TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Kitatta amagye gamwogezza bwe batta omukozi wa Case Hospital

Muganda wa Kitatta amagye gamwogezza bwe batta omukozi wa Case Hospital

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2018

AMAGYE gazizzaayo muganda wa Kitatta ne banne bwe bavunaan­ibwa omusango gw’okutemula eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital, Francis Ekalungar we baamuttira ne balaga abaserikale engeri gye baamuwambamu ne ba­mutta omulambo ne bagukumako omuliro.

Huzair1 703x422

Huzair Kiwalabye, muganda wa Kitatta.

Bya MUSASI WAFFE

AMAGYE gazizzaayo muganda wa Kitatta ne banne bwe bavunaan­ibwa omusango gw’okutemula eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital, Francis Ekalungar we baamuttira ne balaga abaserikale engeri gye baamuwambamu ne ba­mutta omulambo ne bagukumako omuliro.

Amagye gaatandikidde ku Case Hospital Ekalungar we yasimbula nga January 2, 2018, Resty Nan­nyondo n’abakuumi b’eddwaaliro Hamza Mulema ne Vincent Chan­dia ne bannyonnyola omulimu gwe baakola mu butemu buno.

Okukola kino, abajaasi ba Joint Anti-Terrorism Task Force (JATT) nga bali wamu ne poliisi y’e Kaj­jansi, baayise mu kkubo, Ekalungar lye yayitamu bwe yali atwala ssente obukadde 15 mu bbanka ya DFCU ku Forest Mall e Lugogo.

Abasibe baabadde basibiddwa kantuntunu ku maaso nga bapaki­ddwa mu mmotoka ekika kya Toyota Hiace UAH 738Z era bakira baggyayo omu kw'omu nga bwe bamubuuza bye beetaaga nga gwe bamala gwe bazzaayo nga bagg­yayo omulala.

uzamir awa ku kkono ngali ku ase ospital mu kutyaMuzamir Mawa (ku kkono) ng'ali ku Case Hospital mu kutya.

 

 BATTOTTODDE ENGERI GYE BAAMUKWATA NE BAMUSIBA

Bwe baatuuse okumpi n’ekitebe kya Yitale okuliraana minisitule y’ebyobulamu, baggyeeyo Huzair Kiwaalabye muganda wa Abdallah Kitatta agambibwa nti ye yakuh­haanya banne aba Bodaboda 2010 n’abasomeramu omulimu gwe baali babawadde.

Kiwalabye yabalaze buli kimu kye baakola nga bagoberera Ekalungar n’alaga n’ekifo we bamufundiza okumukwata bamuteeke mu mmo­toka.

Bwe yannyonnyodde ebibye ne bikoma, ne baggyayo Muzamir Mawa ddereeva wa Dr. Kato Sseb­baale akulira eddwaaliro lya Case Hospital Ekalungar gye yali akola.

Mawa bamulumiriza nti ye yawa Kiwalabye n’aba bodaboda omu­limu gw’okutta Ekalungar ng’ayita mu kanyama poliisi gw’emanyiiko erya Musa lyokka ng'akola ku bbaala emu mu Kampala.

Bakira buli gwe baggya mu mmotoka, bwe bamusumulula kan­tuntunu nga bamubuuza nti, ‘kino ekifo okimanyi’ nga naye abad­damu nti ‘ye’ ng’olwo bamubuuza nti ‘kiki ky'ojjukira ekyaliwo’ ng’alyoka atandika emboozi ye ne by’ajjukira bye yakola.

Bwe bazzizzaayo Mawa mu mmotoka eyabaddemu ab’emmundu ennene abaabadde bakuuma abasibe, baggyeeyo omusajja omulala naye annyon­nyole.

Ono, yategeezezza nti, muvuzi wa bodaboda aba bodaboda baaliko omubbi gwe baali bagoba ng’ali mu mmotoka ekika kya Toyota Premio naye n’abeegattako.

Agamba nti okugoba mmo­toka baali baleekaana nti ‘omubbi omubbi’ bwe yalaba nga bamugoba n'ayongeza sipiidi. Ono annyon­nyola nti, musajja wattu eyali mu mmootoka gwe baali bagoba nti mubbi, yagezaako okudduka wabula bweyatuuka okuweta ayingire ku Binaisa Road n’asanga akalipaggano n’asiba.

Wano, pikipiki zonna ezaali ziwamatuka waggulu nga zimu­goba, zaasibira ku mmotoka ye ne zimutomera emabega. Agamba nti, omusajja olw’okubanga yali atuuse awali abantu, yava mu mmotoka alabe abamutomedde yennyonny­oleko nti si mubbi awo we baamuk­watira.

basibe baabadde bakuumirwa mu mmotoka ekulembeddeAbasibe baabadde bakuumirwa mu mmotoka ekulembedde.

 

BEEFUULA ABASERIKALE NGA BAMUKWATA

Ono, yannyonnyodde nti, bwe baamutomera, pikipiki endala n’emmotoka ekika kya Super Custom eyali ebavaako emabega zaamwekiika mu maaso, mu mmo­toka (Super Custom) ne muvaamu omusajja eyali ayambadde enkofiira y’amagye.

Agamba nti, mu kiseera kino, Ekalungar yali avudde mu mmo­toka era awo we baamukwatira ne bamuteeka mu Super Custom ate omusajja omulala omunene n’avuga mmotoka ya Ekalungar (Premio).

Yagambye nti, omusajja ow’enkofiira y’amagye yabategeeza nti, omusajja gwe baali bakutte yali anoonyezebwa nti era amutwalira mukama we.

Oluvannyuma lw’okunnyonnyola bino, baasimbudde ne boolekera e Kajjansi gye baamwokera era Mawa n’alaga abaserikale engeri gye baamutta omulambo ne ba­gusiba ku nku ze baakola mu ngeri y'akatandaalo omulambo ne ba­guyiwako amafuta ga petulooli ne bagukumako omuliro ne gusigalako mutwe na mikono egy'ekikuggu. Oluvannyuma lwa bino, abakwate bazziddwa mu mmotoka ne baba­zzaayo mu kaduukulu.

Bano, baakwatibwa mu kiwendo amagye mwe gaakwatira ne Abdal­lah Kitatta omuyima wa Bodaboda 2010. Ekikwekweto kyatandika nga January 19 abajaasi ne bakwata Kiwaalabye, Joel Kibirige n’abalala.

Ku Lwomukaaga nga January 20, amagye gaddamu okukwata abalala ne Kitatta n’akwatibwa ku ssaawa 11:30 ez’akawungeezi .

Kitatta ne basajja be abalala 12, baavunaaniddwa mu kkooti y’amagye ku Mmande ate Ki­walabye n’abalala munaana ne basigala mu mikono gya poliisi egenda okubavunaana emisango esatu, ogw’obutemu, obubbi bwa mmotoka n’okubba ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo