TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko kakunyizza Sudhir ku by’ettaka lya Kololo SSS

Akakiiko kakunyizza Sudhir ku by’ettaka lya Kololo SSS

By Musasi wa Bukedde

Added 9th February 2018

SUDHIR Ruparelia akyali mu kuttunka n’ebyokuggala Crane Bank, eggulo ebintu byayongedde okumwonoonekera bwe baakizudde nga liizi ey’emyaka 99 gye yafuna ku ttaka ly’ekisaawe kya Kololo SS teyagoberera mitendera.

Sudir 703x422

Sudhir ( ku ddyo) ne bannamateeka be Kabasi ne Nansubuga.

Abakulira essomero balumirizza baminisita, owebyemizannyo Charles Bakkabulindi ne Frank Tumwebaze owa ICT mu kiseera kino nga ye yali minisita wa Kampala obuvuyo we bwatandikira, okwekobaana ne Sudhir okutunda ettaka ly’ekisaawe.

Sudhir mu kakiiko yawerekeddwaako Bannamateeka Peter Kabasi ne Catherine Nansubuga.

Sudhir yagenda mu Uganda Land Commission (ULC) ne bamuwa liizi ya myaka etaano atandike okukulaakulanya ettaka lino eriri ku poloti 60 – 68 ku luguudo lwa Lugogo Bypass kyokka mu myezi emirala etaano yali amaze okufuna liizi ya myaka 99 ku kifo n’afuna obuyinza obujjuvu.

Yabadde mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire, akulira akakiiko n’ategeeza nti yasaba mangu liizi asobole okufuna obusobozi okwewola okukulaakulanya ekifo kubanga tewali kitongole oba bbanka ewola ssente yali esobola okumuwa ng’ali ku liizi ya myaka etaano gyokka.

Munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yamubuuzizza annyonnyole oba yagoberera emitendera n’ayanukula nti ebyo ULC yeeyinza okubinnyonnyola kuba ye yali ayagala liizi tasobola kwogerera kitongole ky’atakolera.

Ettaka lino lye limu, Palamenti ne Ssaabawolereza wa Gavumenti baalibuulirizaako ne bawa lipooti nga balaga nti lyatundibwa mu bukyamu.

Endagaano kwe baaweera Sudhir ettaka lino terambika bukwakkulizo bwe yalina kutuukiriza okusobola okumuwa liizi ey’emyaka 99 ng’etteeka ly’ettaka bwe lirambika.

Sudhir okuyitibwa mu kakiiko kyaddiridde abakulira olukiiko olufuzi olw’essomero lya Kololo SSS okwekubira enduulu nga bakulemberwa Rev. Can. John Awudi ne basaba ebyapa byonna ebyagabibwa ku ttaka ly’essomero bisazibwemu.

Ebyapa bye baasabye bisazibwemu kuliko: eky’ekisaawe ky’essomero lya Kampala Parents School erya Sudhir, wooteeri y’Abachian eya Nainjing ne Kesington Africa Limited.

Sudhir okuyita emabega okutwala ettaka ly’ekisaawe, yali agudde mu lukwe ng’abakulira essomero balina kkampuni gye bakwataganye nayo okukulaakulanya ekisaawe.

Munnamateeka yamubuuzizza nti okusinziira ku bujulizi bwe balina, akulira essomero lya Kampala Parents, Daphine Kato yawandiikira Kololo SSS ng’asaba bakozese ekisaawe ne babakkiriza abaana okuzannyirawo.

Yamubuuzizza lwaki bwe yatuuka ku nteekateeka z’okukulaakulanya ekisaawe ate ab’essomero teyabayita kukwatagaNA nabo.

Yayanukudde nti “nange neewuunya okulaba ng’abantu baliraanwa bange bwe tubadde tukolagana okumala ebbanga eddene baasalawo okukwatagana n’omulala okukulaakulanya ekifo so nga nange nnina obusobozi n’amaanyi okukizimba” Sudhir bwe yagambye.

Munnamateeka yamusabye annyonnyole ku ndagaano gye baakola eyalaga nti ekifo kigenda kusigala nga kiggule kikozesebwe abantu b’omu kitundu kyokka nga mu kiseera kino yakiggala n’ateekawo n’omukuumi nga tebakkiriza muntu yenna kuyingirayo n’abayizi ba Kololo SSS abaali bakikozesa tebasobola kuyingirayo.

“Oweekitiibwa Omulamuzi liizi gye bampa ey’emyaka etaano nalina okulaga enkulaakulana era mu kiseera kino tuli mu kuyiwawo ttaka okujjuza ekifo wasobole okuguma tutandike okuzimba kubanga ekifo kirimu amazzi mangi, kiri mu mbeera ya lutobazzi. Era amateeka agafuga okuzimba tegakkiriza bantu kusaalimbira mu kifo kizimbibwa bayinza okufuna obuzibu,” Sudhir bwe yayanukudde.

Rev. Awudi yawadde ebyafaayo ku ssomero lino n’ategeeza nti Kololo S SS ebadde ku kifo kino okuva mu 1954 ng’ekozesa ekisaawe kyokka kyabeewunyisa ULC nga yeekobaanye ne minisita w’ebyemizanyo Charles Bakkabulindi ne minisita Frank Tumwebaze eyali owa Kampala n’ensonga za Pulezidenti okuwa omwagaanya essomero lya Kampala Parents lyeddize ekisaawe ekyali kyabaweebwa edda.

Sudhir okugenda mu kakiiko, Ephraim Ntaganda ye yasooseyo ne bamukunya ku by’okujinga ebiwandiiko asobole okwekomya ettaka ly’ekisaawe kya Nakasero Primary School.

Ntaganda yeetonze olw’ebyo bye yakola ne yeeyama mu maaso g’Omulamuzi nti takyaddira kuyingirira ttaka lya Gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....