TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Paasita Munnayuganda gye bamuttidde e South Afrika

Engeri Paasita Munnayuganda gye bamuttidde e South Afrika

By Joseph Makumbi

Added 7th February 2018

YALINNYE ku kituuti n’atandika okubuulira nga bulijjo. Okusaba olwawedde, abagoberezi ne baabuka, ekyawadde abatemu omukisa okwesogga ekkanisa ne bakuba Paasita amasasi agaamusse.

Kamba1 703x422

Kamba ne famire ye.

Bya JOSEPH MAKUMBI

YALINNYE ku kituuti n’atandika okubuulira nga bulijjo. Okusaba olwawedde, abagoberezi ne baabuka, ekyawadde abatemu omukisa okwesogga ekkanisa ne bakuba Paasita amasasi agaamusse.

Paul Kamba owa Destiny Midwives Christian Center (DMCC) Munnayuganda eyagenda ne mukyala we Christine Kamba e South Africa okubuulira enjiri era amasasi baagamukubidde mu maaso ga mukyalawe eyabuze okufa ensisi ng’obudde bukya ku Ssande.

Omusumba Franklin Mondo Mugisha owa Empowerment Christian Prayer Center International e Mutundwe abadde mukwano gw’omugenzi yategeezezza nti abatemu olwamaze okukuba paasita amasasi, tebalina kintu kyonna kye baakutteko ne bafuluma ekkanisa ne babulawo.

Yagambye nti, nnamwandu Christine Kamba yamutegeezezza nti, baabadde bamaze okusaba okusookawo ku makya okukomekkerezebwa ku ssaawa 4:00 ez’oku makya nga bagenze mu ofiisi kunywa caayi baddeyo mu kkanisa okusaba okusembayo okutuusa ku ssaawa 8:00 kutandike.

Nnamwandu yagambye nti, baba bakyali mu kunywa caayi, abasajja babiri ng’omu akutte emmundu baayingidde ne bagimusongamu.

 ondo Mondo

 

Yagambye nti, mu kutya, bba yatandise okusaba essaala Katonda amuyambe ku b’emmundu abaabadde bamulumbye n’ababuuza oba baagala ssente era n’abasongera we ziri bazitwale.

Agamba nti, omusajja eyabadde akutte emmundu yamuzzeemu ekigambo kimu mu Luzungu nti ‘nosense’ olwo n’amukuba amasasi abiri.

Erimu, lyakutte mu lubuto ate eddala ne likwata mu bbunwe.

Wabula, omukyala yawazeewazeeko nga takkiriza nti bba attiddwa ne basooka bamutwala mu ddwaaliro eriri okumpi n’ekkanisa ne bamuggyawo ne bamutwala mu ddala eddene mu kibuga Johannesburg abasawo gye baakamutemedde nti bba yafudde dda.

BASONZE KU WAAVUDDE OBUZIBU

Mondo gwe twasanze ku kkanisa ye yagambye nti, Kamba yabadde yatandika okusaba kwe yatuuma ‘Pray Untill Something Happens.’ Yagambye nti, mu kusaba kuno, abantu babadde beekulumulula okuva ebule n’ebweya ng’ekkanisa ejjula n’ebooga buboozi.

Kino, kibadde tekitera kulabika mu makanisa e South Afrika era bangi ku basumba banne mu ggwanga babadde bamulaba bubi.

Yagasseeko nti, okusinziira ku batemu okubeera nga tebalina kintu kyonna kye baatutte, bateebereza nti wano we waavudde obuzibu.

ALUDDE NGA MWERALIIKIRIVU

Mondo yagambye nti mu December w’omwaka oguwedde yali South Afrika era n’asisinkana ne Kamba.

Baayogera bingi nga ab’omukwano n’amutegeeza nti, yali alina obweralikirivu era awulira nti emmeeme ye si ntebenkevu olw’abantu abayinza okumukolako obulabe.

Yagasseeko nti, yamugamba ku bantu abaamutuukirira ne bamwatulira nti asusse w’alinaokukoma era yeegendereze.

Yagambye nti, mu kumwewerera kuno, yatandikira ddala okutya era baagenze okumutta ng’alinga abadde akisuubira nti essaawa yonna wandibaawo ekibi ekimukolwako.

Yagasseeko nti, ekisinze okubatabula, Kamba abadde n’abaserikale ababadde bamukuuma abasoba mu bataano nti kyokka we baamuttidde, tewali muserikale n’omu yabaddewo, bonna baabadde tebaakoze kye bateebereza nti, wandiba nga waabaddewo olukwe nga n’abaserikale baalutegeddeko

EBIKWATA KU KAMBA EYATTIDDWA

  • Mondo agamba nti, yaweerezaako e South Afrika gye yava n’agenda mu Amerika gye yabeerako ebbanga ttono n’adda e South Afrika ng’awulira Katonda amufuseeko amafuta g’okutandika ekkanisa era kwe kutandika ekkanisa ye.
  • Okubuulira enjiri, yakutandikira wano mu Uganda mu makanisa ga kuno oluvannyuma n’agenda e Kenya ne yeegatta ku kkanisa ya World Harvest Church ey’omusumba Martin Ssuuna.
  • Azaalibwa Bugwere mu disitulikiti y’e Budaka, bazadde be, gye baava ne basenga e Jinja ate aba famire abalala ne basenga e Nakifuma mu Mukono.
  • Ono yakola naye okumala ebbanga mu kibuga Nairobi oluvannyuma n’avaayo n’agenda e South Afrika.
  • E South Afrika, yafunayo omukazi Munnakenya Christine gwe yawasa n’amuzaalamu abaana babiri b’alese ku nsi.

Eggulo, aba famire ne Mondo, baatudde okutema empenda z’okukomyawo omulambo era kyasaliddwaawo Mondo agende e South Afrika alabe bwe bakola entegeka okuzza omulambo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...