TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira ayungudde balooya 20 okumutaasa ku Poliisi

Kirumira ayungudde balooya 20 okumutaasa ku Poliisi

By Kizito Musoke

Added 13th February 2018

HAJJI Abubaker Kawooya, taata w’eyali aduumira poliisi ye Buyende Muhammad Kirumira ne bannamateeka bakonkomalidde ku kkooti bwe balinze Omulamuzi abadde alina okuwulira omusango gwabwe n’atalabikako.

Muhammadkirumira703422 703x422

Kirumira

Taata wa Kirumira ne bannamateeka ba Kirumira abaakulembeddwaamu Jude Mbabaali ne Fredrick Ssemwanga essaawa 8:00 zaabasanze baatuuse dda ku kkooti ya Buganda Road nga bwe baali balagiddwa.

Bwe baalabye obudde bugenderera baagezezzaako okunoonya Omulamuzi nga talabikako ne babuuza omuwandiisi we n’abategeeza nga bwe yabadde tamutegeezza gy’ali.

Baatudde ku kkooti okutuusa lwe zaaweze essaawa 11.00 ezakawungeezi ne bavaawo wakati mu kwemulugunya olw’engeri gye bayisiddwamu.

Mbabaali yagambye nti basobeddwa kuba tebamanyi lunaku musango gwe baawaaba ogw’okusibira Kirumira obwereere lwe gugenda okuwulirwa.

Hajji Kawooya yalaze obutali bwenkanya olw’engeri gye bayisiddwamu n’ategeeza nti tamanyidde ddala mutabani we gy’ali, ate kati n’Omulamuzi gwe babadde balinamu essuubi talabiseeko ate nga talina nsonga gy’abawadde.

Ku Lwokutaano Omulamuzi Robert Mukanga yalagira ofiisa wa poliisi, Catherine Kusemererwa okulabikako mu kkooti agasimbagane ne bannamateeka ba Kirumira abaali basabye bamusoye ebibuuzo butereevu nga bwa byanukula.

Kyaddirira omuwaabi wa Gavumenti, Shamim Nalule okutegeeza nga Kusemererwa bwe yali asazeewo okumwegattako asobole okuwa obujulizi obulumiriza Kirumira ku misango gye bamuvunaana.

Omusango gwayongezebwayo okutuuka eggulo ku Mmande kuba bannamateeka ba Kirumira beemulugunya nti oludda lwa Gavumenti wadde baaluwandiikira ebbaluwa nga bukyali, kyokka baasalawo kubaanukula Lwakutaano mu kkooti ng’etudde.

Yagambye nti wadde poliisi eriko emisango gyevunaana Kirumira, kyokka gyonna bakkiriza nti mipangirire era mu kkomera aliyo mu bukyamu.

Hajji Kawooya yagambye nti awulira ng’omutwe gumuzunga buli lwawulira mutabani we ng’ali Nalufeenya nga ssentebe wa kkooti ya poliisi yalagira bamusibire e Nsambya ku Railway. Mukyala wa Kirumira, Mariam Kirumira yagambye nti yasalawo obutatambula oluvannyuma lw’okulumbibwa abantu baatamanyi ne bagezaako okumuwamba.

KIRUMIRA AYUNGUDDE EKIBINJA KYA BANNAMATEEKA OKULI N’OWAMAGYE

Kirumira ayungudde bannamateeka okuva mu kkampuni ssatu okumuwolereza. Bannamateeka bava mu kampuni ssatu okuli; Semwanga, Muwazi and Company Advocates, Jude Mbabaali and Company Advocates ne Ajok and Company Advocates.

Munnamagye eyagannyuka Maj. Ronald Iduli ava mu kkampuni ya Ajok y’omu ku bawolereza era yagambye abamuwolereza bonna awamu bawera 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...