TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Afande Kirumira alumirizza Kitatta okutulugunya aba bodaboda

Afande Kirumira alumirizza Kitatta okutulugunya aba bodaboda

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

AMAGYE gategese okuleeta abajulizi abawerako omuli ne ASP Mohamad Kirumira okulumiriza Abdallah Kittatta n’abantu be ku misango gy’azze akola mu Kampala.

Wanga 703x422

ASP Kirumira

Ensonda mu magye zaategeezezza nti abantu bangi abalina obujulizi obuli mu kuteekebwteekebwa era omu ku bajulizi be batunuulidde ye ASP Kirumira eyalwa ennyo mu Kampala n’alaba emivuyo Kitatta gye yajjanga yeenyigiramu ne basajja be.

Ye Kirumira avuddeyo n’awa bwino ku Abdallah Kitatta, engeri gy’amaze ebbanga ne banne okuva mu 2010 nga bazza emisango n’okutulugunya aba bodaboda bannaabwe wabula nga tavunaanibwa.

“Kitatta ne banne okuli Joel Kibirige ne Atanansi Kafeero bazze bakuba abantu okuviira ddala mu 2010 kyokka tewali kyali kibakoleddwa,” Kirumira bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti mu kiseera ekyo yali ku poliisi ya Kampalamukadde ng’akyali [PC] nga yali akolera mu ofi isi ekola ku misango egy’okukubwa n’emirala emitonotono.

Agamba nti lumu ajjukira Kitatta ne banne okukuba abasajja okwali Kanyike Kiviiri n’abalala nga babalanga okugaana okwegatta ku kibiina kya Bodaboda 2010.

Yayongeddeko nti omusango guno omuwaabi wa gavumenti fayiro yagiyisa n’alagira batwalibwe mu kkooti wabula awo we byakoma era fayiro zirabika zaakwekebwa.

Wabula mu bitabo bya poliisi eby’enjawulo okuli SD, CRM oba MCB omuyingizibwa emisango ku poliisi ya Kampalamukadde, emisango gino mwegiri.

EMISANGO GYE BANZIGUDDEKO GIRINA EKIGENDERERWA

Kirumira mu kiseera kino awoza emisango mu kkooti ya poliisi egyamuggulwako bakama be kyokka agamba nti okumuvunaana mu kiseera kino kigendereddwaamu kumuswaza na kuggya bantu ku bya Kitatta ebigenda mu maaso.

Kirumira agamba nti mu April 2016 yawandiikira Kitatta ne banne ng’abalabula okukomya okukuba abaserikale ababeera bagenze okubakwata nga bakoze effujjo kubanga eno yalinga nkola y’abakulembeze b’ekibiina kya Bodaboda 2010.

Agamba nti kino nga kiwedde waayitawo ennaku ntono ne baddamu okukwata pikipiki za bannaabwe mu ngeri emenya amateeka era bwe yagendayo n’akwatayo pikipiki 10, n’aziddiza bannannyini zo, endala ze yali akutte bakama be (aba Kirumira) baamulagira aziddize aba Bodaboda 2010 era ne bakimusibako nti awagira oludda oluvuganya gavumenti.

Nti n’abamu bwe baakwatibwanga nga bakama be bamulagira abayimbule. Kirumira yategeezezza nti Atanansi Kafeero mu kiseera kino ali mu kwekweka alina emisango kumpi egisukka mu 100, kubanga Kitatta ye abadde abeera mabega ng’alagira bano era nga bwe bafuna obuzibu nga ye (Kitatta), y’akubira abapoliisi amasimu okubatiisatiisa babate era ne babayimbula olw’okuba batya okufi irwa emirimu gyabwe.

NEEWUUNYA EMISANGO GYE BANVUNAANA - KIRUMIRA

Kirumira yagambye nti yeewuunya egimu ku misango egyamugguddwaako omuli n’okutulugunya omu ku babbi kyokka ng’omubbi ono poliisi ya Flying Squad ye yamuttira mu bubbi.

Yalumirizza nti okumuggulako emisango mu kiseera kino bakama be balowooza nti y’awa amagye ebyama ebikwata ku Kitatta.

Yayongeddeko nti mu October wa 2016 bakama be baddamu ne bamuvunaana emisango emikadde kkooti gye yagoba edda wabula nga bakikola mu nkukutu naye ebya Kitatta bwe byavuddeyo ne bawalirizibwa bagiteeke mu mawulire basobole okuwugula abantu okuva ku biriwo.

Yagasseeko nti waliwo omusajja ayitibwa Pius Kato gwe bamuvunaana nti naye yamutulugunya nti kyokka omusajja ono Flying Squad yamukuba amasasi e Bweyogerere ng’abba ku ssundiro ly’amafuta kyokka naye bamumuteekako nti ye yamutulugunya.

Yagambye nti era bakama be baabadde bamuteze akakodyo akalala okumuleka ku mulimu ng’ate ali mu kkooti awoza ekitakkirizibwa mu mateeka nti kyokka akakodyo yakatebuse n’asooka adda ku bbali okutuusa ng’amalirizza emisango gino.

Yakiraze nti olunaamala okuyita ku misango gino ng’assaamu okusaba kwe ng’alekulira era bwe banaamugaana ng’akuba ekitongole kya poliisi mu mbuga z’amateeka. Mu kiseera kino Kirumira ye DPC w’e Buyende.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono