TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi Moze Radio afudde: Eyamuviiriddeko okufa bamuyigga

Omuyimbi Moze Radio afudde: Eyamuviiriddeko okufa bamuyigga

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2018

Omuyimbi Moze Radio afudde: Eyamuviiriddeko okufa bamuyigga

Kizibu 703x422

Moze Radio

Moses Nakintije Ssekibogo afiiridde mu ddwaaliro lya Case Hospital gy'abadde ajjanjabibwa ku byuma oluvannyuma lw'okuddisibwayo wiiki ewedde nga tamanyi biri ku nsi!

Radio afudde ku ssaawa 12 n'ekitundu ez'okumakya ga leero ku Lwokuna era enteekateeka z'okuziika zitandise okukolwako

Moze okufa kyaddiridde okumukuba ne bamwasa omutwe mu bbaala ya Da Bar e Ntebe gye yabadde agenze okwesanyusaamu ne banne.

By'obadde tomanyi ku Moze

  • Wakati wa 2010 ne 2013 balwanagana n’okwekubira mu bbaala ne Jose Chameleone ku nsonga ez’enjawulo ezabatabulanga era lumu batuuka n’okukunga abantu okusiba Chameleone nga bagamba ayitirizza okubakijjanya n’okubakuba ate olulala baalwanira wabweru wa bbaala ya Silk buli omu n’abuukayo n’ebisago.
  • lNg’ali wamu ne Weasel bwe bayimba, balwanye entalo eziwerako kyokka ezisinga okwogerwako z’ezo ze balwanye n’eyali maneja waabwe Jeff Kiwa wamu ne Jose Chameleone eyabatendeko emiziki. lBazze batabuka ne Jeff olumu baatuuka n’okubagana amaka gaabwe agayitibwa ‘Never land’ e Makindye mu Kizungu ge bakaayanira era n’okutuusa kati omusango gukyali mu kkooti.
  • Muvubuka muyivu alina diguli mu ‘psychology’ okuva mu yunivasite y’e Makerere.
  • Amannya ge amatuufu ye Moses Nakintije Ssekibogo ,33.
  • Y’omu ku bayimbi abasinza ekitone ky’okuyimba mu ggwanga era bangi bamwegombako ddoboozi lye erisonsomola ate ng’amanyi okulifuula okutuukira ku myuziki gw’oyagala.
  • Okuyimba yakutandikira mu Leone Island ekibiina kya Jose Chameleone. Muyimbi mu kibiina kya Goodlyfe ayimba ne Weasel muto wa Jose Chameleone. Omwaka oguwedde baajaguzza emyaka 10 bukya beetongola okuva ku Chameleone
  • Omwaka oguwedde Jeff yabakuba mu kkooti ku musango g’okumulebula bwe baamulumiriza okwenyigira mu byawongo wakati mu lutalo lw’ebigambo olwaliwo nga bawanyisiganya ebisongovu.
  • Baagugulana ne Bebe Cool ne batuuka n’okumukubamu ennyimba ezimulumba n’okumulengezza ne zazingiramu ne Zuena muka Bebe Cool.

Engeri olutabaalo mu baala olwamuviiriddeko okufa gye lwatandikamu

Lwabadde lwa Ssande nga 21 January, mu bbaala ya Da Bar, Moze bwe yazze ne Pulodyusa Washington n’abavubuka abalala era ku bbaala batuuseewo ku ssaawa 1:00 ez’akawungezi.

Moze yabadde azze kusisinkana mukyala ayitibwa Pamela era ono ye yamusoose okutuuka wo.

Baatandise okunywa omwenge nga ‘basunda’ ccupa ku ccupa. Ku ssaawa nga 3:00 Moze eyalabise nga atamidde nnyo yatandise okukola effujjo n’okwogera ebigambo nga bwa biwereekereza addukanya ebbaala, Egesa George omwabadde n’okumulangira bw’ali omwavu talina yadde obusoobozi obumugulira omwenge (okugulira Moze).

Yagasseko nti; bw’oba okakasa olinamu ngulira ‘Black label’. Okumukakasa, Egesa George yalagidde omu ku bakozi b’omu bbaala amuleetere ccupa ya Black Label gye yawadde Moze aginywe.

Moze yasumuludde ccupa ng’agenda okunywa ekyaddiridde kuyiira bantu abaabadde mu bbaala omwenge guno ekyanyizizza Egesa n’amulagira afulume agende.

Yasoose kulagira Pamela eyamuyise amufulumye kyokka Moze ne yeerema wano bakanyama b’omu bbaala kwe kuyingirawo bamufulumye ku kifuba.

Baamusitudde okumufulumya wabweru era twazzeemu okuwulira nti omu ku bakanyama amusitudde mu bbanga n’amukuba wansi era ali mu mbeera mbi.

Kanyama eyamuviiriddeko okufa Poliisi emuyigga.

Kitalo!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka