TOP

Ab'ekika ky'effumbe banoonya z'akwekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

Ab'ekika ky'effumbe banoonya z'akwekulaakulanya

Kub1 703x422

Ab'ekika ky'effumbe nga bali mu lukiiko

Bya Lawrence Kizito
 
OMUTAKA w’ekika ky’Effumbe Walusimbi Yusuf Mbirozankya asabye abazzukulu bonna ab'eddira effumbe okuvaayo okudduukirira emirimo gy’ekika kbayambe okufiuna ensimbi ezanaabasobozesa okuddukanya emirimu gy'eka.
 
Mbirozankya okwogera bino yasinzidde ku mukolo ogw’okuggulawo olukiiko lw’ekika omwaka guno ogwabadde ku ofiisi y’ekika e Bulange-Mengo nga 27th/01/2018.
 
Yagambye nti ye ng’omukulu w’ekika akooye eby’okusabirizanga sente eziddukanya emirimo gy’ekika buli kiseera n’agamba nti kano ke kadde okukola pulojekiti ezinavaamu ensimbi eziddukanya ekika.
 
Era yasabye abazzukulu bonna abalina ettaka okuteeka ekika ky’Effumbe ku lukiiko lw’abayima ku byapa byabwe kisobozese okulikuuma obulungi singa babeera bavudde mu nsi.
 
Yanyonyodde nti enteekateeka eno bagireese kubanga abantu bangi abazze bafa, abaana ne batunda ettaka lyonna nga tewali abakuba ku mukono.

Ye Katikkiro w’ekika William Ssebaggala yayanjulidde Omutaka n’olukiiko olufuzi enteekateeka y’okumaliriza okuzimba essomero ly’ekika omwaka guno eriyitibwa Buganda Ntege Secondary and Vocation Institute nga lyakusomesa eby’obuwangwa n’ebyemikono.

 
Yagambye nti buli mukozi anaakola mu ssomero lino okuva ku alongoosa okutuuka ku mukulu w’essomero balina okuba nga beddira ffumbe.
 
Ssebaggala era yenyamidde olw’entalo enyingi ezifumbekedde mu kika n’agamba nti zigotanyizza emirimo ate zireese n’okukutulakutula mu bazzukulu.
 
Baasazeewo omwaka guno okutuula ku meeza batabagane n’abantu abanyiivu mu kika era omulimo guno gugenda kukulemberwamu P.K Ssengeendo.
 
Ssebaggala era yasabye abazzukulu abaasoma amateeka okuvaayo okuyamba ku kika mu misango gye kirimu n’abaagala okunyaga ettaka ly’ekika.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...