TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Atutte omuwala embeerera mu loogi ne bamukaka akaboozi

Atutte omuwala embeerera mu loogi ne bamukaka akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th February 2018

ABATUUZE balemesezza abaserikale ba poliisi okuyimbula omukazi agambibwa okuyingiza abawala abato mu bwamaalaya e Bwaise.

Loogi2 703x422

Nantongo eyatutte omuwala omuto mu loogi.

Bya MUSASI WAFFE
 
ABATUUZE balemesezza abaserikale ba poliisi okuyimbula omukazi agambibwa okuyingiza abawala abato mu bwamaalaya e Bwaise.
 
Ku Mmande abatuuze n’abasuubuzi abakolera okumpi ne poliisi y’oku Kaleerwe baatabukidde abaserikale ba poliisi okuli eyategeerekeseeko erya IP Peter Nkayikwa Bwambale n’omulala ataategeerekese mannya abaagenze ku poliisi y’oku Kaleerwe okuggyayo Mariam Nantongo omutuuze mu Ddobi Zooni.
 
Nantongo yakwatiddwa oluvannyuma lw’omuwala ow’emyaka 17 (amannya gasirikiddwa) okumulumiriza nga bwe yamusuubiza okumufunira omulimu kyokka n’amutwala e Bwaise okukola obwamalaaya abasajja ne bamukozesa ku mpaka.
 
Omuwala yalagiridde abaserikale loogi gye babadde bamutwalangamu e Bwaise IP Peter Nkayikwa Bwambale gye yabalemesezza okukwata nnannyini loogi.
 
Oluvannyuma baakutte Nantongo era IP Peter Nkayire n’omuserikale omulala ne bagenda ku poliisi y’oku Kaleerwe okununula Nantongo. Baabadde batambulira mu mmotooka ekika kya Premio nnamba UAH 547T.
 
Abasuubuzi n’abatuuze olwategedde nti waliwo abaserikale abaagala okuyimbula Nantongo ne basitula olutalo era abaserikale abaabadde balwana okuyimbula Nantongo kwe kuddukir poliisi y’e Wandegeya.
 muwala eyakakiddwa akaboozi nayisibwa bubi nnyo Omuwala eyakakiddwa akaboozi n’ayisibwa bubi nnyo.

 

 
GWE BAAKUTTE AYOGEDDE
Omuwala yagambye nti, “Okujja e Kampala embeera yamala kukaluba oluvannyuma lwa bazadde bange okufa.
 
Nakubira mukwano gwange Shakirah Mufuta essimu nangamba nfune emmotoka mmusange ku kkanisa ya Ssenyonga e Bwaise era olwatuuka ne tulabagana.
 
Yangamba nti mu kiseera ekyo talina mulimu kyokka agenda kunfunira. Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, waliwo abakazi babiri baatugamba nti, balina omulimu gwe nnyinza okukola.
 
Nantongo yantwala ewuwe ku Kaleerwe eno gye twava n’antwala e Bwaise mu Kimombasa. Nantongo yahhamba nti omulimu oguliwo gwa kulongoosa loogi ne mbigaana.
 
Olw’okuba bwali buzibye ne mbasaba aw’okwebaka enkeera nsobole okudda ewa mukwano gwange.
 
Bampa akasenge naye otulo tuba tetunnantwala abasajja basatu ne bayingira ne baagala twegatte ne hhaana kubanga n’ebyokwegatta mbadde sibikolangako.
 
Bansonyiwa ne bafuluma ne wajja omulala ono n’ankwata n’atandika okunkozesa ne nvaamu omusaayi mungi.
 
Yaggyako akapiira ke yali ayambadde n’agenda mu maaso n’okunkozesa nga kw’atadde okunkwagula mu bulago.
 
Omusajja ono ng’agenze, wajja omulala naye ne bandagira nneegatte naye nti nja kumanyiira. Nasaba nsooke mu kinaabiro ne mpitira eyo ne nfuna eyantwala ku poliisi y’oku Kaleerwe.”
 
EYAMUYAMBYE ANNYONNYODDE
Martha Nakirijja omutuuze w’omu Ddobi zooni agamba nti, omuwala ono yamusanze akaaba ng’avaamu n’omusaayi n’akunga abatuuze ne bagenda ewa Nantongo okumutwala ku poliisi.
 
Oyo Nantongo tumumanyi atwala abawala abato ate nga banaku mu bwamalaaya era mulimu gwe.
 
Bwaise waliyo buloogi nga bannannyini bwo balina abawala ababeerawo ng’abasajja bwe bajja babagula okuva ku 5,000/-.”
 
Aduumira poliisi y’e Wandegeya Joseph Nsabimana yategeezezza Bukedde ku ssimu nti, yalagidde omukazi nnannyini loogi n’abaserikale abaagenze ku poliisi bakwatibwe.
Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF:19/02/2/2018.
 
NANTONGO AYOGEDDE
“Omuwala yabadde anoonya mulimu ne ngumufunira kati guba musango ki gwe mba nzizizza!, bwe yabuuzizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....