TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Kitatta ayogedde engeri gye battamu omukozi wa Case Hospital

Muganda wa Kitatta ayogedde engeri gye battamu omukozi wa Case Hospital

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2018

AMAGYE gazizzaayo muganda wa Kitatta ne banne bwe bavunaanibwa omusango gw’okutemula eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital, Francis Ekalungar we baamuttira ne balaga abaserikale engeri gye baamuwambamu ne bamutta omulambo ne bagukumako omuliro.

Pata 703x422

Huzair Kiwalabye, muganda wa Kitatta.

Amagye gaatandikidde ku Case Hospital Ekalungar we yasimbula nga January 2, 2018, Resty Nannyondo n’abakuumi b’eddwaaliro Hamza Mulema ne Vincent Chandia ne bannyonnyola omulimu gwe baakola mu butemu buno.

Okukola kino, abajaasi ba Joint Anti-Terrorism Task Force (JATT) nga bali wamu ne poliisi y’e Kajjansi, baayise mu kkubo, Ekalungar lye yayitamu bwe yali atwala ssente obukadde 15 mu bbanka ya DFCU ku Forest Mall e Lugogo.

Abasibe baabadde basibiddwa kantuntunu ku maaso nga bapakiddwa mu mmotoka ekika kya Toyota Hiace UAH 738Z era bakira baggyayo omu kw'omu nga bwe bamubuuza bye beetaaga nga gwe bamala gwe bazzaayo nga baggyayo omulala.

BATTOTTODDE ENGERI GYE BAAMUKWATA NE BAMUSIBA

Bwe baatuuse okumpi n’ekitebe kya Yitale okuliraana minisitule y’ebyobulamu, baggyeeyo Huzair Kiwaalabye muganda wa Abdallah Kitatta agambibwa nti ye yakung'aanya banne aba Bodaboda 2010 n’abasomeramu omulimu gwe baali babawadde.

 basebe baabadde bakuumirwa mu mmotoka ekulembedde Abasebe baabadde bakuumirwa mu mmotoka ekulembedde.

Kiwalabye yabalaze buli kimu kye baakola nga bagoberera Ekalungar n’alaga n’ekifo we bamufundiza okumukwata bamuteeke mu mmotoka.

Bwe yannyonnyodde ebibye ne bikoma, ne baggyayo Muzamir Mawa ddereeva wa Dr. Kato Ssebbaale akulira eddwaaliro lya Case Hospital Ekalungar gye yali akola.

Mawa bamulumiriza nti ye yawa Kiwalabye n’aba bodaboda omulimu gw’okutta Ekalungar ng’ayita mu kanyama poliisi gw’emanyiiko erya Musa lyokka ng'akola ku bbaala emu mu Kampala.

Bakira buli gwe baggya mu mmotoka, bwe bamusumulula kantuntunu nga bamubuuza nti, ‘kino ekifo okimanyi’ nga naye abaddamu nti ‘ye’ ng’olwo bamubuuza nti ‘kiki ky'ojjukira ekyaliwo’ ng’alyoka atandika emboozi ye ne by’ajjukira bye yakola.

Bwe bazzizzaayo Mawa mu mmotoka eyabaddemu ab’emmundu ennene abaabadde bakuuma abasibe, baggyeeyo omusajja omulala naye annyonnyole.

Ono, yategeezezza nti, muvuzi wa bodaboda aba bodaboda baaliko omubbi gwe baali bagoba ng’ali mu mmotoka ekika kya Toyota Premio naye n’abeegattako.

Agamba nti okugoba mmotoka baali baleekaana nti ‘omubbi omubbi’ bwe yalaba nga bamugoba n'ayongeza sipiidi.

Ono annyonnyola nti, musajja wattu eyali mu mmootoka gwe baali bagoba nti mubbi, yagezaako okudduka wabula bweyatuuka okuweta ayingire ku Binaisa Road n’asanga akalipaggano n’asiba. Wano, pikipiki zonna ezaali ziwamatuka waggulu nga zimugoba, zaasibira ku mmotoka ye ne zimutomera emabega. Agamba nti, omusajja olw’okubanga yali atuuse awali abantu, yava mu mmotoka alabe abamutomedde yennyonnyoleko nti si mubbi awo we baamukwatira.

BEEFUULA ABASERIKALE NGA BAMUKWATA

Ono, yannyonnyodde nti, bwe baamutomera, pikipiki endala n’emmotoka ekika kya Super Custom eyali ebavaako emabega zaamwekiika mu maaso, mu mmotoka (Super Custom) ne muvaamu omusajja eyali ayambadde enkofiira y’amagye.

 uzamir awa ku kkono ngali ku ase ospital mu kutya Muzamir Mawa (ku kkono) ng'ali ku Case Hospital mu kutya.

 

Agamba nti, mu kiseera kino, Ekalungar yali avudde mu mmotoka era awo we baamukwatira ne bamuteeka mu Super Custom ate omusajja omulala omunene n’avuga mmotoka ya Ekalungar (Premio).

Yagambye nti, omusajja ow’enkofiira y’amagye yabategeeza nti, omusajja gwe baali bakutte yali anoonyezebwa nti era amutwalira mukama we.

Oluvannyuma lw’okunnyonnyola bino, baasimbudde ne boolekera e Kajjansi gye baamwokera era Mawa n’alaga abaserikale engeri gye baamutta omulambo ne bagusiba ku nku ze baakola mu ngeri y'akatandaalo omulambo ne baguyiwako amafuta ga petulooli ne bagukumako omuliro ne gusigalako mutwe na mikono egy'ekikuggu.

Oluvannyuma lwa bino, abakwate bazziddwa mu mmotoka ne babazzaayo mu kaduukulu. Bano, baakwatibwa mu kiwendo amagye mwe gaakwatira ne Abdallah Kitatta omuyima wa Bodaboda 2010.

Ekikwekweto kyatandika nga January 19 abajaasi ne bakwata Kiwaalabye, Joel Kibirige n’abalala.

Ku Lwomukaaga nga January 20, amagye gaddamu okukwata abalala ne Kitatta n’akwatibwa ku ssaawa 11:30 ez’akawungeezi .

Kitatta ne basajja be abalala 12, baavunaaniddwa mu kkooti y’amagye ku Mmande ate Kiwalabye n’abalala munaana ne basigala mu mikono gya poliisi egenda okubavunaana emisango esatu, ogw’obutemu, obubbi bwa mmotoka n’okubba ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....