TOP

Entalo Moze z'azze alwana

By Josephat Sseguya

Added 1st February 2018

Mu myaka egisoba mu 15 Moze Radio gy’amaze ng’ayimba, alwanye entalo z’otosobola na kubala kyokka olusembyeyo n’alufiiramu nga takubye wadde oluyi. Entalo zino JOSEPHAT SSEGUYA azikulaze.

Zazze 703x422

Poliisi y'e Katwe lwe yamukwata olw'okumusanga n'enjaga

• Balwana ne Chameleone Mu November wa 2009, Chameleone yalwana ne Moze ne muganda we Weasel (owa Chameleone) oluvannyuma n’agamba nti, Weasel yabadde amubonereza nga mutoowe olw’obutaba na mpisa.

• Moze atabuka ne Bebe Cool Kino kyava ku byali bigambibwa nti mukazi wa Bebe, Zuena bwe yanoba mu 2009, yakwatagana ne Moze e Jinja bombi gye bazaalibwa ne batandika ebyabwe. Jjukira mu budde bwe bumu Moze ne Weasel we baafulumiza oluyimba lwa Zuena. Empalana yaabwe yajja ekula wadde nga Zuena yali azzeeyo e Kiwatule (gye yali abeera ebiseera ebyo).

• 2010 okutandika nga Moze ne Weasel baayimba oluyimba Sitaani nga balaga nti Chameleone ali nga sitaani. Baatandika ne kampeyini y’okulwanyisa Chameleone ne batimba n’ebipande nga bakunga abayimbi naddala abato bamulwanyise nti y’abalemesezza okuvaayo wabula poliisi yabalabula ku ffujjo eryo eryali liyinza okuviirako Chameleone obuzibu ne bakikomya.

• Batabuka ne Eddy Kenzo Mu march 2011, Moze yalumba Eddy Kenzo n’amulangira okubba oluyimba lwa Good lyfe ekibiina mw’abadde ayimbira lwe baatuuma Talk and talk olwo Kenzo n’akolamu olwa Mundeke Numbe.

• Balwanira pulodyusa Ku ntandikwa ya 2014, Moze ne banne baalwanira ku bbaala ya Casablanca e Kololo n’omuyimbi, Khalifa Aganaga ng’entabwe eva ku mukwasi wa nnyimba Nash Wonder owa monster Records eyakoleranga Aganaga. Baagamba nti, Aganaga agenda abayeeya okumubbira ennyimba naddala olw’Amaaso. Yakwatibwa n’atwalibwa ku poliisi ya Kira road.

• Moze ne muganda we baloopa muto wa Chameleone Olutalo olwo nga lwakaggwa, muto wa Moze ayitibwa Frank yaloopa omugenzi AK 47, muto wa Chameleone nti yamukubye kyokka yeekyusa n’agamba nti Chameleone ye yamukubye (kubanga ye ne Moze baali baagala Chameleone y’aba asibwa) okukkakkana ng’omusango poliisi egugobye olw’okwekyusa.

• Kyokka mu kiro ekyakeesa 1 January, 2014 ku wooteeri ya Sheraton, Chameleone yasuubiza abawagizi be ekirabo ky’omwaka omupya bwe yayita Moze ne Weasel n’alangirira nti olutalo lukomye era Moze w’afiiridde nga byakoma.

• Kino no nakyo ate kirina be kyogezza obwama nga bagamba nti, Chameleone bw’atandika okuddihhana n’abantu b’azze awalangana nabo, ng’omanya nti bagenda kugwa mu bya muziki!

• Balengezza abanene Azze agobwa mu mabaala ag’enjawulo lwa kulengezza bannannyinigo nga bwe kyali ku Angenoir ne Efendys. Ye ne Weasel baakuba oluyimba lwa Ekiduula kyo nga kigambibwa nti baali bagamba Angenoir.

• Olumu babadde bamuggulako entalo okumuwalana nga bwe yazaala omwana mu omu ku bakazi be, Lilian Mbabazi ne bagamba nti wa musajja mulala. Kyazuuka wabula nti ekibiina kya Team No Sleep ekyali kivudde mu kya Good Lyfe kye kyali kibipanga.

• Mu May w’omwaka oguwedde, yakasuka kompyuta y’ekika kya laptop eya kkampuni ya Royal sounds bwe yali mu lumbe lwa Ivan Ssemwanga e Muyenga. Afudde abanjibwa obukadde 56 obwa kompyuta eyo wabula ng’omusango yagwegaana.

• Gye buvuddeko ku Centenary park mu wooteeri ya Raftaz, mu lukiiko lw’okugoba muziki w’Ekinayigeria olwategekebwa ekibiina kya Save Uganda music, Moze yasika akazindaalo ku Eddie Ssendi muganda wa Andrew Benon Kibuuka eyali awolereza ekibiina kya UPRS n’avumaavuma abakulira ekibiina ekyo nti bababba.

Olutalo olulala lw’afudde ng’alwana lwe lw’ennyumba y’e Makindye mu Kizungu gy’abadde akayaanira n’ayali maneja we, Jeff Kiwa. Olutalo olwamuviiriddeko okufa lwabadde mu bbaala ya De Bar e Ntebe wiiki emu n’ekitundu emabega.

Yagenda mu bbaala eyo nnannyini yo George Egesa n’amugulira omwenge kyokka Moze naguyiwa ng’agamba nti gwa kitundu.

Egesa yasindika emmeeza guyiike ekyavaako Mose okuyomba Egesa n’alagira kanyama amufulumye kigambibwa nti kanyama yamusitula n’amukuba wansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...