TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti asasulidde Moze Radio ssente z'eddwaaliro

Pulezidenti asasulidde Moze Radio ssente z'eddwaaliro

By Martin Ndijjo

Added 31st January 2018

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni awaddeyo obukadde 30 okujjanjaba omuyimbi wa Goodyfe Moze Radio.

Dt19liwxkaans1r 703x422

Ssente zino zigattiddwa ku bukadde 25 ezasoose okuweebwayo omugagga Bryan White eyakyalira Moze mu ddwaaliro lya Case Hospital ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde. Waliwo n'abantu abalala ssekinnoomu abazze bamudduukirira.

Ssaabavvulu Balaam Barugahara omu ku baatuukiridde amaka g’Obwapulezidenti nga banoonya ssente z'okujjanjaba Moze yategeezezza nga ssente zino bwe zasindikiddwa butereevu ku akawunta ya Case Hospital.

“Ekikwata ku ssente z'okujjanjaba Moze tetuli bubi nnyo wadde nga tukyetaaga endala kuba twabalirira obukadde 70, ate nga zikyayinza okusingawo.

Ekisinga obukulu kya kusabira Moze okulaba ng'adda engulu kuba embeera ye tennaba kutereera," Barugahara bwe yategeezezza.

Obuyambi bwa Pulezidenti bwacamudde abawagizi ba Moze n’abamu ku bayimbi era Catherine Kusaasira yategeezezza nti Pulezidenti kyakoze kirungi obuteerabira Moze kuba y'omu ku baayimba ‘Tubonga naawe’ oluyimba lwa NRM ne ku nkuhhaana za Pulezidenti bwe yali anoonya akalulu.

Ku Mmande embeera ya Moze Radio (Moses Nakintije Ssekibogo) yazzeemu okutabuka oluvannyuma lw’okufuna ‘yinfekisoni’ eyaleese ebiwundu ku mutwe gwe okusajjuka era abasawo ne baddamu okugaana abantu okugenda mu kasenge mw’ajjanjabirwa.

Wabula Balaam eggulo yategeezezza nti wadde yabadde tannaba kufunawo njawulo yamaanyi, lipoota abasawo gye baasembyeyo okubawa yabadde eraga nti buli kimu kijja kuba bulungi singa tewabawo bantu bamutaataaganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza