TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayisirayiri bateekateeka kukuba Gav't ya Uganda mu kkooti

Abayisirayiri bateekateeka kukuba Gav't ya Uganda mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2018

ABABAKA ba Palamenti ya Yisirayiri boolekedde okukuba gavumenti ya Uganda mu mbuga ku bigambibwa nti ekukuta n’ensi yaabwe (Yisirayiri) n'eggyayo abanoonyi b’obubudamu n’ebaleeta muno mu ngeri emenya amateeka.

Kikulwe1 703x422

Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda (ddyo), omumyuka wa Ssabawandiisi w’ekibiina, Harold Kaija

Ababaka  ba palamenti ya Yisirayiri okuli Mossi Roza ne Michael Rozin bali mu Uganda nga babuubiriza ku bigambibwa nti waliwo abanoonyi b’obubudamu abaggyibwa e Yisirayiri mu nkukutu ne baletebwa mu Uganda mu ngeri etategerekeka.

Omwogezi w’ekibiina kya FDC era omubaka wa munisipaali y’e Kira, Ssemujju Nganda yagambye bannamawulire nti yasisinkanye ababaka bano e Bugoloobi nga bazze okunoonyereza ku bino era baasuubizza nga bwe bagenda okufuna balooya ba wano bakube gavumenti ya Uganda mu mbuga n’oluvannyuma badde ewabwe n’eyayo bagiwabire.

Kigambibwa nti ekikolebwa kimenya mateeka agafuga eby’obuboonyi b’obubudamu.

Abanoonyi b’obubudamu aboogerwako kigambibwa nti badduka mu nsi ezitali zimu omuli n’eza Africa ne bagenda e Yisirayiri kyokka kigambibwa nti eggwanga lino libeggyako ne libawa amawanga amanaku  okuli ne Uganda ne Rwanda.

Nganda yagambye nti abaleetebwa baweebwa ddoola 3,000 (eza Uganda zisoba mu bukadde mwenda)  ne bakkiriza okuletebwa muno. Kyokka ababaka kye beewunya kwe kuba nga Yisirayiri eggwanga eddene mu by’enfuna okusinga Uganda likola kino ng’ate tekimanyiddwa na wa gavumenti ya Uganda w'efuniramu kwetuumako banoonyi ba bubudamu.

Yisirayiri erimu abanoonyi b’obubudamu emitwalo ena gyokka ate  ng’abali mu Uganda bali mu bukadde.       

Nganda yagambye nti abaggyibwa e Yisirayiri kigambibwa nti abamu baddamu ne bakukusibwa okuva mu Uganda ate ne baddayo mu Bulaaya ng’olumu waliwo okutya nti bayinza okusibira mu buddu.

Nganda yagambye nti naye ensonga ajja kuzitwala mu palamenti ebuulirize ku wa Uganda wefunira ku kwetuumako abanoonyi b’obubudamu.

N’alumba abakungu mu ofiisi ya Katikkiro okuli Katikkiro Ruhakana Rugunda,  Gen. Moses Ali ne muzeeyi Ali Kirunda Kivejinja nti bakaddiye basaanye okuwummula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...