TOP

Amabugo ga Moze amalala gazuuse gye gali

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

Abayimbi bangi kigambibwa nti tebaawaayo ssente zitegeerekeka.

Mabugo1 703x422

Mesarch Semakula (wakati), Hilderman (ku kkono) ne Julius Kyazze nga bakutte ebitabo by’amabugo.

Bya BASASI BA BUKEDDE

FAMIRE ya Moze etegeezezza nti waliwo ssente z’amabugo endala ze batafunanga ezaasoloozebwa Mesach Ssemakula, Dr. Hilderman, Silver Kyagulanyi n’abayimbi abalala abeegattira mu kibiina kya Uganda Musicians Association. “Balaam yaweebwa ssente nnyingi.

Kyokka waliwo n’amabugo amalala ge tutafunanga,” aba famire bwe baategeezezza Bukedde eggulo.

Kino kyongedde okuwanvuya eby’amabugo ga Moze naddala bwe kitegeerekese nti mikwano gye okuli abayimbi abaasimba ennyiriri okuwaayo ssente z’okuyamba bamulekwa e Kololo baawaayo binusu bya 500/-!

Kamera ya Bukedde yakutte abayimbi Winnie Nwagi ng’asuula mu kabokisi 2,000/-, Michael Kinene bba wa Doreen Mutiibwa aba Golden Band yawaddeyo 2,000/-, Maama Sam ne Taata Sam bakazannyirizi ba ‘Katusekemu’ baasuddemu 1,000/- buli omu.

 wagi ngateeka nnusu 2000 mu kabookisi laba ku kkono Nwagi ng’ateeka nnusu 2,000/- mu kabookisi (laba ku kkono).

 

Moze bwe yamaze okuziikibwa nga February 3, famire ye yakitadde ku Balaam nti yabuzaabuzizza amabugo okuli ne ssente obukadde 10 ezaaweebwayo Bryan White.

Kyokka Balaam yatangaazizza nti tewali ssente zaabuze n’awa n’ensaasaanya.

Kati bagamba nti ng’oggyeeko Balaam, abayimbi abalala okuli Mesach, Dr. Hilderman ne Kyagulanyi baalabibwa nga basolooza amabugo nga bagawandiika mu bitabo.

Bukedde yayogedde ne Hilderman n’akkiriza bwe baasolooza amabugo ng’ali ne Mesach n’abalala.

Kyokka n’agamba nti ssente baaziwa nnamwandu Lillian Mbabazi kubanga muyimbi ate bali naye mu kibiina kya Uganda Musicians Association.

Wabula Lillian tetwasobodde kumufuna kutangaaza ku nsonga eyo. Hilderman bwe yabuuziddwa ssente ze baawaddeyo, yajulizza Julius Kyazze akulira ekibiina ky’abayimbi ekya Swangz omuyimbira Nwagi n’abalala.

 ulius yazze Julius Kyazze

 

KYAZZE AYOGEDDE

Kyokka Kyazze bwe yatuukiriddwa ku ssimu eggulo, yeebuuzizza lwaki buli omu ayagala kwogera ku bya mabugo mu kifo ky’okwogera ku birala okuli okuyamba bamulekwa.

Yagaanyi okwogera ssente ze baawa Lilian era tayagala kudda mu ndooliito za mabugo.

Ssente endala ab’ekika ze balowooza okubbibwa zaaweebwayo mu kabookisi e Kololo, nga bagamba nti okusinziira ku bantu abangi abaasonda nga n’abasinga baali basereebu, tekisoboka kubeera nga mwavaamu 5,000,000/- zokka.

Kyokka abayimbi bangi kigambibwa nti tebaawaayo ssente zitegeerekeka.

 aama am yasuddemu ka 1000mu katono Maama Sam yasuddemu ka 1,000/-(mu katono)

 

David Lutalo agambibwa nti yawaayo busente butono yagambye: Nze nzikiririza mu Bayibuli egamba nti omukono ogwa ddyo bwe guwa ogwa kkono guleme okumanya ogwa ddyo kye guwaddeyo.

 Eddy Kenzo: Nawaayo ebimu ku byuma ebyayamba mu lumbe naddala ebivuga.

Bebe Cool: Toyinza kummanja mabugo nga nze ne Balaam ffe twakuba amasimu ewa Pulezidenti Museveni eyawaayo ssente ezaakola ku bujjanjabi.

Dr. Jose Chameleone eyali asuubirwa okuyamba, kyategeezeddwa nti tewali we yawandiikibwa mu kitabo ky’amabugo. Kyokka twategeezeddwa nti ali Congo ne tutasobola kumufuna ku nsonga eno.

Abamu ku bayimbi baategeezezza nti baali tebayinza kuwa mabugo nga baasula mu mpewo e Kololo nga bayimba ate ku bwereere noolwekyo ago ge mabugo ge baawa.

 inene ngateeka aka 2000 mu kabookisi laba ku ddyo Kinene ng’ateeka aka 2,000/- mu kabookisi (laba ku ddyo).

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...