TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Zuma asulirira lukya: Bamugoba ku bwapulezidenti

Zuma asulirira lukya: Bamugoba ku bwapulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

PULEZIDENTI wa South Afrika Jacob Gedleyihlekisa Zuma 75, we bwazibidde ku Mmande nga yeekwata ku bisubi ng’abeekibiina kya ANC ekiri mu buyinza bafunvubidde bamuwalabanya okuva ku bwapulezidenti, entebe bagikwase omumyuka wa Pulezidenti Nnagagga Matamela Cyril Ramaphosa, 65.

78464335jacobzuma 703x422

Jacob Zuma

PRETORIA

Ekigobya Pulezidenti Zuma nga tannamalako kisanja kye, y’enziro gy’asaabye ofiisi ey’obwapulezidenti olw’enguzi emuwoomera okufa, obuteewa kitiibwa n’okudibaga ebyenfuna bya South Afrika mu myaka mwenda gy’agifugidde okuva September 20, 2008 lwe yaddira Pulezidenti Thabo Mvuyelwa Mbeki mu bigere.

Okufaananako ng’ekibiina kya ANC lwe kyagobaganya Thabo Mbeki mu 2008 ng’ekisanja tekinnaggwaako ne Zuma bwe baamutwalaganya ng’ekisanja tekinnaggwaako mu April wa 2019.

Akakiiko akafuzi ak’ekibiina kya ANC nga kakulirwa Ramaphosa, mu kiti nga Ssenkaggale wa ANC kaatudde eggulo ku Mmande okusalawo eggoye ku nsonga ya Zuma okuva ku bwapulezidenti kyeyagalire oba si ekyo bagende mu Palamenti bamuggyemu obwesige.

We bwazibidde ng’ekakiiko kakyali mu kafubo nga kigambibwa nti Zuma yabadde akyagaanye ku bye baamugambye okulekulira kyokka ng’aba ANC bonna abatuula ku kakiiko okuli ne Ramaphosa bafunvubidde nti Zuma agende.

Zuma alina emisango 783 egy’obuli bwenguzi, obufere n’okukozesa obubi ofiisi egimulinze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu