TOP

Ddala Mbuga mukwate?

By Musasi wa Bukedde

Added 1st February 2018

Sten yakalambira ng’agamba nti alina obujulizi obumala okulumiriza Mbuga ne mukazi we era ng’oggyeeko poliisi y’e Sweden okubayigga babitebye, ayagala n’ebyobugagga byabwe biboyebwe.

Mbugask 703x422

SK Mbuga ne mukyala we ku mbaga yaabwe eyamalawo obutitimbe bw’ensimbi.

Bya Musasi wa Bukedde 

WE bwazibidde eggulo ng’abali ku  lusegere lw’omugagga SK Mbuga  bakyalumiriza nti omuntu waabwe  tebannamukwatako gy’ali alya  butaala. 

Baayongeddeko nti bamusuubira  okutonnya mu ggwanga  leero (Lwakuna) ng’ava e  Dubai gy’abadde ku mirimu  gy’ebyobusuubuzi. 

Kyokka kino tekiggyeewo  mawulire kwongera kusaasaanira  mikutu egitali gimu nga bagamba  nti Poliisi y’ensi yonna (Interpol)  yamuyooledde ku kisaawe e Dubai  ne bamussa ku mpingu yoogaayoga  Sweden. 

Bagamba nti eno gye baamuvunaanidde  emisango gy’obufere  omuli okwekobaana ne mukazi we  ne babba omuzungu obuwumbi  bw’ensi bwe baamusomera ddiiru  ey’ekikwangala ey’okusuubula  zaabu. 

Wabula abooluganda ne mikwano  gye BukeddeOnline be yayogedde  nabo bawakanyizza nga bagamba  omuntu waabwe gy’ali e Dubai ali  bulungi era si mukwate. 

Zo essimu za Mbuga ezimanyiddwa  ku Lwokubiri ne ku Lwokusatu  tezaasiibyeko ekyaleetedde  abantu obwedda abazikubako  okulowooza nti ddala yandiba nga  baamukutte. 

Mbuga ne mukyala we Jalia  Birungi (Angela Vivienne Chebet)  baludde nga banoonyezebwa  poliisi ku bigambibwa nti baafera  Omuzungu Sten Heinsoo munnabyabufuzi,  enzaalwa y’e Sweden  obukadde bwa Krona (ssente  za Sweden) 55 (mu za Uganda  obuwumbi 23) mu ddiiru ya  zaabu ng’eno yaliwo emyaka ebiri egiyise. 

Amawulire g’ababiri bano okunoonyezebwa  gaasooka kufulumira  mu lupapula lw’amawulire olwa  ‘Expressen’ olufulumira e Sweden  ku ntandikwa y’omwezi guno nga  galaga nga poliisi y’e Sweden bwe  yali emaze okubateekako ekiwandiiko  kibakuntumye olw’emisango  egyabaggulwako. 

Mbuga yategeeza nti Omuzungu  ono tamumanyi era takolaganangako  naye wadde okumusisinkana,  amusibako matu ga mbuzi kumuliisa  ngo n’okwagala okumwonoonera  erinnya. 

Sten yakalambira ng’agamba nti  alina obujulizi obumala okulumiriza  Mbuga ne mukazi we era  ng’oggyeeko poliisi y’e Sweden  okubayigga babitebye, ayagala  n’ebyobugagga byabwe biboyebwe. 

Mikwano gya Mbuga boogedde 

Edward Cheune, munywanyi  wa Mbuga bwe yatuukiriddwa ku  ssimu yagambye nti Mbuga gy’ali e  Dubai akola mirimu gye.  “Bw’oba oyagala okukakasa  nti Mbuga simukwate, linda ku  Lwokuna (leero) musuubira okujja  mu ggwanga ojja kwogera naye.” 

Yagasseeko nti amasimu ge  obutabaako ye kennyini ye yagaggyeeko  olw’abantu abaabadde  bamusumbuwa. 

Ate Sam Mukasa muko wa  Mbuga yagambye nti; “mbadde  mpulira bya poliisi nti emunoonya  naye eby’okumukwata sibimanyi  nange ndi Uganda ebiri e Dubai  sibimanyi.” 

Poliisi eyogedde  Vincent Ssekate, omwogezi wa  poliisi ya Interpol mu Uganda  bwe yabuuziddwa ku nsonga eno  yategeezezza nga bwe batannaba  kufuna kumanyisibwa kwonna ku  kukwatibwa kwa Mbuga. 

“Ebyogerwa mbiwulira mu bantu  naye nga Interpol tetunnafuna  kumanyisibwa wadde okusabibwa  poliisi y’e Sweden okugiyamba mu  nsonga eno.” 

Mbuga awereeza obubaka 

Wakati mu mawulire  g’okumukwata okusaasaana, Mbuga  ng’ayita ku mukutu gwe ogwa  Facebook, ku Lwokubiri yataddeko  obubaka obuwakanya ebyabadde  byogerwa abantu. 

Yagambye nti, “Temukoowa  kugeya n’okunoonyereza ku bitabakwatako?”  (Don’t you get tied of  back biting & hating on what you  don’t know?????). 

Kyokka omuntu omulala alina  akakwate ku Mbuga asobola okugenda  ku Facebook ya Mbuga  n’awandiika obubaka obwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....