TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni agenda kussaawo poliisi erwanyisa okubba ebigezo

Museveni agenda kussaawo poliisi erwanyisa okubba ebigezo

By Muwanga Kakooza

Added 14th February 2018

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti gavumenti egenda kussaawo poliisi ey’enjawulo okulwanyisa omuze gw’okubba ebigezo n’agamba nti, ‘’ Mutuwagire tubakambuwalire kubanga bagenda kwonoona ensi yaffe.’’

Kawumu7 703x422

Museveni ng'alambula ennimiro

Museveni era alabudde Bannayuganda okukomya omuze gw’okugabana  ebintu by’abafu naddala ettaka n’agamba nti kigenda kwongera kubaavuwaza.

N’asaba  abantu okuva mu by’endowooza z’obujjajja badde ku by’omulembe n’agamba nti obwavu obuliwo mu Bannayuganda buvudde ku butamanya.

Engeri y’okukyusa embeera eno (okuva mu y’obujjajja okudda ku y’omulembe) yategeezezza nti erina kuyitira mu kusoma, okukola emirimu egivaamu ensimbi nga ne bwe kuba kulima oba kulunda abantu balina kulowooza ku bya kuleeta ssente mu maka so ssi kulima bya kulya.

Bino Pulezidenti yabyogeredde ku ffaamu gy’asomesezZaako abantu ennima n’ennunda ey’omulembe esangibwa e Kawumu mu disitulikiti y’e Luwero.

AYOGEDDE KU MUZE GW'OKUBBA EBIGEZO

Yagambye nti omuze gw’okubba ebigezo gwonoona eggwanga era gavumenti erowoozo ku by’okussawo poliisi ey’enjawulo okulwanyisa obubbi buno.

Yawadde eky’okulabirako nti ebyennyanja byali bigenda kusaanawo mu nnyanja olw’envuba embi okutuuka gavumenti lwe yassaawo  eggye eribirwanyisa embeera n’edda mu nteeko.

Ku kugabana ebintu by’abafu  yagambye nti omuze gugenda kwongera kibavuwaza n’awa eky’okulabirako nti  abantu bazaala abaana bangi ne baleka ne bannamwandu ng’okugabana ebintu buli omu atwalako katono byonna be biggwaawo.

Kino yagambye nti kiba kitegeeza nti omulembe ogugenda okuddawo tegugenda kuba na ttaka, n’awa amagezi waakiri ettaka balikolerero ebigasiza awamu bagabane amagoba.

ASEKEREDDE ABAALI BAMUYEEYA KU BUCUPA

Yasekeredde abaali bamusekerera ng’ayigiriza abantu okufukirira ebirime nga beeyambisa obucupa bw’amazzi n’agamba kati atandise okukungula.

Ku kusima omusenyu mu nnyanja Nalubaale, Museveni yagambye nti Uganda esobola okutandika okukola giraasi okuva mu musenyu. Kyokka n’agamba nti teri ajja kuKkiriza kusima musenyu mu byondo ebyennyanja mwe bizaalira.

AGUMIZZA ABANTU KU BUBBI BW'ETTAKA                                                                                                                                                                                                                                                                                           Ku bubbi bw’ettaka yasabye abantu okutwala okwemulugunya kwabwe eri akakiiko k’omulamuzi Bamugemereirwe n’agamba nti ne bw'anaaba ‘munene’ atya ajja kukolebwako.

Ku bbeeyi y’amafuta erinnya, Museveni yagambye nti kiva ku bbeeyi yaago kulinnya ku katale k’ensi yonna.

Ate ku bukuubagano bw’ebitongole by’okwerinda, Museveni yagambye nti abantu abirimu abakulu be balwanagana era ekyo kigenda kukoma teri ajja kukikiriza.

" Abantu abo (abakulu) balina kulwanyisa mulabe so ssi kulwanagana," Museveni bw'agambye.                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                                         

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...