TOP

Dokita ayogedde engeri Katushabe gye yattibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

OMUJULIZI eyazze okulumiriza Muhammad Ssebuufu mu musango gw’obutemu ategeezezza kkooti nti omugenzi Betty Donah Katushabe yafa oluvannyuma lw’okumukubisa ekintu ekyamaanyi ekyamuviirako obuvune mu bitundu by’omubiri ebyenjawulo.

Katushabe1 703x422

Omugenzi Katushabe

Bya ALICE NAMUTEBI

OMUJULIZI eyazze okulumiriza Muhammad Ssebuufu mu musango gw’obutemu ategeezezza kkooti nti omugenzi Betty Donah Katushabe yafa oluvannyuma lw’okumukubisa ekintu ekyamaanyi ekyamuviirako obuvune mu bitundu by’omubiri ebyenjawulo.

Dr. William Male Mutumba omukugu mu kukebera emirambo ng’akolera mu ddwaaliro ekkulu e Masaka ng’oluusi asomesa mu Makerere University College of Health Sciences yagambye nti omulambo gwa Katushabe yagukeberera mu ggwanika e Mulago nga October 22, 2015 ku biragiro bya ASP Peter Egesa.

Dr. Mutumba yagambye nti omubiri gw’omugenzi gwali gunnyogoga nga gukakanyadde ekitegeeza nti yali afudde essaawa nga 12 emabega.

Nga gulaga nti abadde mukyala eyeeriisa obulungi nga guliko enkovu okumpi n’ekkundi eziraga nti yali alongooseddwaako.

Yategeezezza omulamuzi Anglin Ssenoga owa Kkooti Enkulu nti bwe yasala omulambo gw’omugenzi okugukebera yakizuula nti ekiyinza okuba nga kye kyamuviirako okufa gwe musaayi n’amazzi bye yasanga mu mawuggwe agandibaddemu empewo ey’okussa.

Ebisenge by’omutima nabyo byali bijjudde omusaayi wabula ng’omutima gwo tegulina bukosefu bwonna nga n’emisuwa gyakawanga akakuuma obwongo girimu omusaayi naye ng’obwongo bwo tebwalina bukosefu bwonna.

Dr. Mutumba yayongedde okusoma lipooti gye yakola ng’ennyonnyola nti omugenzi, yalina ebizimba ku nnabaana n’amasavu mu mubiri n’agamba nti bino nabyo biyinza okuvaako omuntu okufa.

Yagambye nti ku mubiri kungulu yalina ebinnubule ku mugongo, mu ffeesi, emikono n’amagulu.

Looya wa Ssebuufu, Caleb Alaka bwe yamubuuzizza lwaki mu basawo bonna ye yaweebwa omulimu guno ate ng’akolera Masaka, Dr. Mutumba yagambye nti engeri gy’asomesa yali akebera omulambo nga bw’asomesa n’abayizi naye ng’abayizi tebateeka mukono ku lipooti ye okukakasa nti baaliwo.

Alaka yaggyeyo obujulizi bwa lipooti endala ze yakola, kkooti ze yasazaamu omuli ey’omusibe eyali amanyiddwa nga Wamala eyeetugira mu kaduukulu kyokka n’awandiika birala n’ey’omuwala Agnes Akello eyalina ensimbu gye yakola nga agamba nti omuwala yattibwa oluvannyuma lw’okukubwa abaali bamusobyako.

 sebuufu Ssebuufu

 

Dr. Mutumba yagambye nti ezimu ku lipooti zino tazijjukira okuggyako nga basoose kuzireeta ne yejjukanya.

Omujulizi omulala yabadde Ronald Mugabi, eyali akulira poliisi ya CPS mu kiseera ekyo eyategeezezza Omulamuzi Ssenoga nti bwe yagenda ku Pine talina n’omu ku bawawaabirwa gwe yalaba.

Mugabi yagambye nti bwe yatuuka ku Pine yasangawo abantu bangi nga abamu bagamba nti omugenzi abadde abba emmotoka n’azitunda e Congo naye teyafaayo ku bigambo by’abantu n’aggyawo Katushabe.

Alaka yamubuuzizza obanga mu bavunaanibwa alina gwe yalabako ku Pine Mugabi n’agamba nti ku Pine yamalawo eddakiika mbale era talina n’omu gwajjukira kulabawo okuggyako abantu abaali abangi.

Mu musango guno Ssebuufu avunaanibwa ne bakanyama be 6 okutta omugenzi Katushabe nga kino baakikola nga bamukuba bwe baali bamubonereza okugaana okumalayo ebbanja lya bukadde 9 lye yasigaza ku mmotoka gye baamuguza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Madiinahislamicsskaterekensangi 220x290

Abaakoze obulungi mu bya S.6 bakyajaganya...

Abayizi ba Mirembe Islamic SS Gangu nga bajaganya olw'obuwanguzi bwebatuuseeko mu bibuuzo bya Ssiniya ey'omukaaga....

Conduct 220x290

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti...

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto,...

Buzo1 220x290

Omuwendo gw'abawala abatudde S.6...

Janet Museveni minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo yennyamidde olw’omuwendo gw’abayizi abawala abaatudde S6 ogukendedde....

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...