TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka bayingidde ku by'okutunda ennyumba ya Moze Radio

Bannamateeka bayingidde ku by'okutunda ennyumba ya Moze Radio

By Martin Ndijjo

Added 11th February 2018

BANNAMATEEKA ba kkampuni ya Katende and Sempeebwa bayingidde mu nsonga za z’omugenzi Moze bwe bayise aba famire ye babasisinkane ku byobugagga by’omugenzi boogere ne ku by’okutunda ennyumba y’e Makindye.

Neveland 703x422

Amaka g'aba Goodlyfe agakaayanirwa n'eyali maneja waabwe, Jeff Kiwanuka

Munnamateeka omukuukuutivu mu kibuga, John Katende y’abadde looya wa Moze nga y'amuwabula ku nsonga zonna ez’amateeka era mu kiti kino, Mw. Katende mwe yasinzidde okuyita aba famire abalage mu butongole ebyobugagga omugenzi bye yamulekera ne bye yamutegeeza ng'akyali mulamu.

Muganda wa Moze ayitibwa Meddie Sembajja yategeezezza nti, looya Katende yabayise bamusisinkane ku Mmande era nga mu bantu abateekeddwa okwetaba mu nsisinkano eno kwe kuli bannamwandu ba Moze abasatu, Jeniffer Robinson, Karen Anbro, ne Lilian Mbabazi, n’aba famire abalala.

Bino byonna we bijjidde ng'eyali maneja wa Good Lyfe Jeff Kiwanuka yagenda mu kkooti n’awaaba omusango ng’akaayanira enju y’e Makindye era ayagala etundibwe bagabane ssente kuba alumiriza nti naye yateekako ssente ze mu kugula ettaka n’okuzimba enju eyo.

Balaamu Barugahara ategekera abayimbi ebivvulu era nga yakoze kinene mu kuziika Moze gye buvuddeko yawadde famire y’omugenzi amagezi ekkirize batunde ennyumba y’e Makindye bagabane ssente abantu basatu okuli ab’oludda lw’omugenzi Moze, Weasel (Douglous Mayanja) n’eyali maneja waabwe Jeff Kiwanuka.

Kyokka bino aba famire ya Moze baabigaanyi nga bagamba nti Jeff talina mugabo gwonna ku nnyumba y'e Makindye kubanga ebiwandiiko bye balina biraga nti ennyumba eno ya bantu babiri, omugenzi Moze ne Weasel noolwekyo Kiwanuka bw'aba aliko ky'akaayanira agende mu kkooti esalewo.

Sembajja era yatangaazizza nti, n'ettaka ly’e Ntebe ne Kagga Moze gye yaziikiddwa Jeff talinaako mugabo.

Kino kiddiridde Jeff ng’omugenzi yaakafa, okukubira Balaam essimu n’amulabula nti Moze tebageza ne bamuziika mu ttaka ly'e Kagga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...