TOP

Agambibwa okutta Moze Radio akwatiddwa

By Eria Luyimbazi

Added 5th February 2018

Agambibwa okutta Moze Radio akwatiddwa

Gop1 703x422

Godfrey Wamala agambibwa okutta Moze ng'atwali ku poliisi e Katwe

POLIISI ekutte Kanyama agambibwa okukuba omuyimbi Moses Ssekibogo amanyiddwa nga Moze Radio bwe baali mu bbaala ya De Bar e Ntebe  

Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy y'akwatiddwa abasirikale okuva ku poliisi ye Katwe abakulembeddwamu DPC Frantile Lwamusaayi  ku Ssande akawungeezi bwe bamukukunudde e Kyengera gy'abadde yekwese okuva Moze Radio bwe yakubibwa.

Lwamusaayi yagambye nti okukwata Wamala ono kyadiridde omuntu omu okubawa amawulire nti waliwo omuntu ateeberezebwa okuna nga yeeyasse Moze ali wamukwano gwe gye yeekwese e Kyengera.

Olwatusiddwa ku poliisi e Katwe Wamala yagiddwako sitatimenti n'annyonnyola ebyaliwo ku bbaala ya De Bar e Ntebe omuyimbi Moze Radio weyafunira obuzibu obugambibwa nti yakubibwa.

Wamala yagambye nti baali mu bbaala eno  nga batudde ku mmeeza  okwali Omuyimbi Moze Radio, Washington nga akwata nnyimba, Hassana Lukwago ne George e Egesa  ne wabaawo okuwanyisiganya ebigambo.

Yagambye nti Moze Radio yasomooza bonna abaali ku mmeeza nti  alina okulaga nti alina ssente ez’okugula omwenge era n'ategeeza nti altalina abaviire kwekuggyayo emitwalo 10 era n'alagira n'abalala basse ssente ku mmeeza.

Yategeezezza nti obuzibu bwatandikira ku Moze kuwanyisiganya bigambo ne Egesa era n'amuyiira omwenge gw’ekika kya Black Lebel nga wano webayitira bakanyama okumufulumya.

Yagambye nti waliwo eyalina okumusasula ssente ze n'asalawo okuva ku bbaala eno  nga bwe yatuuka wabweru yasanga Radio ali kuttaka nga n’abantu bakungaanye.

Yannyonyodde nti yasalawo okuva ku bbaala eno okweyongerayo kyokka yalemeddwa okunyonyola engeri  Moze Radio gye bamufulumyamu okuva ku mmeeza kwe yali ne banne.

Yegaanyi ebyokukuba Moze Radio ekyamuviirako okufa kyokka n'agamba nti nga wayise ennaku bbiri nga omugenzi aweereddwa ekitanda natandika okuwulira ebiyitingana nti yeyamukubye kwekusalawo okugenda ewa Mukwano e Kyengera okubeera eyo okutuusa poliisi bwe yamukutte.

Abasirikale olw'akutte Wamala bamututte ku poliisi e Katwe n'akola sitatimenti oluvanyuma n'atwalibwa ku poliisi e Ntebe awali fayiro y’omusango

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...