TOP

Ofiisi Nixson Agasirwe bamugaanye okweyimirirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

OFIISA wa poliisi, SSP Nixson Karuhanga Agasirwe kkooti y’amagye e Makindye emugaanye okweyimirirwa n’azzibwa mu kkomera alinde okutuusa omusango gwe lwe guliwulirwa.

Sspagasirwengatuukakukootiemakindye2 703x422

Agasirwe ng'atuuka ku kkooti y'amagye e Makindye. Baamugaanye okweyimirirwa. EKIF: MARGARET ZALWANGO

BYA MARGARET ZALWANGO

Agasirwe ng’ayita mu munnamateeka we, Frank Kanduho yasaba kkooti emuyimbule ku kakalu kaayo awoze ng’ava wabweru, kuba omusango ogumuvunaanibwa gweyimirirwa.

Yalaga nti alina amaka g’avunaanyizibwako agenkalakkalira, era nga mwetegefu okugondera ebiragiro bya kkooti ssinga aba ayimbuddwa.

Yayongerako nti, musajja muzadde alina abaana ab’okulabirira abataliiko nnyabwe kuba yafa era bwatateebwa tebajja kufuna abafaako bulungi. Yaleeta abantu bataano abamweyimirira.

Ensonga ze yawadde tezaamatizza mulamuzi era n’akkiriziganya n’oludda oluwaabi olwategeeza kkooti nti ssinga Agasirwe ayimbulwa yali waakutataaganya okunoonyereza n’obujulizi obwandireeteddwa obulina okwesigamwako nga bawulira omusango.

Baawakanya n’abajulizi be yaleeta be baagamba nti tebaalina bisaanyizo.

Ssentebe wa kkooti, Lt. Gen. Andrew Gutti mu kusoma ensala ye yategeezezza nti akkiriziganya n’ensonga zonna ezaaweebwa oludda oluwaabi.

Yagambye nti, engeri Agasirwe gy’ali ofiisa w’eddaala erya waggulu mu poliisi alina obusobozi okuyingirira ofiisi ez’amaanyi n’agootaanya obujulizi obwandibadde bumulumiriza.

Gutti yayongeddeko nti, Agasirwe abantu be yaleeta okumweyimirira tebasaanidde kuba kuliko ba ofiisa ba poliisi abatalina lukusa kuva ew’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, nga bwe kirambikiddwa mu tteeka nnamba 28 erifuga abaserikale ba poliisi.

Abajulizi abalala okwali abantu baabulijjo, Gutti yagambye nti baali tebasobola kweyimirira ofiisa wa poliisi ali ku ddaala erya waggulu.

Baalemwa n’okuleeta wadde ebbaluwa ezibanjula okuva ku L.C. Agasirwe yazziddwa e Luzira gy’anaava okujja mu kkooti nga bawulira omusango gwe.

Omusango guddamu leero ku Lwokubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zanie 220x290

Erinnya Zanie Brown lya bbeeyi...

EYALANZE Zanie Namugenyi (Zanie Brown) okubeera mu kivvulu nga tamutegeezezza amusabye obukadde 50 lwa kumwonoonera...

Wuuno1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Mulimu oluyimba Weasel lw’akubye nga lusiibula Moze Radio kyokka ebigambo ne bikaabya maama w’omugenzi n’abawagizi....

Nrm1 220x290

Tanga Odoi bimwonoonekedde! Aba...

SSENTEBE w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi agudde ku kyokya olw’okujerega Ssaabawandiisi w’ekibiina...

Madiinahislamicsskaterekensangi 220x290

Abaakoze obulungi mu bya S.6 bakyajaganya...

Abayizi ba Mirembe Islamic SS Gangu nga bajaganya olw'obuwanguzi bwebatuuseeko mu bibuuzo bya Ssiniya ey'omukaaga....

Conduct 220x290

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti...

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto,...