TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo ayamba ku maanyi g'ekisajja ? laba wano mu story y'omukenkufu Julius Nyanzi

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo ayamba ku maanyi g'ekisajja ? laba wano mu story y'omukenkufu Julius Nyanzi

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2018

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo ayamba ku maanyi g'ekisajja ? laba wano mu story y'omukenkufu Julius Nyanzi

Bio1 703x422

Omukenkufu Julius Nnyanzi

KUMPI buli omu amanyi ensujju, bangi bazirya buli lunaku, abamu baziryako ssunsa ate abalala biryo. Omuyimbi Basudde yaziyimbako ng’azisukkulumya ku muwafu olw’emigaso gyazo n’okukula amangu. Ensujju ebiriisa ebisinga by’efuna mu ttaka ebitereka mu biryo oba ziyite ensigo zaayo.

Ensigo zino ze zikyasinze okubaamu omunnyo ogwa ‘Zinc’. Naye ekibuuzo omunnyo guno tugufuna bwe tuzirya? Nedda, kuba ebiryo tubirya bisiike sso nga tetulina kubisiikako, kasita obisiika ‘zinc’ omutta. Olina kulya biryo bibisi, naye bw’osanga abirya alya bitono ddala ku biragirwa.

Buli lunaku olina okulya akataasa k’ebiryo ebibisi, naye si kyangu. Abantu abasinga mu Uganda amannyo malwadde agatasobola kumeketa biryo, ne weesanga nga tebalidde wadde embatu ebbiri! Aba prof. Bioresearch kwe kuvaayo ne butto w’ebiryo by’ensujju okulaba nga twanguyiza abantu okufuna ‘zinc’ gwe bandifunye nga balidde akataasa k’ebiryo n’onywa akagiiko kamu.

Twala ekyokulabirako ky’abaami abatawaanyizibwa ‘Prostate’ kano ke kanyama akali wakati w’akawago n’oluseke olufulumya omusulo, buli ‘zinc’ lw’akendeera akanyama ako kazimba, bw’aba amulina ayamba akanyama kano okukola omulimu gwako.

Omulimu gwako omukulu kwe kukola amazzi agasaabulula asidi abakyala gwe balina abayamba ku buwuka obutabakwata, wabula ate asidi attiramu enkwaso kasita omusajja aba nga talina kirungo kya ‘zinc’ kino kitegeeza nti ne bwe yeegatta aba tazaala kuba enkwaso bazookya olw’ebbula lya ‘zinc’. Ate ssinga eyongera okubulwa ekirungo kino, kitegeeza oyolekera okulwala kookolo w’obusajja.

Osobola okuteeka akagiiko ka butto w’ebiryo mu mmere oba mu mazzi agabuguma n’onywa, kuba akajiiko ka butto kamu keenkanaankana n’akataasa k’ebiryo ebibisi. lAbalya emmere ey’omu ttaka okugeza endaggu, kaama, kyetutumula n’endala erimu omunnyo gwa ‘zinc’. Kati ggwe akola ssente osobola okutandika okukamula butto okuva mu biryo ate ekirungi birabika.

Atasobola kubikamula bireete mbigule. lEbiryo biyamba ku bakyala abasiriiza entamu. Ekirungo kya ‘prolactin’ ssinga kiyitirira naddala mu bakyala abatannazaala kibaviraako abakyala okusiriiza entamu kyokka ate bwe bazaala kye kibayamba okuleeta amabeere.

Ebiryo biyamba ku bakyala okukendeeza ku kirungo kino ne batasiriiza ntamu. lButto ono ayamba okuggya ebiwuka mu lubuto mu baana n’abantu abakulu. Kuba ebiwuka bino bireetera omuntu obutaagala kulya, butto abigoba mu lubuto n’akomyawo omwoyo ogwagala emmere.

Ebiryo biyambako ku baana abalina emitima eminafu, egyo egitasobola kukuba emirundi 75 buli ddakiika, ssaako abatambula ehhendo empanvu.

Guyamba ku bantu abalina siikoseero kuba ‘zinc’ ayamba ebinywa okufuna amaanyi olw’ensonga abamulina ebinywa byabwe biba binafu.

lButto ayamba okugumya nnabaana ne kiyamba abakyala obutazaalira ku biso. lOmuntu atalaba bulungi, amuyamba ku maaso okugamalako ekifu.

Biyamba ne ku muntu okuba nga teyeeraliikirira, n’aba nga musanyufu ekiseera kyonna.

Abaami mujjukire nti buli lw’omalamu akagoba ofiirwa ‘zinc’ 80 ku 100, ekitegeeza nti ebiryo obyetaaga.

Alina ekirabo ky’emmere osobola okufumbisa butto w’ebiryo ate omukyala biyamba ku nviiri okuguma. lAyamba ku magi g’abakyala n’abaami okuba n’enkwaso ezitalina bizibu n’amaanyi g’ekisajja. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...