TOP

Effujjo mu lumbe lwa Moze

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2018

Poliisi yayiye abaserikale n’abayaaye nabo ne bayiwa abakozi b’effujjo, ne lukoya.

Mowzeykololo1 703x422

Ssanduuko omuli omulambo bwa Moze mu luggya e Makindye mu Kizungu.

Bya Martin Ndijjo, Moses Nsubuga ne Mary Nambwayo, Lawrence Mukasa

Wakati mu bantu abangi abaagenze mu lumbe lw’omuyimbi Moze Radio mwe mwabadde n’abavubuka abaakazibwako erya Kifeesi abaatigomezza abantu okutuusa okukeesa obudde.

Abavubuka bano abaabadde mu bibinja eby’enjawuulo baasoose ‘kusalako’ makubo agatuuka ku ‘Never land’ (amaka ga ba Goodlyfe) nga bwe banyagulula abantu abagendayo.

Amaka gano gasangibwa Makindye mu Kizungu.

Poliisi yabalabuukiridde mangu n’ebalumbayo era n’ekwatako abamu olwo abaagiyise mu myagaanya gy’engalo kwe kwesogga ekibangirizi awaakungaanidde abakungubazi ne batandika okubakuba nga babanyagako essimu ne ssente.

 sanduuko omuli omulambo bwa oze mu luggya e akindye mu izungu Ssanduuko omuli omulambo bwa Moze mu luggya e Makindye mu Kizungu.

 

Embeera yasajjuze mu budde bw’okugabula, abakozi b’effujjo bwe baavudde ebweru ne beewagaanya mu kifo awaabadde wagabulirwa era mu kavuvungano kano ne geeti baagimenye.

Abaasigadde ebweru baggukidde mu kulya bikajjo n’okwonoona ebintu ebiri mu kitundu kino obwedda kwe baggusiza amaaso.

Poliisi yayiye abaserikale n’abayaaye nabo ne bayiwa abakozi b’effujjo, ne lukoya.

Ekiseera kyatuuse poliisi n’eragiriza abaserikale abalala nga bigaanyi. N’amagye gazze okutaasa embeera.

Bakanyama beekwese mu busiko enjaga ne bagifuuwa nga tewali abakuba ku mukono kyokka baabadde mu bibinja bakira ebyesoomooza n’okukubagana.

Omwenge ogw’ebika eby’enjawulo baagunywedde ne bagangayira.

 bantu nga balwanagana ne bakanyama basobole okuyingira munda mu kikomera Abantu nga balwanagana ne bakanyama basobole okuyingira munda mu kikomera.

 

Chameleone abatabukidde

Wakati mu kukola effujjo, abantu abamu baakubiddwa kuli bassereebu omwabadde omuyimbi Fik Fameica, Fefe busi. Kigambibwa nti bano Chameleone ye yabeekubidde ng’abateebereza okubba essimu ya Weasel.

Bino byabaddewo ku ssaawa 12 ez’oku makya, Chameleone bwe yalumirizza abayimbi okubba essimu ya mugandawe oluvannyuma lw’okubasanga nga bayingira ennyumba.

Abakungubazi be baataasizza abayimbi bano oluvannyuma lw’okugaana Chameleon eokukola effujjo yazzeeyo n’aleeta ekiso.

Chameleone yazzeemu n’alwanaganya n’abavubuka ba B2C bwe yabadde abatangira okuyingira ennyumba okulaba ku mulambo gwa Radio mu nnyumba
gye baasoose era bakanyama be baataasizza embeera.

 mubaka llan sewanyana ngabuuza ku maama wa oze ayitibwa afuko ku kkono ne maama wa easel ayitibwa rossie ayanja ali mu kiragala emabega Omubaka Allan Ssewanyana ng’abuuza ku maama wa Moze ayitibwa Kafuko (ku kkono) ne maama wa Weasel ayitibwa Prossie Mayanja (ali mu kiragala emabega).

 

Omuyimbi Lyto Boss bwe yafulumyemu okuva ku lumbe yagudde mu bakifeesi ne
bamukuba okumwogoloza.

Abantu baayogedde eri abakungubazi nga mulimu Mariam Ngadire, Joseph
Mayanja, Taata wa Chameleon n’abalala baalabudde abayimbi okweyisa n’obuvunaanyizibwa n’okukomya okukozesa ebiragalalagala.

Balaam yategeezezza nga bwe batalina ssente za lumbe olwo abantu ne batandika okusonda ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga