TOP

Kitatta kkooti y'amagye emusindise Luzira

By Joseph Makumbi

Added 13th February 2018

OWEEKITIIBWA omulamuzi, emisango eginsomeddwa gyonna ngiwulidde era ngitegedde bulungi naye sikkiriziganya na kyakuwozesebwa mu kkooti eno kubanga nze siri munnamagye, ndi muntu waabulijjo.

Jmc6581 703x422

Kitatta ne banne nga bali mu kaguli

Bwatyo, Kitatta bwe yazzeemu ssentebe wa kkooti y’amagye e Makindye Lt. Gen. Andrew Gutti ng’amubuuza oba emisango gye yabadde amusomedde yabadde agitegedde.

Ono, yasoose kubuuza Kitatta ne basajja be bwe bavunaanibwa olulimi lwe basinga okutegeera nabo ne bamugamba nti bamanyi Luganda era n’asaba omu ku bajaasi eyakakata olulimi luno okubavvuunulira.

Yabasomedde emisango mukaaga, etaano, Kitatta yagizza ne basajja be babiri, Ngobi Sowali omuserikale wa poliisi eyali amukuuma ne Ibrahim Ssekajja abataabaddewo mu kkooti.

Emisango gye baasomedde abasatu bano kuliko egy’okusangibwa n’emmundu nga tebalina mpapula zizoogerako esatu, ebiri gya kusangibwa n’amasasi okuli ag’emmundu ekika kya SMG 30 n’aga pisito 20 nga January 21 ku Vine Hotel e Wakaliga.

Omusango ogw’omukaaga gwabadde gwa kusangibwa na byambalo by’amagye.

Guno, baagubavunaanidde wamu bonna kyokka nabo ne bategeeza nti, bagutegedde wabula kkooti egubasomedde terina buyinza kubawozesa. Bakira buli lwe bagamba nti, ‘emisango tugitegedde naye tuwakanya kkooti eno okutuwozesa kubanga ffe tuli bantu ba bulijjo’, nga Gutti amwenyamu ng’amala abategeeza nti, ‘that’s good’ ekitegeeza nti ekyo kirungi.

Kitatta ye yasoose okuleetebwa ku kkooti eno era nga yatuuse ku ssaawa nga 4:00 ez’oku makya.

Yaleeteddwa mu kabangali y’amagye okuva e Makindye gy’abadde akuumirwa ate banne, baatuusiddwa ku ssaawa nga 5:30.

Kitatta olwabadde okutuusibwa ku kkooti, ne ssentebe waayo Lt. Gen. Gutti n’alagira batandike.

Aba famire ya Kitatta, bazze mu bungi ku kkooti nga balina essuubi nti, banaafuna omukisa okusaba okumweyimirira kyokka, kino tekyasobose nga ne looya waabwe, Joseph Kiryowa owa Kiryowa & Co. Advocates, buli lwe yabadde agezaako okwogera nga bamutuuza era teyafunye mukisa kwogera ku musango.

Abasibe baaweereddwa omukisa abatalina munnamateeka abawolereza, Gavumenti ebawe owaayo atali wa kusasulira kyokka abasinga ne bagaana ne basaba Kiryowa abawolereze .

Kino, kyamutabudde ku ngeri y’okutambuzaamu omusango n’ategeeza kkooti nti, baabadde bamuweeredde awo ebiragiro okubawolereza era bwatyo n’asaba omulamuzi omusango okugwongezaayo asooke yeeteeketeeke.

Gutti omusango yalagidde gwongezebweyo okutuusa nga February 27, n’alagira abasibe batwalibwe e Luzira. Kitatta, yakwatibwa nga January 20 e Wakaliga mu Kampala amagye bwe gaali ku muyiggo gw’abatemu abatta eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital e Nakasero.

Abajaasi ba CMI, basooka kukwata muto wa Kitatta, Huzair Kiwalabye (ali Luzira) ne Joel Kibirige eyali agezaako okulemesa abajaasi okukola omulimu gwabwe.

Enkeera ku Lwomukaaga, baazingako Top Radio e Bwaise ne bakwata abakulembeze b’akabinja ka Bodaboda 2010 abaali ku pulogulaamu y’ebyobufuzi.

Akawungeezi, baazingako Vine Hotel e Wakaliga ne bakwata Kitatta, Sowali ne Ssekajja era okuva olwo, babadde mu mikono gy’amagye.

Baasooka kusimbibwa mu kkooti y’amagye ento etuula ku CMI e Mbuya kyokka ne bawakanya obuyinza bwayo okubawozesa okutuusa ssentebe waayo, Col. Tom Kabuye lwe yabasindise mu kkooti y’e Makindye.

Kitatta yavunaaniddwa ne; Joel Kibirige 37, Matia Ssenkuka 32, Hassan Ssebatta, Jonathan Kayondo, Sunday Ssemwogerere 28, John Ssebandeke 32, (ayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka), Hussein Mugema 36, Fred Bwanika 25, ne Amon Twinomujuni bonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.