TOP

Famire 3 zikaayanira omulambo gwa Moze

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2018

OMUSAJJA omu avudde Tooro n’obujulizi obulaga nti ye taata wa Moze Radio. Famire endala evudde Busoga n’ekalambira nti omwana waabwe Moze alina kuziikibwa ku biggya e Njeru.

Mowzeytaata1 703x422

George Katebe ng’akyali muvubuka, ne Radio ng'akyali mulamu

Bya MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA

OMUSAJJA omu avudde Tooro n’obujulizi obulaga nti ye taata wa Moze Radio. Famire endala evudde Busoga n’ekalambira nti omwana waabwe Moze alina kuziikibwa ku biggya e Njeru.

Ate waliwo ekibinja ekivudde e Burundi nabo abagamba nti Moze mwana waabwe era baagala aziikibwe ku Ssande nga batuuse.

Wakati mu kukaayana, maama wa Moze ayongedde okukalubya ebintu kubanga ku basajja bonna alemye okusalawo.

Wabula ayogera kimu; “Mundeke nkaabire omwana wange. Abakaayana kati bulijjo mulinda ki?”

Mu mbeera eyo, Balaam Barugahara eyakulidde enteekateeka z’okuziika ategeezezza nti, talina ky’ayagaza maama wa Moze ku by’ani taata w’omugenzi omutuufu. “Kye twagaza maama yakisazeewo dda kya kuziika Moze e Kagga - Nakawuka.

“Tugenda kuziika ku Lwomukaaga e Kagga ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo. Tetusobola kugonjoola nkaayana z’ani kitaawe wa Moze, ebyo byetaaga ekiseera.

Tugenda kuziika, abakaayana banaagenda oluvannyuma mu musaayi (DNA) okusalawo taata wa Moze omutuufu”, bwe yategeezezza Bukedde eggulo.
Moze yafudde ku Lwokuna ku makya mu Case Hospital.

 onny  mutabani wa atebe Bonny M mutabani wa Katebe.

 

KATEBE AKAAYANIRA MOZE
George Katebe Asiimwe eyakazibwako erya Kakodyo olw’engeri gye yazannyangamu omupiira.

Avuga takisi za Kampala - Fort Portal mu ppaaka empya. Yazze n’ebifaananyi bye bwe yali afaanana we yazaalira Moze mu biseera by’entalo za Museveni.

Agattako ebifaananyi bya mutabani we Bonny Mulungi nga naye muyimbi amanyiddwa nga Bonny M, by’agamba nti ono y’adda ku Moze era yamufaanana n’amumalayo - amufaanana endabika, enneeyisa era byonn baabiggya ku ye.
Yabadde akalambidde omulambo gutwalibwe e Tooro.

Balaam yategeezezza Bukedde nti, Katebe by’ayogera biwulikika ng’ebirimu eggumba, kyokka si kyangu kubyesigamako mu kaseera kano akatono okusalawo.

Katebe yategeezezza Bukedde nti yali maneja wa wooteeri ku William Street n’asisinkana maama wa Moze n’amuganza. Nga wayise akaseera katono, maama wa Moze yategeeza Katebe nga bwe yali afunye olubuto.

“Nnasooka butabitwala nga kikulu. Kyokka bwe waayitawo emyezi ena n’addamu okuntegeeza nti bwe twegatta nnamufunyisa olubuto. Nnava mu Kampala ne nzirayo e Tooro. Okuddamu okuwulira ng’omukazi azadde”, bwe yategeezezza.

Lwaki Katebe azze kati?

Yagambye nti, okuva lw’alina amaka amatongole yayagala okukikuuma ng’ekyama. Ekirala maama wa Moze yalaga nti, yanyiiga olwa Katebe obutamuyamba okuva lwe yafuna olubuto.

Kyokka Moze bwe yakula kwe kusalawo okussaawo olutindo wakati we n’omwana kyokka bwe yagenda e Makindye ng’eno Moze gy’asula n’alemesebwa okuyingira.

Moze bwe yakola ebbaala e Wandegeya era Katebe yagendayo n’atamusanga n’alekawo essimu bw’adda amukubire. N’alekawo n’obubaka obweyanjula nga taata wa Moze.

“Mbeera ‘bizze’ ate nga ne Moze akola nnyo takwasika, kwe kukiwa obudde. Kati afudde siyinza kuleka musaayi gwange kuzaawa”, bwe yategeezezza.
Moze ng’ali mu ddwaaliro, yagambye nti y’omu ku baasooka okugendayo ne yeeyanjula kyokka ne bamuleetera abaserikale ne bamugoba.

MOZE AZAALIBWA E JINJA
Oluvannyuma lw’okulabagana ne Katebe, maama wa Moze yafumbirwa e Jinja era gye yazaalira Moze, n’akulirayo n’okusoma.

Ab’e Jinja ne bamanya nti ono mwana waabwe era we basinziira okukaayanira omulambo guziikibwe ku biggya e Njeru. Baagenze ku poliisi e Katwe ebayambeko okubawa omulambo.

AB’E BURUNDI BAJJA
Mu biseera by’olutalo lwa NRA, kigambibwa nti maama wa Moze yalabaganako n’omusajja Omurundi.

Moze bwe yalwala, ab’e Burundi ne bafuna amawulire era ne basindika ababaka okumulaba.

Bwe yafudde ne balagira Moze aleme kuziikibwa Lwamukaaga wabula ku Ssande kibawe obudde obumala okutambula okuva e Burundi okujja okusanga okuziika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.