TOP

Nkata agobye abazannyi 8 mu URA

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2018

URA FC olukubiddwa ttiimu y’abaana (KJT) mu Uganda Cup, omutendesi Paul Nkata n’anyiigirawo n’afuumuula abazannyi 8.

Paulnkatauracoach 703x422

Mu Uganda Cup URA 0-1 KJT

Ku Ssande, ttiimu y’abaana eya KJT yalumbye URA ewaayo e Namboole n’egikuba ggoolo 1-0 mu mpaka za Uganda Cup ekyaleese Nkata emitaafu.

Nkata, eyasikira Ibrahim Kirya omwezi gumu emabega, emipiira ebiri gye yaakabeera ku katebe ka ttiimu eno (ng’egya Mapinduzi Cup e Zanzibar tegiriiko), akubiddwa era agamba nti ekyamuleesa kulinnyisa mutindo gwa ttiimu ng’alina okweggyako abazannyi bassemugayaavu.

Mu kaseera kano, URA eri mu kifo kyamusanvu mu liigi y’eggwanga era gye buvuddeko Nkata yategeezezza nti ttiimu ye terina mbavu zivuganya ku kikopo sizoni eno wabula alwana kuzzaawo kitiibwa kyayo.

Mu kitundu kya liigi ekisooka, URA yawangudde emipiira 5 gyokka ku 15 wabula Kirya eyaliwo mu kutandika liigi yayanjula abazannyi 10 be yagamba nti bagenda kumuwangulira ebikopo (liigi ne Uganda Cup).

Abazannyi abaagobeddwa kuliko; Julius Ntambi, Sam Ssekitto, Simon Okwi, Cleo Ssettuba, Bokota Lubama, Robert Mokongotya, Denis Kamanzi ne Henry Kisekka era abamu ebbaluwa zaabwe bazirina okusobola okunoonya ttiimu mwe banaazannyira ekitundu kya liigi ekyokubiri.

Maneja wa ttiimu eno, Godfrey Masozi yakakasizza okugobwa kw’abazannyi bano n’agamba nti baakizudde nga tebakyalina kye bayinza kwongera ku ttiimu yaabwe mu kaseera nga bagizimba kudda ku ntikko esobole okuwangula ebikopo.

“Okubeera n’abazannyi abangi nga tebali ku mutindo tegigasa, era ekisinga kya kubeggyako n’ofuna abasobola okusitula n’okutuukiriza ebigendererwa bya ttiimu," Masozi bwe yategeezezza n'agamba nti baagala kuddamu kufuula URA ttiimu empanguzi nga bwe batyo balina okufuna abazannyi abanaasobola okukikola.

Akatale k’okukyusakyusa abazannyi kakomekkerezebwa leero (Lwakusatu), kyokka Masozi bwe yabuuziddwa lwaki abazannyi babasazeeko ng’obudde buweddeyo, ekiyinza okubabeerera ekizibu okufuna ttiimu endala, yagambye nti baludde (abazannyi) nga bakimanyi nti tebagenda kuddamu kuzannyira URA.

KISEKKA AGYABULIDDE

Kisekka eyeegatta ku ttiimu eno ku ntandikwa ya sizoni eno ng’ava mu Binh Duong FC ey'e Vietnam, yagyabulidde n’agenda mu Gokulam Kerala FC eya Buyindi. Kisekka agenze ateebedde URA ggoolo 4 mu mipiira 10 gy’azannye.

Yeegattiddwaako Bokota naye eyaddukidde mu Musenze FC ey'ekibinja kya babinywera mu Rwanda, sso nga Mukongotya agenda kusindikibwa mu Mbarara City ku looni, ate Kamanzi azzibweyo mu SC Villa eyali ebamuwadde ku looni.

BANO BE BEEGASSE KU URA

Geoffrey Ssembatya, Charles Odeke, Kalama Debose ne Herman Wasswa be balindiridde okwanjulwa eri abawagizi ba URA oluvannyuma lw’okumaliriza emisoso gyonna egy’okubazannyira. Ssembatya tabadde na ttiimu ate Odeke ne Debose bavudde mu Water ne Kira Young eza Big League.

We bwazibidde eggulo (Lwakubiri), ng'abakungu ba URA bakyagezaako kufuna (ITC) ebbaluwa ya Wasswa okuva mu Lusaka Dynamos eya Mwebaze Zambia gy’abadde azannyira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....