TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalunzi b'e Ssembabule bali mukutya olw'eddagala lya Kalusu okubaggwaako

Abalunzi b'e Ssembabule bali mukutya olw'eddagala lya Kalusu okubaggwaako

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd February 2018

Abalunzi b'e Ssembabule bali mukutya olw'eddagala lya Kalusu okubaggwaako

Lib1 703x422

Bya Maria Nakyeyune
 
ABALUNZI mu Disitulikiti y'eSsembabule balaze okutya olw'eddagala erigema ekirwadde kya Kalusu okuggwawo ng'abasinga tebafunye ekiyinza okuviirako obulwadde okusigala mu nte.

Bano basinzidde mu lukiiko lw'abakulembeze n'abasawo b'ebisolo olutuuziddwa ku District ne basaba Government okubongera eddagala olw'ekirwadde kino okwongera okwegiriisiza mu District.

 

 
Okusinziira ku Akulira ebya Production eSsembabule Dr Emmanuel Kawooya,  Government yakatuusa Doozi emitwalo ebiri kyokka tezimaze bantu bonna n'agamba nti basazeewo nga District okuteega buli ewali ekkubo erigatta ku District endala okutaayiza ente ezifulumizibwa n'okuyingira kiyambeko mu kukendeeza ekirwadde.

Ssentebe w'akabuga k'eSsembabule Jude Kasekende alabudde abasuubuzi obutetantala kusuubulayo nte kiyambeko obutasaasanya kirwadde n'alaga obwennyamivu olwa Poliisi okukkiriza abamu okuyisaawo ente nga basasuddeyo akasente. 

 
Omubaka wa President eSsembabule Henry Baguma atabukidde Kkooti y'eSsembabule eyawadde abasuubuzi munaana abaakwatibwa nga bakukusa ente mu kiro n'agamba nti oyo yenna anaddamu okukwatibwa teri kumukkiriza kweyimirirwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam