TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira Muhammad alekulidde Poliisi: Ateekateeka kwesimbawo ku ky'omubaka wa Palamenti

Kirumira Muhammad alekulidde Poliisi: Ateekateeka kwesimbawo ku ky'omubaka wa Palamenti

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

Okusinziira ku bubaka bw'atadde ku mukutu gwe ogwa Facebook, Kirumira agamba nti agasango agamujwetekebwako, gagenderedde kumunafuya na kumugobya mu Poliisi.

Kirumira1 703x422

Afande Kirumira

ASP, Kirumira Muhammad alekulidde ekifo kye mu Poliisi ya Uganda.

Okusinziira ku bubaka bw'atadde ku mukutu gwe ogwa Facebook, Kirumira agamba nti agasango agamujwetekebwako, gagenderedde kumunafuya na kumugobya mu Poliisi.

Agamba nti aweerezza mu Polisi n'omutima gumu kyokka asiimiddwa na kuggulibwako misango gy'atamanyiiko mutwe na magulu, ekimuwalirizza okukoowa n'annyuka obuweereza bw'abadde yeenyumirizaamu n'omutima gwe gwonna, n'amaanyi ge gonna era n'obulamu bwe bwonna.

Bw'abuuziddwa Bukedde kiki ky'agenda okuzzaako ategeezezza nti ateekateeka kwenyigira mu byabufuzi era akalulu akanaddako agenda kwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti.

Kirumira yeewuunya egimu ku misango egyamugguddwaako omuli n’okutulugunya omu ku babbi kyokka ng’omubbi ono poliisi ya Flying Squad ye yamuttira mu bubbi.

Alumirizza nti okumuggulako emisango mu kiseera kino bakama be balowooza nti y’awa amagye ebyama ebikwata ku Kitatta.

Ayongeddeko nti mu October wa 2016 bakama be baddamu ne bamuvunaana emisango emikadde kkooti gye yagoba edda wabula nga bakikola mu nkukutu naye ebya Kitatta bwe byavuddeyo ne bawalirizibwa bagiteeke mu mawulire basobole okuwugula abantu okuva ku biriwo.

Agasseeko nti waliwo omusajja ayitibwa Pius Kato gwe bamuvunaana nti naye yamutulugunya nti kyokka omusajja ono Flying Squad yamukuba amasasi e Bweyogerere ng’abba ku ssundiro ly’amafuta kyokka naye bamumuteekako nti ye yamutulugunya.

Agamba nti era bakama be baabadde bamuteze akakodyo akalala okumuleka ku mulimu ng’ate ali mu kkooti awoza ekitakkirizibwa mu mateeka nti kyokka akakodyo yakatebuse n’asooka adda ku bbali okutuusa ng’amalirizza emisango gino.

Kirumira leero asazeewo okulekulira ekifo ky'okuduumira Poliisi y'e Buyende. Poliisi ebadde ekyamuvunaana okulya enguzi n'okutulugunya abasibe.

Kirumira agamba nti ekiddako ateekateeka kuyingira byabufuzi era ekifo ky'omubaka wa Palamenti kyonna ekinaalangirira nga kikalu ajja kwesimbawo avuganye ne bwekinaaba Gulu!

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.