TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba bodaboda abakolagana n'abebyokwerinda babakutte

Aba bodaboda abakolagana n'abebyokwerinda babakutte

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2018

AKABINJA k’aba bodaboda abagambibwa nti bakolagana n’abeebyokwerinda ne bawamba abantu n’ekigendererwa ky'okubba basindikiddwa ku limanda bwe basomeddwa emisango omuli ogw’okuwamba n’okukozesa emmundu okubba.

Isingoma1 703x422

Nicholas Isingoma (okuva ku kkono), Edmond Mugumya ne Remegio Sseguya nga baleetebwa ku kkooti ya Buganda Road okuvunaanibwa.

Bya ALICE NAMUTEBI

AKABINJA k’aba bodaboda abagambibwa nti bakolagana n’abeebyokwerinda ne bawamba abantu n’ekigendererwa ky'okubba basindikiddwa ku limanda bwe basomeddwa emisango omuli ogw’okuwamba n’okukozesa emmundu okubba.

Abavunaaniddwa kuliko Remegio Sseguya omuvuzi wa bodaboda e Nansana, Nicholas Isingoma ne Edmond Mugumya akola ogw’obukuumi.

Olw'abasomedde emisango ne bategeeza kkooti nti bagitegedde, omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Charles Yeteise yalagidde batwalibwe mu kkomera e Luzira.

Abavunaaniddwa tebakkiriziddwa kusaba kweyimirirwa yadde okugaana oba okukiriza omusango kubanga Kkooti Enkulu y'erina obuyinza okuwozesa emisango gya nnaggomola nga ogw’okuwamba.

Bano baagattiddwa ku kibinja ky’abalala 4 abaasindikibwa mu kkomera omwaka oguwedde okuli owa poliisi ali ku ddaala lya ASP Edward Edyegu, John Tuhairwe, Denis Ongol omuyizi mu Kampala International University n’omuvuzi wa sipensulo Moses Batambuza.

Okusinziira ku bujulizi, nga September 18, 2017 bagoberera omubalirizi w’ebitabo Gerald Yasaba bwe yali atwala abaana ku ssomero ku makya ne bamuwamba nga beeyambisa emmundu ne bamutwala ku Centernary Park gye bamukuumira nga bwe bamusonzemu emmundu nga bamulagira akubire abenganda ze essimu baleete omutwalo gwa doola (mu ssente za wano bwe bukadde obusoba mu 300) oba okumuta.

Kigambibwa nti bamubbako ssente obukadde 3 ze yalina naye nga tezibamala kwe kumuwa essimu akubire abenganda ze era ku ssimu poliisi we yabalondolera n'ebakwata.

Kigambibwa nti bano baliko bannaabwe abalala abadduka bwe baali ku kibinja era nga poliisi eri ku muyiggo gw’okubakwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....