TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebigezo bya S4 bisuubirwa okufuluma enkya - UNEB

Ebigezo bya S4 bisuubirwa okufuluma enkya - UNEB

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2018

EBYAVA mu bigezo bya Siniya eyokuna bifulumizibwa nkya ku Lwokubiri. Bino bye bigezo abayizi 325,695 okuva mu masomero 3,620 aga Siniya bye baatudde wakati wa October 16 ne November 20, 2017 nga byali bisuubirwa okulumizibwa wiiki bbiri eziyise kyokke ne bireerewa ekireewo obunkenke mu bazadde n’abayizi.

Luzirass660371 703x422

Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kyafunamu okusoomoozebwa ebimu ku bigezo bino ebiyitibwa Uganda Certificate of Education (UCE) bye byabbibwa mu wiiki eyokubiri nga byatakandika okutuulibwa mu October 2018.

Ensonda mu UNEB zaategeezezza nti okubbibwa kw’ebigezo okwo kye kimu ku bivuddeko okukeerewa kw’okufulumya ebyabivaamu ng’abakungu ba UNEB n’aba Minisitule ey’Ebyenjigiriza basala entoto.

Akulira UNEB, Dan Odongo yategeezezza Bukedde wiiki ewedde nti Minisitule y’Ebyenjigiriza gye balinze okuwa olunaku olw’okufulumizaako ebyava mu bya S4 ng’agamba nti bbo beetegefu okufulumya ebyava mu bigezo bino kuba buli kimu kyategekebwa dda.

ABA UNEB LEERO BASISINKANA MINISITA JANET MUSEVENI

Olwaleero ku ssaawa 5:00 ez’oku makya, ttiimu y’abakungu ba Uneb nga bakulembeddwamu Odongo lwe basisinkana Minisita w’Ebyenjigiriza Janet Museveni okumuyitirayitiramu mu byavudde mu bya Siniya eyokuna.

Aba UNEB okusisinkana Minisita w’Ebyenjigiriza batuukiriza nkola ebaawo ng’ebyava mu bigezo tebinnafulumizibwa mu butongole, abakungu ba Unbed okusisinkana Minisita w’Ebyenjjigiriza ne bamuyitiraamu ebyavudde mu bigezo.

Mu kafubo ka Minisita n’aba Uneb, olunaku olw’okufulumya ebibuuzo lwe lugenda okukkaanyizibwa kyokka nsonda mu Uneb zaategeezezza nti ng’enkola bw’eba bulijjo, kasita Minisita bamuyitiramu, enkeera ebibuuzo lwe bifulumizibwa, ekitegeeza nti bigenda kufulumizibwa enkya ku Lwokubiri February 6, 2017.

Omwaka oguwedde, ebyava mu bya S.4 ebya 2017 byafulumizibwa nga January 31, 2017 kyokka bino bikandaaliriddemu.

OLUNGEREZA N’AMASOMO GA SSAAYANSI BYA BAGOYEZZA

Ensonda mu UNEB zaategeezezza nti abayizi ku mulundi guno tebaakoze bulungi bigezo era omuwendo gw’abaagudde gusinga ogw’abayizi abaagwa mu bya S.4 ebya 2016.

Abayizi baasinze kuyita amasomo ag’Ebyeddiini ey’Obusiraamu n’Ekristaayo, n’Ebyobusuubuzi kyokka essomo ly’Olungereza n’amasomo ga Ssaayansi, abayizi tebaagakoze bulungi era nga bwe kibadde mu myaka egiyise nga baasinze kugwa Biology ne Chemistry.

Olungereza lukyayongera okutawaanya abayizi naddala mu kutegeera ebibuuzo nga bwe bibeera bibabuuziddwa n’okubyanulula ng’abayizi abamu bateebereza buteebereza ne bamala gassaawo ebyokuddamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...