TOP

Mmengo ne Gavt. baateesezza ku ndagaano ya 2013

By Dickson Kulumba

Added 1st February 2018

Ku ludda lwaffe ng’endagaano bw’eri ebyaffe twabituukiriza naddala ekya Tontabaala nange sirikutabaala ng’obuvunaanyizibwa busigadde eri Gavumenti okutuukiriza obweyamo bwayo”, Kiyimba bwe yategeezezza.

Kabakamuseveni1 703x422

Kabaka (ku kkono) lwe yakyala mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.

Bya DICKSON KULUMBA

MMENGO ne Gavumenti eya wakati bazzeemu enteeseganya okulaba ng’endagaano eyakolebwa wakati wa Kabaka ne Pulezidenti Museveni mu 2013 ng’eteekebwa mu nkola oluvannyuma lw’emyaka okuyitawo nga tewali kitambula.

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasisinkanye ne Dr. Ruhakana Rugunda ku lwa gavumenti eyawakati ne bateesa ku makubo aganaayitibwamu okulaba ng’ebintu byonna Obwakabaka bwa Buganda bye bubanja bubifuna.

Ng’ayogera oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Mayiga yagambye nti kino kigenda kuyamba okuteeka mu nkola ebyo ebyakkaanyizibwako okuli okumalayo n’okukyusa ebyapa, okusasula amabanja gonna Mmengo g’ebanja Gavumenti.

“Tubadde tetusisinkanangako kati mukisa gwa njawulo nti tusisinkanye mu ngeri entongole ate ne kituyamba okuggyayo ensonga Pulezidenti ne Kabaka ze baateekako omukono naddala obuwaayiro obutannaba kuteekebwa mu nkola,” Katikkiro bwe yategeezezza.

Wabaddewo okusika omuguwa wakati w’enjuyi zombi nga kuva ku bitongole bya Gavumenti okulemwa okusasula obusuulu obw’ebizimbe by’Obwakabaka ebyabuddira mu ndagaano eyo eyateekebwako omukono nga August 1,2013.

Ekitongole ky’Obwakabaka ekya Nnamulondo Investments kimaze ebbanga nga kibanja Disitulikiti n’ebitongole ebirala okusasula ensimbi z’obupangisa kyokka bingi nga byekwasa nti tebinnalagirwa, wabula mu 2015 Pulezidenti Museveni yawandiikira Disitulikiti zino okukola ebintu bina; Okuddiza Buganda ebintu byayo, okusasula ensimbi z’obupangisa, okufuna liizi oba okugula ebizimbe ebyo bye bakoleramu.

Muky. Lillian Bukirwa Kaddu owa Nnamulondo Investments kkampuni erabirira ebizimbe by’Obwakabaka, yagambye nti musanyufu olw’abakulu bano bombi okusisinkana kubanga abakungu ba gavumenti n’okutuusa kati baagaana okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti.

Ng’oggyeeko ekyo, Mmengo ebanja Gavumenti ensimbi kati ezisukka obuwumbi 15 okuva mu bupangisa bw’ebizimbe okuli ekya Kkooti ya Buganda (kati omuli Mwanga II Court) ku luguudo Kabakanjagala, Butikkiro ng’eno yali egikozesa okukoleramu okunoonyereza ku bulwadde bwa mukenenya n’ebirala nga lino ebbanja lyaliwo ng’endagaano eno tennateekebwako mukono.

 

 r ugunda owookubiri ku kkono ngabuuza atikkiro ayiga u kkono ye mumyuka owookusatu owa atikkiro pollo akubuya ate ku ddyo ye saabawolereza wa mengo audi panga Dr. Rugunda (owookubiri ku kkono) ng’abuuza Katikkiro Mayiga. Ku kkono ye mumyuka owookusatu owa Katikkiro, Apollo Makubuya ate ku ddyo ye Ssaabawolereza wa Mmengo, Daudi Mpanga.

 

We twogerera ng’ebyapa ebisukka 280 gavumenti bye yaakaddiza Obwakabaka bwa Buganda era omwogezi wa Buganda, Noah Kiyimba yategezeezza nti ebyapa bingi ddala ebikyali mu mikono gya gavumenti ng’erina okubizza e Mmengo ng’endagano bw’egamba.

“Ebintu byaffe bingi ebikyabanjibwa okuli Poloti 52 ku Kampala Road okuzza Jezza Farm, emmmotoka za Ssekabaka Muteesa II n’ebyapa ebirala.

Ku ludda lwaffe ng’endagaano bw’eri ebyaffe twabituukiriza naddala ekya Tontabaala nange sirikutabaala ng’obuvunaanyizibwa busigadde eri Gavumenti okutuukiriza obweyamo bwayo”, Kiyimba bwe yategeezezza.

Ebintu bino Buganda by’ebanja byanyagibwa Gavumenti ya Obote oluvannyuma lw’okuggyawo Obwakabaka mu 1966 era okuva olwo abantu ba Buganda babanja ebintu bino bibaddizibwe era oluvanyuma lw’okutikkirwa kwa Kabaka mu 1993, Gavumenti yakwasa Kabaka Olubiri lw’e Mmengo, Bulange, Butikkiro n’ebirala ebitonotono olwo ebirala ne bisigala nga bibanjibwa.

Mu kwogera kwe, Dr. Rugunda yagambye nti musanyufu olw’ensisinkano eno kubanga egenda kuyamba enjuyi zombi okukolera awamu ku lw’obulungi bw’abantu b’eggwanga lino era n’asuubiza nti baakwongera okusisinkana.

“Ndi musanyufu okwaniriza Kamalabyonna era twogedde ku nsonga nnyingi ezikwata ku Mmengo okulaba ng’endagaano eyateekebwako omukono wakati wa Pulezidenti Museveni ne Kabaka ng’eyongera okuteekebwa mu nkola,” Dr. Rugunda bwe yagambye.

Mu kugenda mu nsisinkano eno eyabadde ku ofiisi ya Dr. Rugunda e Nakasero, Katikkiro Mayiga yawerekeddwako Omumyuka we Owookusatu, Apollo Nelson Makubuya ssaako Ssaabawolereza wa Buganda, Daudi Mpanga.

ENSISINKANO EJJIDDE MU KISEERA EKITUUFU

Ensisinkano eno w’ejjidde nga buli luuyi lwetaaga lunnaalwo.

Mu kusooka, Mmengo eri mu bwetaavu bw’ensimbi okusobola okutambuza Pulojekiti zaayo okuli Kkampuni yaayo K2 eri mu matigga olw’ebbula ly’ensimbi.

Omulimu gw’amasiro gwetaaga ensimbi ezisukka obuwumbi bubiri, ate yo Muteesa I Royal University yeetaaga ensimbi okudda ku luguudo era ssinga zifunibwa mu kiseera kino, zaakuwonya eggwanika obunkenke bwe lirimu okusasula abakozi ababali mu bulago nga basaba okusasulwa emisaala.

Ku ludda lwa Gavumenti, kino baakirabye nga kiseera kituufu okubeerako kye bakola nga Kabaka ateekateeka okujaguza emyaka 25 bukya atikkirwa nga kyakubayamba okulaga abantu nti bali wamu n’Obwakabaka.

Ekirala, kiri ku ludda lw’ebyobufuzi nti kyakwongera okuzza emitima gy’Abaganda naddala ng’eggwanga libadde mu muyaga gw’ebyobufuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo