Mutundwe yagambye nti essaawa zaali nga 2:30 ez’ekiro ku Lwomukaaga ng’ava kukola akimye mmotoka ye ekika kya Pajero UAG 642H gye yali alese ng’eyozebwa okuliraana ofiisi za Bodaboda 2010.

Yagambye nti engeri gy’atalina kakwate ku Bodaboda 2010, yali tamanyi bigenda mu maaso era yeekanga abaserikale bayingirawo mu mmotoka ezaaliko n’obugombe.

Attottola bw’ati: Abajaasi emmotoka baazibuukako zikyadduka ne bakwata buli muntu eyaliwo era nange mwe bantwalira.

Bwe nzijukira amaanyi abajaasi ge baakozesa mu kutukwata, nneebaza Katonda nti kati nnayimbuddwa; nnali sikisuubira.

Mu kutukwata waliwo omusajja eyajja kyokka nga buli gw’asongako, gwe batikka ku kabangali y’amagye era nange omusajja oyo yansongamu ne bantikka.

Simanyi kwe yasinziira kubanga nze emirimu gyange gya kutunda ddagala.

Emmotoka zaasimbula ne batuyisa e Kampalamukadde, Wandegeya, Lufula, Bugoloobi ne batutuusa e Mbuya ku CMI era awo we baatusibira ebigoye ku maaso.

Mu kaduukulu e Mbuya nnamalayo olunaku lumu naye lwankaluubirira nnyo kubanga entiisa eriyo nga teri akkirizibwa kwogera kigambo wadde ekimu era bw’owulira eddoboozi ng’omanya omujaasi abakuuma y’ayogedde.

Enkeera baasunsulamu abasibe abamu era nali wa mukisa nti nze omu ku be baatikka ku mmotoka ne tuweerezebwa e Kireka gye nafunira obuweerero okutuusa lwe nayimbuddwa.

KITATTA BABADDE BAMUKUUMIRA KU NJEGERE

Lawrence Ssendege omu ku bakulembeze ba Bodaboda 2010 yagambye nti baamusibira mu gusenge gumu ne Kitatta.

Yattottodde nti Kitatta babadde baamusibako enjegere ku bigere, emikono ne bagissaako empingu nti era kino yakyetegereza ennaku ssatu nnamba.

Wadde baali babasiba ebigoye ku maaso nga tebakkirizibwa kutunula, yebbiriranga olumu n’abiwenjulako katono okulaba embeera mukama waabwe gye yalimu.

Kino yakikolanga mu budakiika butono naddala wakati mu ttumbi ng’abaserikale tebalawuna nnyo mu kisenge.

Yattottodde nti: Abaakwatibwa ffenna baatwawulamu emirundi esatu abamu ne babasibira wansi mu ‘Go down’ Kitatta n’abalala ne batusibira mu gusenge ogunene ennyo ate abalala ne batwalibwa e Kireka.

Kitatta baamukolera oguntu ogulinga ogubookisi mwe babadde bamukuumira era nga bamussaako eryanyi ery’enjawulo ku basibe abalala.

Olumu babadde batuzunza ne batuggya e Mbuya ne batutwalako e Kireka, kyokka Kitatta nga tebamutwalirako era ebbanga lyonna abadde asigala mu kaduukulu ke e Mbuya nga bwe batuzza era tumusangamu nga bwe twamulese.

Tewabadde kwogera okuggyako ng’oyanukula ebyo byokka ebiba bikubuuziddwa.

Nze babadde bambuuza lwaki nneetaba mu kukuba emmotoka y’amagye amayinja n’eyatika endabirwamu nga mulimu omwana w’omukulu! Buli lwe babadde bambuuza nga mbategeeza nti seetabangako mu kikolwa ekyo.

Mu kuyimbulwa baatulaalise obutaggulawo misango era omu ku bajaasi yatutunuulidde ffenna n’atulaalika nti: Mugende ate tuwulire nti mututte emisango mu kkooti nti twabatulugunyizza, tujja kubakima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6