TOP

Loole bagiweesezza engassi ya bukadde 500

By Samuel Balagadde

Added 9th February 2018

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku nguudo ekya UNRA kiweesezza loole lukululana engassi ya bukadde 500 olw’okutikka obuzito obusukka ku bulagirwa mu mateeka.

Back1 703x422

Loole aba UNRA gwe baasasuzza engassi.

Amateeka amapya agaafulumiziddwa mu 2017, mmotoka ya loole bw’esukka mu buzito b’erina okutikka ng’eyongeddeko ttaani 31 n’ekitundu n’okudda waggulu esasuzibwa engassi esembayo okuba eyawaggulu nga ya ddoola 145, 889 ( obukadde 525).

Lukululana nnamba RAC 854B eya Rwanda yakwatiddwa nga ddeereva asalinkiriza okwebalama minzaani epima emmotoka ku luguudo lw’e Mubende.

Yabadde edda Kyegegwa wabula bwe yakwatiddwa ne bagipima kwe kusanga ng’ezitowa ttaani 101 mu kifo kya ttaani 56 ezikkirizibwa mu mateeka.

Allan Kyobe, omumyuka w’omwogezi w’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA yagambye nti mmotoka ezigwa mu kiti kino omuli n’eziva mu DR Congo n’eza kuno ezitikka ttaani ezisukkiridde ekivaako enguudo okwonooneka ate nga bazisaasaanyako ssente z’omuwi w’omusolo nnyingi baasazeewo okuzissaako engassi ennene kikendeeze ku babadde beenyigira mu muze guno.

Kyobe yagambye nti baatongoza enkola y’okugaba engassi eyaabuliwo mu kifo ky’okugenda mu kkooti.

Mu kikwekweto kye kimu ekigenda mu maaso UNRA ng’eyambibwako poliisi yakutte lukululana 10, eza kkampuni ya Pan Africa ezaabadde ziva mu South Sudan nga zitisse enduli z’emiti ez’ekika kya Teak mu kiro ekyakeseezza ku Mmande.

Kyobe yagambye nti loole zonna zaabadde ziyisa mu buzito obulagibwa mu mateeka oluvannyuma nga baazipimidde ku minzaani ye Luweero nga baalagiddwa okusasula engassi eyabuliwo.

Amateeka amaggya tegasasuza ngassi yokka wabula mulimu n’okusasulira ebintu byonna eby’oluguudo ebiba byonooneddwa okugeza ekitaala, okutanza n’okubowa mmotoka eziba zirudde ku ofiisi za UNRA nga zikwatiddwa mu misango egy’enjawulo, obutakanikira kidduka ku mabbali g’oluguudo n’ebintu ebirala.

Wabula abali mu mulimu gw’okuvuga n’okuddukanya loole zino bagamba nti wabaddewo bannaabwe bwe bali mu mulimu guno ng’emmotoka zaabwe teziyita mu minzaani nga n’abalala batikka obuzito obususse ne batakangavvulwa.

Moses Lubulwa ow’ekibiina kya Regional Lorry, Drivers and Transporters Association (RLDTA) yagambye nti wadde amateeka gatandise okussibwa mu nkola wasaana okubaawo okwongera okunnyikiza embeera eno mu bantu kuba ezingiramu okuweesa engassi etasoboka n’okuwamba ebidduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza