TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayise bannaddiini bateese ku butakkaanya bwe balina naye

Museveni ayise bannaddiini bateese ku butakkaanya bwe balina naye

By Kizito Musoke

Added 13th February 2018

PULEZIDENTI Museveni ayise bannaddiini abasisinkane basobole okwogera ku butakkaanya bwe balina naye busobole okubugonjoola.

Dvsl755wsaal4cm 703x422

Bino byayatuddwa Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali bwe yabadde ayogera eri bannamawulire ku Media Centre ku nteekateeka z’okukuza olunaku lwa Ssaabalabirizi Janan Luwum olw’okubeerawo ku Lwokutaano nga February 16, 2018.

Yabuuziddwa ky’ayogera ku kaleegabikya akaliwo mu kiseera kino wakati wa bannaddiini ne pulezidenti nga bwe kyalabikira mu kutongoza okuzimba ekkanisa ku ssomero lya Kyebambe Girls ku Lwomukaaga.

Ssaabalabirizi yagambye nti Pulezidenti yabayise nga bannaddiini bamusisinkane basobole okwogera ku butakkaanya bwe balina nga bwe kyeyoleka ku Lwomukaaga. Kyokka teyayogedde lunaku lwennyini lwe baabayitiddeko.

Yagambye nti mu mbeera yonna nga bannaddiini, bajja kusigala nga baluhhamya eggwanga ku bintu ebiba bigenda mu maaso nga Katonda bw’anaaba abaluhhamizza.

Yategeezezza nti obuvumu obwayolesebwa Ssaabalabirizi Luwum bw’abawa amaanyi ng’abaamuddira mu bigere kuba wadde yafiirwa obulamu naye bakyamujjukira ng’omuzira.

Fr. Simon Peter Lokodo, minisita avunaanyizibwa ku mpisa n’obuntubulamu yategeezezza nti enkolagana eriwo wakati wa bannaddiini ne Gavumenti yeeyagaza era y’ensonga lwaki Pulezidenti azze asisinkana bannaddiini bulijjo ne boogera ku nsonga yonna omuli n’okumuwabula.

Yategeezezza nti obutakkaanya obuliwo abantu be babulinako endowooza, kyokka ye talabawo butakkaanya buliwo bwetaagisa bantu kweraliikirira.

Pulezidenti okuyita bannaddiini kiddiridde omulabirizi Reuben Kisembo ow’obulabirizi bw’e Rwenzori okutegeeza Pulezidenti nga bw’asaanye okuwummula mu mirembe. Byabaddewo ku Lwamukaaga e Kyebambe Girls e Fortportal.

Kisembo yategeezezza nti; “ku lw’obulungi bw’eggwanga n’obubwo ng’omuntu osaanidde owummule.” Pulezidenti Museveni mu kwanukula yategeezezza nti bannaddiini basussizza okumusoomooza naddala ye ng’omuntu.

Yasabye bannaddiini nti bwe babeera balina ensonga basaanye okumusisinkana bagyogereko ng’abantu abakulu kuba tekisaanidde kuwaanyisiganya bigambo mu lujjudde.

Emikolo gy’okujjukira emyaka 41 bukya Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa nga February 16, 1977 gigenda kukuzibwa ku kyalo Mucwini ekisangibwa mu disitulikiti ye Kitgum ku Lwokutaano lwa wiiki eno.

Lokodo yasabye amasomero gonna obutasomesa ku Lwokutaano kuba lunaku lukulu.

Yagambye nti omwaka oguwedde waliwo amasomero agaasomesa, kyokka olw’okuba ye yali entandikwa tebaakifaako nnyo. Ku mulundi guno tasuubira ssomero oba ofiisi ya Gavumenti yonna kukola.

Yakubirizza abantu okujjumbira okugenda ku mikolo kuba lunaku lwa ggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...