TOP

Kkooti eyimbudde 3 ku gwa Kaweesi

By Edward Luyimbazi

Added 7th February 2018

OMULAMUZI Noah Sajjabbi owa kkooti y'e Nakawa ayimbudde abasibe 3 ababade basigala mu kkomera e Luzira ku musango gw’okutemula eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi be baggulako emisango emirala egy'okukkiriza n’okubeera abayeekera ba ADF.

Mugoya1 703x422

Ali Mugoya (ku kkono), Sinaani Hibwagi ne Yusuf Ahmed nga bali mu kkooti e Nakawa gye baabayimbulidde.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI

OMULAMUZI Noah Sajjabbi owa kkooti y'e Nakawa ayimbudde abasibe 3 ababade basigala mu kkomera e Luzira ku musango gw’okutemula eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi be baggulako emisango emirala egy'okukkiriza n’okubeera abayeekera ba ADF.

Ali Mugoya, Yusuf Ahmed Hilal ne Sinaani Hiwangi be bayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gye bamaze emyezi 10 nga bali limanda ku musango gw'okutta Kaweesi, omukuumi we Keneth Erau ne ddereeva we Geofrey Mambewa.

Mugoya, Hibwangi ne Yusuf bavunaanibwa ne bannaabwe abalala omusango gw'okukiriza n’okubeera abayeekera ba ADF okuli: Shaban Senfuka, Abdurah Kalla ne Umar Maganda era ng'emisango gino gy'abaggulwako oluvannyuma lw’omulamuzi Sajjabbi okubakkiriza okuva mu kkomera ku musango gw’okutemula Kaweesi kyokka ne baddamu ne bakwatibwa.

Omulamuzi Ssajjabbi bw'abadde ayimbula abasajja bano ku kakalu ka kkooti, abalagidde okusasula emitwalo 50 egy'obuliwo ate ababeeyimridde okuli Hamali Kyeloba, Ali Wegulo, Sulaiman Wamono, Ahmed Ibrahim ne Mariam Nasinya n'abalagira okusasula obukadde 500 ezitali zaabuliwo.

mugenzi aweesiOmugenzi Kaweesi

 

Era abalagidde okweyanjulanga buli mwezi ku poliisi eri mu kitundu gye babeera. Wabula Joyce Anyango omuwaabi wa Gavumenti asoose kugaana kweyimirirwa kw'abasajja bano ng'agamba nti abantu be baaleese okubeeyimirira tebali mu matwale ga kkooti y'e Nakawa.

Kino omulamuzi yakigaanyi n'agamba nti engeri gye baleese densite eziraga nti Bannayuganda bakkirizibwa okweyimirira bannaabwe era poliisi bw'enaaba ebeetaaga basobola okubafuna singa kkooti ebaako ensonga zeebeetaagako.

Omusango guno omulamuzi Ssajjabbi yagwongeddeyo okugubasomera okutuusa nga March 6, 2018 kiyambeko oludda oluwaabi okumaliriza okunoonyereza ng'omuwaabi wa Gavumenti Anyango bw'asabye.

Anthony Wameli looya wa bavunaanibwa yasabye kkooti obutasalira bantu bano sente nyingi okubayimbula ku kakalu ka kkooti kubanga bwe yasooka okubayimbula yabasalira obukadde 2 obwabalema okusasula kubanga baali tebazirina ekyabaleetera okuddizibwayo mu kkomera e Luzira era kino omulamuzi Ssajjabbi kwe kukiwuliriza n'abasalira emitwalo 50.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...