TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda Abakatoloki ababeera ebweru beebugira lunaku lwa Mapeera ne Amans

Bannayuganda Abakatoloki ababeera ebweru beebugira lunaku lwa Mapeera ne Amans

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

BANNAYUGANDA Abakatoliki abali e Bungereza bategeka kukuza lunaku, Abaminsani Amans ne Mapeera lwe baatuukirako mu Uganda okuleeta eddiini.

Bweru 703x422

Mpiima ng’ayogera mu lukiiko oluteekateeka emikolo gy’e Bungereza.

Bannayuganda bano beegattira mu kibiina kya Uganda Croydon Catholic Community ekikulemberwa Robert Mpiima Mugambe.

Mu lukiiko lwe baatuuzizza ku Ssande okuttaanya enteekateeka z’okukuza olunaku luno, Mpiima yategeezezza nti Omutambizi omukulu ku lunaku luno agenda kubeera Bp. Paul Ssemwogerere owa Kasana - Luweero.

Olunaku bagenda kulukuza nga February 18, 2018 ku Klezia ya St. Chad Catholic Church, South Norwood (South East London) mu Bungereza.

Mpiima yategeezezza nti olunaku luno bayise Ssaabalabirizi owa York mu Bungereza era nga ye Munnayuganda eyasooka okulya ekifo ekyo Dr. John Sentamu naye abeewo.

Okuyimba ekitambiro kya Mmisa, Omusumba Ssemwogerere waakuyambibwako Abeepisikoopi abalala basatu, Bafaaza 28 n’Abasiisita bataano.

Bayise Omubaka wa Uganda e Bungereza, abakungu okuva mu bukulembeze obw’ensikirano nga mu Bwakabaka bwa Buganda, Tooro, Bunyoro ne Busoga.

Olukiiko lwe baatuuzizza mwe baasondedde ensimbi n’okuttaanya entegeka z’omukolo nga bwe zinaatambula.

Mpiima yeebazizza abo bonna abeenyigidde mu nteekateeka eno era n’abasaba okukolera awamu okulaba ng’emikolo gye bategese gitambula bulungi.

Abaminsani Amans ne Mapeera baatuuka e Kigungu – Ntebe mu Uganda nga February 18, 1879 era bagenda kuba bakuza emyaka 139 bukya baleeta eddiini y’Obukatoliki mu Uganda n’okwebaza Katonda olw’ebyo by’akoledde Bannayuganda.a

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo