TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakazi n'abaana ba Moze Radio beeyongedde: Famire etuula leero okubakakasa

Abakazi n'abaana ba Moze Radio beeyongedde: Famire etuula leero okubakakasa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2018

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi Moze Radio okuziikibwa, famire ekoze enteekateeka eziddako okutambuza obulamu.

Wata 703x422

Omukadde asemba ku ddyo ye Jjajja wa Moze. Abazungu ababiri abaliraanahhanye bombi bannamwandu. Ali mu kyenvu n’ali mu gaalubindi ne bulawuzi enzirugavu nga bwe badirihhanye bombi bannamwandu.Omukazi omunene mu gomesi n’abalala, bamaama ba Moze. Wano baabadde mu kuziika e Nakawuka.

Mu zino mulimu okutuuza olukiiko lwa famire okuzuula omuwendo gw’abaana omutuufu, omuwendo gwa bannamwandu abatuufu naddala abo abalina abaana, ensonga z’ani taata omutuufu n’ebirala.

FAMIRE ETUULA LEERO

Oluvannyuma lw'okuziika Radio, aba famire ne bannamwandu bonna baatudde mu lukiiko okutema empenda ez’okuddukanyaamu ebintu by’omugenzi.

N’okulaba engeri y'okukwatamu abakyala abalala abavaayo n’abaana abagamba nti ba Radio.

OMUWALA ALEESE OMWANA OMULALA

Waliwo omuwala eyetegeerekeseeko erya Sheela agamba nti alina omwana wa Radio nti yamuzaala akola mu Airtel e Bugoloobi wabula nga teyasobodde kubeerawo mu kuziika olw'abantu abangi.

Ensonda zaategeezezza nti omuwala ono alina omuntu gwe yakubidde essimu mu famire ng’asaba bamukkirize naye abeere mu lukiiko olwaleero ayanjuleyo omwana ono mu famire.

Era ku Lwomukaaga mu kuziika waliwo omwana eyaleeteddwa, kigambibwa nti nnyina yamukwasa kanyama amuleetere John Ssegawa eyabadde kalabalaaba w'omukolo gw'okuziika kyokka olwamutuusizza ewa Ssegawa yamulanze ng’abuze ku nnyina.

BAMANEJA BA GOODLYFE NE MIKWANO GYA RADIO NABO BAYISE OLUKIIKO

Bamaneja ba Goodlyfe n'emikwano gy’omugenzi nabo olukiiko olwaleero okusala amagenzi ag’okutwala myuziki wa Radio mu maaso.

Era waliwo mikwano gye basatu abagamba nti waliwo ebigambo Moze Radio bye yayogerako nabo mu nnaku ze ezaasembayo nga tannafa era nabo b’akubyogera mu lukiiko luno olugenda okuba ku Neverland e Makidye mu maka ga Goodlyfe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...