TOP

Ebya Moze: Famire etudde ku by’omusango

By Musasi wa Bukedde

Added 7th February 2018

NNANNYINI bbaala we baaku­bira Moze Radio e Ntebe n’abalala abaakwatibwa baggyid­dwaako ogw’okutta Moze nga kati bagenda kubeera bajulizi ba Gavumenti mu musango ogwo.

Moze1 703x422

Aba famire nga batudde mu lukiiko e Nakawuka eggulo. Mu katono ye mugenzi Moze

Bya JOSEPHAT SSEGUYA, ERIA LUYIMBAZI, SHAMIM NABUNYA, GODFREY SSEMPIJJA, MARTIN NDIJJO

NNANNYINI bbaala we baaku­bira Moze Radio e Ntebe n’abalala abaakwatibwa baggyid­dwaako ogw’okutta Moze nga kati bagenda kubeera bajulizi ba Gavumenti mu musango ogwo.

Kyokka omuwaabi Gavumenti, emisango gy’okutta Moze agita­dde ku kanyama Godfrey Wamala eyeeyita Troy eyakwatiddwa ku Ssande nga yeekwese e Kyengera.

Akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi e Ntebe, Daniel Batte yagambye nti, fayiro yavud­deyo ew’omuwaabi wa Gavumenti ng’alagidde okuvunaana Wamala. Era leero ku Lwokusatu, atwalibwa mu kkooti asomererwe emisango.

Omuwaabi wa Gavumenti yalagidde okuggya ku George Egesa ne Xavier Rekere emisango gy’okutta Moze bafuulibwe abaju­lizi okulumiriza Wamala.

Egesa ye nnannyini bbaala ya De Bar we baakubira Moze oluvan­nyuma n’afiira mu Case Hospital wiiki ewedde.

 

EYAKWATIDDWA ATUTTE POLIISI WE BAAKUBIRA MOZE

Eggulo George Egesa yatutte poliisi e Ntebe n’alaga engeri Moze gye yayisibwamu nga January 22, ekyavaako okufa. Yabalambuzza ekifo we yali ayimiridde ne mik­wano gye ne Moze we yali anywera ne banne.

Yagambye nti Moze oluvannyu­ma lw’okutamiira yatandika oku­leekaana, Moze n’alumba Egesa nga bw’amusomooza nti “ggwe oli maneja ki atasobola wadde okun­gulira Black Label?”.

Yategeezezza nti yalagira omu­weereza okuwa Moze eccupa ya Black Label, kyokka Moze mu kifo ky’okuginywa yagiyiira bantu.

Abakuumi baalagira omuseri­kale Pamela (ono akuuma kifo ekyo kyokka aludde nga muk­wano gwa Moze) amufulumye era n’amufulumya. Kyokka Egesa kyamwewuunyisa bwe baamuyita nga waakayita akaseera katono n’asanga nga Moze agudde ku ttaka.

Egesa teyasobola kumanya yakuba mugenzi wadde ekyamu­kubya kuba baamukubira wabweru w’omulyango ogufuluma.

PULODYUSA WASHINGTON BAMUWADDE OBUKUUMI

Oluvannyuma lw’abantu okuta­bukira omukwasi w’ennyimba Washington ng’amannya ge amatu­ufu ye David Bangati n’abamu oku­kimuteekako nti alina ky’asirikidde ku nfa ya Moze, aweereddwa obu­kuumi. Washington, omu ku basuu­birwa okukozesebwa ng’abajulizi abakulu mu musango guno abadde munwanyi wa Moze era yali naye ku bbaala ya De Bar e Ntebe ku lunaku lwe baamukuba.

Kyokka abadde yagaana okub­vaako ky’ayogera ku byaliwo ne bwe baamuyise okwogera mu kuziika ne kirowoozesa nti aliko by’amanyi by’asirikidde.

Kyokka ku Mmande yavuddeyo oluvannyuma lwa poliisi okukwata Wamala, n’annyonnyola ebyaliwo. Washington agamba nti bye yalaba yabadde amaze okubitegeeza poliisi mu sitatimenti gye yakola e Ntebe.

 annamwandu ba oze okuli illian babazi atambula nabazungu abasembye ku ddyo nnyina wakati mu busuuti eya ppinki jjajja wa oze atudde mu maaso naba famire abalala abaatuuzizza olukiiko eggulo Bannamwandu ba Moze okuli Lillian Mbabazi (atambula), n’abazungu (abasembye ku ddyo), nnyina (wakati mu busuuti eya ppinki), jjajja wa Moze (atudde mu maaso) n’aba famire abalala abaatuuzizza olukiiko eggulo.

 

WEASLE AVUDDE MU NJU YA GOODLYFE

Omuyimbi Douglas Mayanja amanyiddwa nga Weasel abadde ayimba ne Moze, asazeewo okuva mu nju yaabwe e Makindye asooke aggweemu ensisi y’okufiirwa Moze.

Enju eno Moze ne Weasle baludde nga bagikayaanira n’eyali maneja waabwe Jeff Kiwa.

Bataddewo abaserikale oku­kuuma enju eno eri mu Kizungu e Makindye.

ABAANA BAAKUTWALIBWA KU MUSAAYI

Eggulo aba famire ya Moze, ban­namwandu n’emikwano baatudde okuttaanya engeri gye banaakwatamu ensonga z’omugenzi okuli enzirukanya y’ebyobugagga bye yalese, endabirira y’abaana n’entambuza y’omusango.

Olukiiko lwabaddemu ne Weasel lwatudde Kagga - Nakawuka we baaziise Moze ku Lwomukaaga.

Lwakubiriziddwa George William Ssaalongo (kojja wa Moze). Lwetabid­dwaamu ne Jane Kasubo (maama wa Moze), Frank Sekibogo, Chagga, nnam­wandu Lilian Mbabazi alina abaana babiri ne bannwamndu Abazungu babiri.

Olukiiko lwasazeewo nti bamanyi abaana ba Moze mukaaga bokka. Kyas­aliddwaawo nti abaana abalala bonna batwalibwe ku musaayi bakeberebwe.

Ku by’omusango bakkaanyizza okusi­gala nga bagugoberera n’okuyambako poliisi mu buli kye yeetaaga okuvunaana abaavaako Moze okufa.

Waabaddewo ebyasoose okutegeeze­bwa nti ettaka ly’e Nakawuka lyagulibwa Goodlyfe nga ekitegeeza nti bamemba abalala nga Weasle yabadde alirinako omugabo.

Kyokka Chagga, maneja wa Goodlyfe yakakasizza olukiiko nti ettaka, Moze ye yaligula yekka ng’omuntu. Oluvan­nyuma baalambudde ettaka lino.

 gesa wakati yalambuzza abaserikale ba poliisi ebbaala ye nabaako byannyonnyola Egesa (wakati) yalambuzza abaserikale ba poliisi ebbaala ye n’abaako by’annyonnyola.

 

BRYAN WHITE AWADDE FAMIRE EMMOTOKA

Aba famire beebazizza Bryan White olw’okubawa emmotoka ekika ky Super Custom ebayambe mu byentambula. Yagibaweeredde ddala. Yabawadde ne ddereeva anaagivuga.

Bryan White ataasobola kuziika ya­genze n’aganzika ekimuli ku malaalo era n’asaasira aba famire.

 siimwe ku kkono yagenze e akawuka bamuwe abazzukulu Asiimwe (ku kkono) yagenze e Nakawuka bamuwe abazzukulu.

 

AGAMBA OKUZAALA MOZE BAMUGAANYE AGENZE E NAKAWUKA

Aba famire baabadde bakyali mu lukiiko ne zireeta George Asiimwe ow’e Fort Portal agamba nti ye kitaawe wa Moze omutuufu. Yajjidde mu takisi mwe yaleetedde amatooke n’obuwunga.

Yategeezezza nti yabadde azze kwogera ne maama wa Moze ayitibwa Jane Kasuba amusonyiwe okumufunyisa olubuto, kyokka n’atafaayo kulabirira mwana ng’akula, ate n’ajja okubanja omulambo.

Kyokka maama wa Moze yagaanyi okumusisinkana, wadde nga yayingiziddwa mu nju ne be yagenze nabo. Akawungeezi k’eggulo Asiimwe yabadde akyaliwo e Nakawuka kyo­kka nga maama wa Moze tannamusisinkana.

 wannyina wa siimwe nga bamugabula e akawuka Mwannyina wa Asiimwe nga bamugabula e Nakawuka.

 

EYEEYITA MUKA MOZE

Maureen Namuli 25, eyakwatiddwa ku ma­laalo ga Moze ekiro ku Lwomukaaga yatwaliddwa e Butabika eggulo oku­mukebera okuzuula nga mulamu oba ng’omutwe guliko ekikyamu.

Namuli ow’e Kabowa, yasangiddwa ng’asitamye ku ntaana ekiro ng’alina eddagala lye yabadde atadde mu nsawo. Oluvannyuma yatwalid­dwa ku poliisi. mKyokka eggulo yabadde ayogera ebitakwatagana ekyalo­woozesezza nti yandibaako ekikyamu.

 amuli yeeyita muganzi wa oze Namuli yeeyita muganzi wa Moze.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...