TOP

Abaana ba Tamale Mirundi babiri batikkiddwa

By FORTUNATE NAGAWA

Added 6th February 2018

Abaana ba Tamale Mirundi babiri batikkiddwa

Jub1 703x422

Gilbert Mirundi ne Jane Mary Namuli abaana ba Tamale Mirundi abaatikkiddwa

MINISTA  avunaanyizibwa ku nsonga za Semateeka Gen Kahinda Otafire agugumbudde bannakibiina kya NRM abajjudde omulugube , obulyake , obunnanfuusi wamu n'obubbi n'agamba nti bano tebakomye ku kuvumaganya kibiina wabula baguumazizza nnyo bannayuganda nga babasuubiza ebyoya byenswa.
 
Gen Kahinda Otafiire yavudde mu mbeera n'agamba nti ye si wakubeera mu NRM eyo ey'akakundi k'abanyazi  kubanga bakotoggera enteekateeka z'okukulaakulanya ekibiina kino n'agamba nti bano bateekwa okugambibwako bakomye emize emibi egivumaganya ekibiina.
 
Otafiire okwogera bino yasinzidde ku mukolo gw'amatikkira g'abaana b'omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z'amawulire Tamale Mirundi,  Abaana ba Tamale babiri okuli Dr Tamale Mirundi Gilbert, ne Jane Mary Namuli baatikiddwa diguli okuva ku kasozi Makerere.
 amale irundi ngayogera ku mukolo ne mukyala we uliet irundi Tamale Mirundi ng'ayogera ku mukolo ne mukyala we Juliet Mirundi

Otafiire yakyukidde abaana abasomi n'abakakasa nga mu gavumenti bwe mutali mirimu gimala era sikyangu  okubawa emirimu bonna kyokka abayivu bateekeddwa okussaamu amaanyi mu kwongera obukugu mu byebasomye wamu n'okwongera okukuguka mu bitundu eby'enjawulo ebisola okubayamba okweyimirizaawo

 
Ye Tamale Mirundi mu kwogera kwe akuutidde abasomye okweyambisa amagezi ge bafunye okwekulaakulanya atenga ye mukyala Mirundi Juliet Mirundi oluvannyuma lwa muwala we okutikkirwa yamutegeezezza nti kati ekiddako amusaba mbaga.
 
Ate ye eyaliko omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Dr Specioza Wandera Kazibwe akuutidde abayizi abasomye okubeera n'empisa , okukola obutebaalira ate nga basaayo omwoyo mu bye bakola  basobole okweyambisa bye basomye okuganyulwa eggwanga .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda