TOP

Abeeyita baganda ba Moze bavuddeyo ne boogera

By Musasi wa Bukedde

Added 4th February 2018

Abeeyita baganda ba Moze bavuddeyo ne boogera

Mu1 703x422

Abagamba nti baganda ba Moze bazze mu ofiisi ya Bukedde. Okuva ku ddyo ye Fred Kasumba ne Godfrey Byabakama

Fred Kasumba, mutabani wa Lindiriza agamba nti abadde ayita Moze muganda we yategeezezza nti taata we, David Luyimba eyafa mu 1995 ng’olutalo lw’e Rwanda lwakaggwa ye yali azaala Moze. Yategeezezza nti kitaawe yali abeera Jinja nga gy’akolera mu myaka gye 80, era gye yalabaganira ne maama wa Moze. Kyokka obuzaale bwe bwali bw’e Rwanda era yateranga ekiseera n’addayo.

Kyokka olutalo lw’ekittabantu bwe lwatandika mu 1994 yakomawo mu Uganda n’atandika okubeera kuno, kyokka nga mu kiseera ekyo yali anafuye olw’obulwadde. Oluvannyuma lw’okulwalira ekiseera ekitono yafa mu 1995. Kasumba yagambye nti wadde kitaabwe yali yafa, kyokka baasigala nga bakwatagana ne Moze kuba baali bakimanyi nti muganda waabwe. “mbadde ntera okugenda e Makindye ne tunyumyamu n’omugenzi era nga naye amanyi okujja mu kyalo.

Omwaka oguwedde yajja mu kyalo n’alima ne ku kiggya era n’atusuubiza okukomawo aleete n’abaana” Kasumba bwe yagambye. Mu mwezi ogujja, Kasumba yagambye nti babadde bategese okukola okumanyagana nga famire era nga beesunga nnyo okuba ne Moze kuba abadde yategeezebwa era n’asuubiza okubeerawo. Ebya Moze okuba nga bamuzaala Luweero, Kasumba agamba nti nnamwandu Lilian Mbabazi abimanyi bulungi kuba ensonga zonna bba yali yazimunnyonnyola.

Mu kiseera kino tebalina buzibu na Moze kuziikibwa Nakawuka, kyokka ekikulu baagala bamulekwa basigale nga bamanyi ekika kyabwe. Kyokka ne ky’okuziika e Nakawuka balaba ng’ekitali kirungi kuba ekitundu kikuze nnyo nga kyangu okusenda ekiggya olw’enkulaakulana.

Kasumba yagambye nti beetegefu n’okugenda ku musaayi babakebere endagabutonde bazuule famire ezaala omugenzi naddala mu kiseera kino ng’abantu beeyongedde abagamba nti be bazaala Moze. Eggwanga ly’omugenzi yagambye nti abadde Munyarwanda, wadde nga bamaze ekiseera nga bawangaalira Luweero gye baateeka n’ekiggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam