TOP

Ow'emyaka 14 bamukwatidde mu loogi ne malaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 12th February 2018

Omukazi Aruch Tendo (35) nnekolera gyange ku mwalo gw'e Kasenyi akwatidwa poliisi yaayo lwa kusangibwa mu loogi n'akalenzi amannya gasirikiddwa) ak'emyaka 14.

Malaaya 703x422

Tendo n'omulenzi gwe baamutte naye mu loogi

BYA Phoebe Nabagereka

Omulenzi mu kwewozaako agambye nti yabadde ayitaayita ku mwalo n'asanga omukazi ono n'amusaba amuwe 2,000/- era Tendo n'akkiriza n'amuyingiza mu loogi n'amweyambulira okumulaga.

Omulenzi asyongeddeko nti yabade atandika okumukwatako awo poliisi weyajide nebakonkona nebavaayo wabulanga tanamukozesa.

Aruch akkiriza okukabawaza omulenzi n'agamba nti tebalina kye bakoze okuggyako okumulaga ku bukyala nga bwe yabadde ayagala kuba yamuwadde ssente ze 2,000/=!

Tendo asabye poliisi okumusonyiwa waakiri bamugobe ku mwalo aboneredde n'obwamalaaya agenda kubuvaamu kuba omulimu abadde yaakagumalamu wiiki bbiri zokka nga mukwano gwe ye yamuyingizaamu bwe yali asobedwa nga talina waakuda.

Bombi batwaliddwa mu ddwaaliro e Kasenyi okubakeberebwa ne kizuulibwa nga bonna balamu teri alina bulwadde bwa siriimu.

Bakyakuumibwa ku poliisi y'e Kasenyi.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kop1 220x290

Imam abasibiridde entanda

Imam abasibiridde entanda

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Kat1 220x290

Gavumenti egenda kusengula abantu...

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa