TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omutaka Ndugwa akambuwadde ku bayigga omuziro Effumbe

Omutaka Ndugwa akambuwadde ku bayigga omuziro Effumbe

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

OMUKULU w’ekika ky’Olugave omutaka Ndugwa Fred Katende alagidde abantu bonna naddala ab’eddira Olugave okubeera obulindaala buli lwe balaba ayigga omuziro gwabwe bamukwate lutali luno atwalibwe mu mbuga z’amateeka avunaanibwe.

Lugavew 703x422

Omutaka Ndugwa Fred Katende ng'ayogerako eri abazzukulu.

Bya Lawrence Kizito 

Ndugwa okwogera bino yasinzidde ku mukolo ogw’okukuza olunaku lw’Olugave mu nsi yonna ogwabadde ku Pope Paul Memorial Hotel mu ndeeba ku lw’omukaaga nga 10th/2/2018.

Ndugwa yategeezezza nti olugave kye kimu ku bisolo ebisinga okuyigganyizibwa mu nsi yonna era nga ebika by’olugave ebimu bigenda bigwawo olw’okubiyigga ennyo.

“Twekembe tulwanyise abayigga olugave tusobole okukuuma omuziro gwaffe, n’abazzukulu abalijja mu maaso basobole okugulabako”. Katende bwe yagambye.

Yayongeddeko nti bbo nga ab’eddira olugave bagenda kukwatagana n’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo ekya Uganda Wild Life Authority bongere okusomesa abantu ebikwata ku Lugave n’okukiyambako mu kukuuma Olugave nga teruyigganyizibwa mu ggwanga.

Katende era yayanjudde enteekateeka ey’okuzimba ekizimbe kya myaliiro esatu, okunabeera wofiisi z’ekika, etterekero ly’ebyedda (museum) n’essomero ly’ebyemikono ng’emu ku nteekateeka ey’okukulakulanya ekika.

Yagambye nti kimukwasa ensonyi okulaba nga ebika ebirala bikola pulojekiti ezivaamu ensimbi naye eky’Olugave nekisigaliranga emabega n’agamba nti nga ye Ndugwa aliko tagenda kukkiriza bugayaavu buno kugenda mu maaso.

Ye katikkiro w’ekika kino Godfrey Katende yenyamidde olwabantu abaakwasibwa okukuuma ettaka ly’ekika ate okuliddako ne balitunda n’agamba nti kino singa tebaakikomye ekika kyabwe kituuse okusaanawo.

Omukolo guno gwetabiddwaako eyaliko katikkiro wa Buganda Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...

20128largeimg210aug2012144442107703422 220x290

Ab'e Kibuli boogedde ku bya Kenzo...

Sheikh Abdul Salaam Mutyaba Imaam w’omuzikiti gw’e Kibuli yagambye bakyetegereza ebya Kenzo era bagenda kutuuza...

Kulanna 220x290

Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo...

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana...

Muza 220x290

Kenzo ategese kulumba Muzaata e...

EDDY Kenzo ategese kulumba Sheikh Nuuhu Muzaata ku muzikiti e Kibuli bw’aba agaanye okwetonda ku by’okumuvvoola...