TOP

Alumiriza aba Bodaboda 2010 okutta mutabani we

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd February 2018

OMUKAZI avuddeyo n’alumiriza aba Bodaboda 2010 abakulirwa Abdallah Kitatta okumuttira omwana we ow’emyaka 17.

Bya MUSASI WA BUKEDDE

OMUKAZI avuddeyo n’alumiriza aba Bodaboda 2010 abakulirwa Abdallah Kitatta okumuttira omwana we ow’emyaka 17.

Teddy Tusiime ow’e Makerere - Kikoni y’omu ku bantu abali mu kucacanca oluvannyuma lw’amagye okukwata abakulembeze ba Bodaboda 2010 abali mu kuttunka n’emisango egyenjawulo okuli n’obutemu.

Yategeezezza nti nga December 23, 2017 yafuna ekyekango Kyatalyerabira era bwannyonnyola bwati;
‘Mutabani wange Joseph Bateganya 17, mukwano gwe yamukima awaka n’amusaba amuvugeko ku pikipiki amutuuse ku Ambiance e Bukesa.

Kyokka baba bagenda ne bagwa mu kikwekweto ekyali kikolebwa aba Bodaboda 2010. Baamubuuza kaadi yaabwe nga tagirina n’abannyonnyola nti tavuga bodaboda, wabula yali atutteko mukwano gwe.

Ekikwekweto kyali kikolebwa Atanansi Kafeero, Lubowa, Kasimu Masembe ne Muhamad Male.

Nategeezebwa nti Male gwe baakazaako erya Saanya ye yakubira ddala mutabani wange akatayimbwa ku mutwe n’akalirawo oluvannyuma lw’okulemera pikipiki gye baali bamuggyako.

Munne gwe yali aweese bwe yalaba ng’embeera ekaaye ng’alaba batandise okukuba munne n’abuuka ku pikipiki n’adduka nga taabisobole.

Nagenda ku poliisi ya Old Kampala ne nzigulawo omusango ku fayiro nnamba CRB 221/2017, era wadde twawaayo amannya g’abantu abagambibwa okutta omwana wange, kyokka tewali yakwatibwa.

Neetawudde emirundi okutuusa poliisi bwe yantegeeza nti bajja kunkubira essimu, gye sifunanga n’okutuusa kati.

Nina enyiike ku mutima kuba simanyi oba ndifuna obwenkanya ku ngeri omwana wange gye yattibwamu.

Okumanya ng’abasajja baali bajoozi baawandiika akapapula akaliko ebigambo nti ‘Aba 2010 ffe tumusse eyeeyita omusajja atutambaale’ ne bakasonseka mu nsawo y’empale ye.

BATTA MUKULU WANGE
Manisoor Katende, omutunzi wa sipeeya wa mmotoka mu Kampala naye alumiriza aba Bodaboda 2010 okumuttira mukulu we Frank Ssengabi.

Yagambye nti Ssengabi yali muguzi wa byuma bikadde mu katale k’ewa Kisekka era nga Muhamad Male (Saanya) y’omu ku baali baamuguza ebyuma.

Aba Bodaboda 2010 baayita Ssengabi nti baliko emmotoka gye batunda, kyokka bwe yatuuka ne bakimussaako nti yali ayagala kugibba.

Emmotoka eno kigambibwa nti, Male yasooka kugikanisa wa Ssengabi naye n’atamusasula ssente za bukozi.

Bwe waayitawo ekiseera baamukubira essimu nga bamubanja ssente, naye n’ategeeza nti emmotoka yali agitunda era ng’anoonya muguzi asobole okufunako ssente ezibasasula.

Katende yagambye nti bwe baafuna omuguzi baamutwala ewa Male eyabagamba okumusisinkana ku Pope Paul mu Ndeeba.

Bwe baamusisinkana bakkaanya ku bbeeyi, era ne babakulembera okubatwala ewaali emmotoka ku ofiisi za Bodaboda 2010 e Bukesa.

Kirowoozebwa nti guno gwali mupango gwa kukakasa nti abaguzi balina ssente.

Omugenzi yabategeeza nga tannafa nti yalabira awo ekibinja ky’abavubuka nga babazinze nga batandika okubakuba.

Mu kiseera ekyo Male ye yali aduumira nga bw’agamba nti babakubire ddala kuba babadde bagezaako okubba emmotoka ye.

Abaaduukirize baagenda okujja nga basigaddeko kikuba mukono era Ssengabi yafiira mu ddwaaliro e Lubaga gye baamuddusa.

Katende yayongeddeko nti poliisi yabawa amagezi okuggulawo omusango ku poliisi y’e Nakulabye naye bwe baatuukayo baabagamba nti we baakubira abantu poliisi ya Muzaana y’etwalawo era gye balina okuloopa.

Ku poliisi ya Muzaana baabategeeza nti Bodaboda 2010 tebagisobola era ne babawa amagezi okugenda ku poliisi ya Old Kampala. Omusango gwaggulwawo ku fayiro nnamba, CRB 161/2016.

BATTE AGAMBA NTI BAALI BAMANYI BAMUSSE
Sam Batte y’omu ku bakaawonawo abaasimattuka ekibinja kya Bodaboda 2010 oluvannyuma lw’okukubwa ne bamubikkako olugoye nga bamanyi bamusse.

Batte agamba nti ekibinja ky’abasajja abaali baduumirwa Joel Kibirige nga kuliko n’omulala Huzairu Kiwalabye, Kasim Lubowa, n’abalala baankuba ne baleka nga bamanyi nfudde era bansanga ne bodaboda yange naye saddamu kugiraba.

Batte ayongerako nti baamusanga Busega nga July 23, 2016 yamala emyezi etaano ku kitanda naye yagenda okuvaayo ng’obukadde 19 buweddewo era ssente zino ezaamujjanjaba zasondebwanga bakibiina kya Century bodaboda.

Yagambye nti okuva lwe yasiibulwa omusawo yamulagira okumira eddagala buli lunaku era ng’aligula 100,000/-, buli lunaku kyokka singa abuukamu olunaku nga talimize ajja kufuna ekirwadde ky’okugwa ensimbu.

Talina kuba mu kasana wadde awali ebintu ebirekaana n’omusawo yamugaana okuliraana ebintu ebikankana kuba bisobola okumuviirako okucankalana omutwe. Eriiso lye erya kkono lyafa oluvannyuma lwa Kiwalabye okulifumitamu ekyuma emisuwa ne gikutuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam