TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi ba S.4 abaapakudde mmotoka okunona ebigezo bafiiridde mu kabenje e Bombo

Abayizi ba S.4 abaapakudde mmotoka okunona ebigezo bafiiridde mu kabenje e Bombo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2018

ABAYIZI bana baasimbudde e Kawanda mu Wakiso ne beevuga mu mmotoka ya buyonjo okwolekera essomero lya Ndejje SS mu Luweero okuggyayo ebyava mu bigezo bya ssiniya ey'okuna basobole okweyongerayo n'emisomo wabula tebaatuuse abasatu bwe baafiiridde mu kabenje e Bajjo -Bombo mu Luweero.

Benje1 703x422

Mmotoka mwe baabadde beevugira eyakoze akabenje

Bya Samuel Kanyike, LUWEERO

Abaafudde ku Lwokutaano mu ttuntu kuliko; Vincent Male eyabadde abavuga mu mmotoka UAR 860W emale emulemerere n'eyambalagana ne loole UAY 946F eyabadde esimbye ku mabbali g'ekkubo.

Abalala abaafudde kuliko; Isaac Serwanja, Mark Ndugga ate Timothy Njogera eyafunye ebisago ebyamaanyi nga yasoose kuddusibwa mu ddwaliro ly'amagye e Bombo n'alyoka atwalibwa e Mulago.

Kigambibwa abayizi baavudde Kawanda mu Wakiso wakati mu kussaako omuziki ogwabadde gusindogoma mu mmotoka nga bwe bajaganya kw'ossa okulya n'okunywa bye bazze nabyo sso nga baabadde baliko bannaabwe be baabadde bakubira amasimu.

Abeerabiddeko baategeezezza Bukedde nti mmotoka y'abayizi yabadde ku misinde gya yiriyiri. Emirambo gyatwaliddwa ku ggwanika lya KCCA.


Okusinziira ku basomesa ba Ndejje SS, Male yabadde afunye obubonero 14, Serwanja 31 Ndugga 37 ate Njogera ng'afunye 29.

Poliisi yategeezezza nti akabenje kaavudde ku kuvugisa kimama.

Ekiyongobero kyabuutikidde ku ssomero e Ndejje oluvannyuma lw'amawulire g'okufa kw'abayizi bano okusasaanira ku mikutu gya yinyaneti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.