TOP

FDC erabudde ku ffujjo mu kulonda kw'e Jinja

By Muwanga Kakooza

Added 12th February 2018

FDC erabudde abategeka okukola effujjo mu kulonda kw’omubaka wa Jinja East okugenda okuddibwamu n’egamba nti abagivuganya naddala aba NRM tejja kubaganya kubasimulizaako ttoomi nabo bajja kwerwanako.

Mwiru 703x422

Paul Mwiru agenda okwesimbawo ku lwa FDC

Okuwandiisa abagenda okuvuganya ku kifo kino kutandika Lwakubiri (Febuary 13) era abawagizi ba FDC bagenda kuwerekera omumyuka w’omwogezi w’ekibiina Paul Mwiru okugenda okwewandiisa.

Omwogezi w’ekibiina Ssemujju Nganda yagambye nti bagenda kusimbula Masese okuwerekera omuntu wabwe okwewandiisa n’oluvannyuma bakube olukung’ana.

Ebyava mu kulonda mu kitundu kino byasazibwamu kkooti oluvannyuma lwa Mwiru okuwabira owa NRM eyawangula Igeme Nabeta n’aggyibwa mu palamenti era ne walangirirwa okulonda okuggya.

Mu ngeri y’emu aba FDC bategeka okweyambisa olunaku lwa Valentino okulunaabaawo ku Lwokusatu luno Febuary 14 okugabirako omusaayi ng’emikolo gigenda kubeera ku kitebe kyabwe e Najjanakumbi, okusinziira ku ssentebe w’abavubuka Walid Mulindwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe