TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutubuulire gye musibidde Kitatta - bannamateeka

Mutubuulire gye musibidde Kitatta - bannamateeka

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

BANNAMATEEKA ba Abdallah Kitatta batadde ku nninga ekitongole kya CMI ku nninga okubalaga gye bamuggalidde oluvannyuma lw’okutuuka mu kkomera e Kigo gy’agambibwa okuggalirwa nga taliiyo.

Img20180122132609 703x422

Lt. Col Akiiki

Kitatta nga y’akulira Bodaboda 2010, ne banne 12 mu kkooti baasimbiddwa mu kkooti y’amagye ento e Mbuya ku kitebe ky’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) ne basomerwa emisango etaano Omumyuka w’omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiki yategeezezza bannamawulire ku Mmande akawungeezi nti, Kitatta n’abalala 12 baasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo ng’okunoonyereza ku misnago egyabagguddwaako bwe kugenda mu maaso.

Kyokka omu ku bannamateeka ba Kitatta eyasabye amannya ge okusirikirwa yategeezezza nti baakedde ku Lwokubiri okugenda e Kigo okulaba Kitatta basobole okukola ku by’okumuwolereza kyokka abakulira ekkomera eryo baabategeezezza nti, ku basibe abaaleeteddwa ku Mmande, Kitatta teyabaddeko.

“Twalagiddwa ekitabo omuwandiikibwa amannya g’abasibe ne tulaba olukalala lw’abantu abaatwaliddwaawo ku Mmande nga bali 11 bokka ng'erinnya lya Kitatta teririiko”, munnamateeka bwe yagambye.

Kyokka Lt. Col Akiiki yagambye nti abasibe bonna bali Kigo. Wabula ensonda mu CMI zaategeezezza nti Kitatta n’omukuumi we baggaliddwa Makindye nga kino kyakoleddwa olw’ebigambibwa nti waliwo ebibinja by’abantu abakyamu ababadde bayinza okutaataaganya ebyokwerinda by’ekkomero ly’e Kigo.

Bannamateeka baategeezezza nti, baagala CMI ebabuulire Kiatta gy’aggaliddwa kubanga newankubadde musibe, tekiggyaawo ddembe lye ery’okwogerako ne balooya ne famire ye.

OKUMUSIMBA MU KKOOTI Y’AMAGYE TULI MU MATEEKA – MAGYE

Lt. Col. Deo Akiiki yagambye nti, okusimba Kitatta mu kkooti ya Unit Disciplinary Court (UDC) ekulirwa Col. Tom Kabuye kitundu ku kkooti y’amagye n’ategeeza nti, Kitatta okumuvunaanira mu kkooti eno, tewali nsobi yonna yakoleddwa.

Yagasseeko nti, Kitatta babadde baamusibira Kireka nga gye bamuggya ne bamutwala e Mbuya okumukunya n’ategeeza nti babadde bamutwala ne bamuzzaayo bandibadde tebasobala kulemererwa kumutwala Makindye singa baabadde baagala.

Eggulo aba famire, emikwano n’ehhanda baabadde beekunze okukola akavuyo ku kkooti.

Baabadde beegabye ku kkooti ez’enjawulo era okumuwozeseza mu kkooti y’amagye ento, abamu baabadde bakitapuse nti, amagye gaatidde kavuyo akaabadde kayinza okuddirira kyokka Akiiki yagambye nti tewali kintu kyonna kyabadde kisobola kubalemesa kuvunaana Kitatta.

ENSENGEKA YA KKOOTI Y’AMAGYE

Yannyonnyodde nti, amagye galina kkooti eziwerako okuli UDC, Division Court Martial zino zituula mu bitundu awali enkambi z’amagye, General Court Martial etuula e Makindye ne General Court Martial of Appeal ababa tebamatidde na nsala ya General Court Martial gye baddukira okwekubira omulanga.

Yagasseeko nti, kkooti mwe baatutte Kitatta, obuyinza bw'erina bwa kumusomera musango bw'anaaba atuuse okuwozesebwa, ajja kusindikibwa mu kkooti esingako obuyinza nti kyokka eno alowooza nti eyinza kuba General Court Martial.

Yagambye nti, Kitatta ne banne si be bantu abaabulijjo abasoose okuvunaanibwa mu UDC n’ategeeza nti, mu biseera bya NRA, abantu baabulijjo bangi be baavunaana mu kkooti eno.

Yagasseeko nti, bano be bavunaanibwa ogw’okutta Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital n’ategeeza nti, fayiro y’obutemu okunoonyereza kukyagenda mu maaso bwe banaazuula nti, Kitatta alina akakwate naye banaamugattako kyokka ku ssaawa eno, taliiko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jit11 220x290

Bawangudde mu mpaka z’okufumba...

Bawangudde mu mpaka z’okufumba eza Bukedde TV

Mub1 220x290

Pulezidenti ayimirizza omusolo...

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Lip1 220x290

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro...

Beti Kamya awadde Kitaka ekiragiro Lukwago n'amukontola

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako