TOP

Lukwago atutte Beti Kamya mu kkooti battunke

By Hannington Nkalubo

Added 12th February 2018

LOODI meeya Erias Lukwago aggudde emisango ku minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya ng’amuvunaana kumenya mateeka ne yeeyingiza mu mirimu egitali gigye n’atuuka n’okuyimiriza entuula z’olukiiko lwa KCCA mu bukyamu.

Wata 703x422

Lukwago (wakati) ng’atwala empapula mu kkoot

Eggulo Lukwago yagenze mu kkooti Enkulu etuula ku Twed n’aggulawo emisango ku Beti Kamya.

Yamuwawaabidde ne Ssaabawolereza wa Gavumenti. Lukwago yabadde ne balooya be babiri okuli Nathan Mpenja ne Abubaker Ssekanjakko okuva mu kkampuni ye eya Lukwago and Co. Advocates.

EMISANGO

Mu kiwandiiko Lukwaago ky’awaddeyo mu kkooti, alaze nti minisita Beti Kamya yamenya amateeka ne yeeyingiza mu mirimu egitali gigye. Yagambye nti Beti Kamya yawandiika ebbaluwa nga January 23 2018 eyimiriza enkiiko za KCCA n’agaana n’abakozi ba KCCA ku ludda lw’ekikugu okuzeetabamu nti zimenya mateeka era yasabye kkooti emusseeko ekiragiro.

Ebbaluwa ya Beti Kamya yali egamba nti enkiiko ezisuzibwa ne ziddibwaamu ku lunaku oluddako teziri mu mateeka kubanga teziwezezza nnaku 14 ng’etteeka erifuga Kampala bwe liragira. Kino Lukwago akiwakanya era ebbaluwa za minisita z’azze awandiika azitaddeyo okumulumiriza nti amulemesa emirimu.

Ekiwandiiko kiraga nti Beti Kamya by’akola yeefudde Loodi meeya oba omukulembeze omulonde akulira Kampala ate nga talondebwangako.

Amulumiriza nti atuuza enkiiko za bakansala mu munisipaali n’awa n’ebiragiro ate ng’omulimu gwa minisita gulambikiddwa bulungi mu tteeka lya Kampala nti ateekwa kulondoola ebikolebwa abakulembeze abalonde mu Kampala naye ye takkirizibwa kukola era yasabye kkooti emusseeko ekiragiro.

Avunaana minisita okulemererwa okukola emirimu gye ate nadda ku gy’abakulembeze abalonde egitamukwatako.

Mu kiwandiiko yataddemu nti minisita agaanye okulonda olukiiko olunene olutegekera Kampala n’ebitundu ebigyetoolodde oluyitibwa Metropolitan Physical Planning Authority era asaba kkooti emusseeko ekiragiro kimuwalirize okululonda.

Alumiriza minisita obutamanya waakoma n’atuuka n’okuwandiika ebbaluwa eyimiriza Loodi meeya okutambula okugenda e Malaysia okukola emirimu gy’abalonzi ng’omukulembeze omulonde akulira Kampala.

Lukwago ayagala kkooti eragire minisita okukomya okweyingiza mu mirimu egitamukwatako era asaba kkooti emusseeko ekiragiro.

Emisango gyonna Lukwaago asabiddeko engassi singa minisita ne Ssaabawolereza wa Gavumenti gibakka mu vvi.

Lukwago mu kirayiro kye yataddemu nti ye mukulembeze omulonde afuga Kampala eyalondebwa nga February 23/ 2016 era nti mu bizibu ebingi byeyayitamu ng’anoonya akalulu.

Yawangula bonna abaali bamuvuganya ku bitundu 80 ku buli 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...