TOP

Emiranga mu kusabira omuyizi w’e Ndejje

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2018

EMIRANGA n’okwaziirana byasaanikidde ekkanisa ya Mbuya Pentecostal Church bwe baabadde basabira omwoyo gw’omugenzi Timothy Njogera 17, owa Ndejje SSS eyafudde oluvannyuma lw’okufuna akabenje ng’agenda okufuna ebyavudde mu bibuuzo bya S4.

Timothynjogera 703x422

Omugenzi Timothy Njogera

Bya DICKSON KULUMBA ne MUWANGA KAKOOZA

EMIRANGA n’okwaziirana byasaanikidde ekkanisa ya Mbuya Pentecostal Church bwe baabadde basabira omwoyo gw’omugenzi Timothy Njogera 17, owa Ndejje SSS eyafudde oluvannyuma lw’okufuna akabenje ng’agenda okufuna ebyavudde mu bibuuzo bya S4.

Ono ye muyizi owookuna oluvannyuma lwa banne abasatu be yali nabo mu mmotoka okufiirawo ng’akabenje kaakagwawo ku Lwokutaano nga February 9, 2018 okwali; Isaac Ssewajje, Vincent Male, ne Mark Ndugga.

Njogera eyazaalibwa February 11, 2001 we yafiiridde ng’agenda kutegeka kabaga ka mazaalibwa era nga yabadde amaze n’okuyita mikwano gye.

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi, taata w’omugenzi ate era Bisopu ku kkanisa eno, Henry Minaani yategeezezza nti mutabani waabwe okufuna akabenje yali yaakamala okubategeeza nga bw’abategekedde akabaga k’amazaalibwa ge.

“Obulamu bwa Njogera bubadde bwa kyewuunyo era atulekedde okusoomoozebwa kunene kubanga abadde ayise mikwano gye okujja ku kabaga ke ak’amazaalibwa. Minaani bwe yagambye.

 ishop inaani ne mukyala we nga baganzika ekimuli ku ssanduuko yomwana waabwe jogera Bishop Minaani ne mukyala we nga baganzika ekimuli ku ssanduuko y’omwana waabwe Njogera (

 

ETTEEKA KU BIDDUKA LIDDEMU LITUNULWEMU

Dr. Abed Bwanika, akulira ekibiina ky’ebyobufuzi ekya People’s Development Party yasabye eggwanga lirowooze ku kukyusa amateeka, abantu abawezezza emyaka 16 bakkirizibwe okuvuga emmotoka nga bwe kiri mu mawanga amalala.

Yagambye nti kino kye kiviirako abayizi okwebbirira okuvuga emmotoka nga bakadde baabwe tebaliiwo.

“Nsaba kino mukirowoozeeko. Bannayuganda ani yabagamba nti omwana ow’emyaka 16 tasobola kuvuga mmotoka!

Kuba mu kulaba kwange mu katambi, eyali avuga banne yali amanyi emmotoka.

Nga bwe mwasalawo omukadde ow’emyaka 100, abeere ng’asobola okufuga Uganda, nsaba ababaka ba Palamenti be musindika bakozese okufa kw’abaana bano okukyusa amateeka g’ebidduka n’enguudo mu ggwanga lino,” Dr. Bwanika bwe yasabye.

Bp. David Kiganda ye yabadde omubuulizi omukulu. Yasabye abantu okutwala obulamu ng’ekintu ekiriko eyakikwazika ng’ekiseera kyonna akikunonako.

Yawadde eky’okulabirako kye mu kiseera we yabeerera nga talina ssuuti bwatyo ne yeeyazika naye lumu munne yaginona ku lunaku ye (Bp. Kiganda) kwe yalina omukolo n’abeera nga teyalina kyakukola wabula okukkiriza nnanyinni ssuuti agitwale n’amaliriza ng’agumya abazadde nti Njogera Katonda y’amututte.

 isopu inaani ngayaniriza iganda ne mukyala we mu kusaba eggulo tudde ku ddyo ye maama wa jogera Bisopu Minaani ng’ayaniriza Kiganda ne mukyala we mu kusaba eggulo. Atudde ku ddyo ye maama wa Njogera.

 

OMUGENZI BAAMUWA 20,000/- EZ’ENTAMBULA

Bp. Minaani yategeezezza nti yawa Njogera 20,000/- zimutambuze okugenda e Ndejje ku Lwokuna nga February 8,2018 (bo baagenda Lwakutaano) kyokka bwe yali agenda ku makya n’ategeza bazadde be nti agenda kutambula ne mikwano gye noolwekyo emmotoka eno mwe baatambulira, teyagitegeera.

Njogera y’abadde omuggalanda mu famire ey’abaana abataano era agenda kuziikibwa olunaku lwa leero (Lwakuna) ku ssaawa 8:00 ku kyalo Nsanvu e Buikwe- Kyaggwe.

Okusaba kuno kwetabiddwaako abasumba bangi okuli, Apostle Alex Mitala, Pr. Wilson Bugembe, bannabyabufuzi okuli omubaka wa Pulezidenti e Nakawa Jackie Kemigisha, Joseph Mabirizi eyeesimbawo ku Bwapulezidenti.

Amassomero gye yasomera okuli Mbuya Parents Primary School ne Ndejje SS baayogedde ku bitone by’abadde nabyo okuli eky’obukulembeze.

POLIISI EYIGGA EYAWADDE ABAYIZI EMMOTOKA

Poliisi eri ku muyiggo gwa Julius Ssenyonjo, omukozi w’eddwaaliro lya Turkish Dental Clinic e Kamwokya, eyabadde aweereddwa emmotoka omwafiiridde abayizi bano nga bagenda okukima ebyavudde mu bigezo bya S4 wiiki ewedde.

Charles Ssebambulidde, omwogezi wa Poliisi y’ebidduka yategeezezza nti ab’eddwaaliro eryo be bannannyini mmotoka eno ey’ekika kya Brevis nnamba UAR 860W.

Yategeezezza nti Peace Letioabe ow’eddwaaliro lya Turkish yabatuukiridde n’akkiriza nti emmotoka yaabwe, kyokka nga beewuunyizza okugiraba mu mawulire nti yabaddemu abayizi abaafiiridde mu kabenje.

Baategeezezza nti emmotoka baagikwasa Julius Ssenyonjo era tebamanyi oba ye yagibawadde batambuliremu.

Poliisi egamba nti singa Ssenyonjo anaaba akwatiddwa y’ajja okusobola okunnyonnyola engeri abayizi bano gye baafunamu emmotoka gye yali alabirira. Yasabye omuntu yenna amulabyeko okutegeeza poliisi emuli okumpi.

Abayizi abaafudde kwabaddeko; Vincent Male mutabani wa Town Clerk w’e Kasangati Harriet Nakyazze ne bba Kawuma, Isaac Ssewajje mutabani wa George Ssonko e Kawanda, Mark Cedrick Muwanguzi Ndugga ne Timothy Njogera.

Kino kiddiridde bazadde b’abaana bano okutegeeza nti emmotoka teyabadde yaabwe.

Taata w’omuyizi Male eyabadde avuga emmotoka eyafunye akabenje yagambye nti tamanyi mutabani we gye yaggye mmotoka kuba enteekateeka gye baabadde nayo ya maama we okumuvuga.

 aasita ilson uhweza owokubiri ku kkono owa evine lessings hurch e amugongo ngali ne asita ilson ugembe owookubiri ku ddyo owa ight the orld hurch e ansana nabo baabaddeyo Paasita Wilson Ruhweza (ow'okubiri ku kkono) owa Devine Blessings Church e Namugongo ngali ne Pasita Wilson Bugembe (owookubiri ku ddyo) owa Light the World Church e Nansana nabo baabaddeyo

 

  ‘Abazadde tubeere bakalondoozi’

ABAKULEMBEZE ab’enjawulo bawadde endowooza zaabwe ku nkuza y’abaana nga bakiggya ku bayizi b’e Ndejje SS abaafunye akabenje ne bafa;

Josephine Kasaato, Pulezidenti wa Mothers Union mu Bulabirizi bw’e Namirembe: Omuzadde alina okubuulira omwana obulabe obuli mu kukozesa ekintu kyonna mu bukyamu. Ne bw’oba n’obusobozi okutuusa ku mwana buli kye yeetaaga, mugerere ebintu by’omuwa.

Okubeera ne ssente tekitegeeza kumuwa binaamwonoona. Towa mwana ssente nga tomubuuzizza ky’agenda kuzikozesa, buli ky’agenda okukozesa muyigirize asookenga kufuna lukusa. Tubeere bakalondoozi b’abaana ku ssomero n’awalala.

Samuel Kalanzi Sserwanga akulira abasajja Abakristaayo e Namirembe: Omwana mukulirize mu bulamu obw’okutya Katonda okuva mu buto, ajja kubeera ng’atya okukola ekintu kyonna nga teyeebuuzizza ku muzadde kubanga abeera atya okwonoona mu maaso ga Katonda.

Omwana muyigirize okubeera omwetoowaze mu buli ky’akola, okuwa abantu abakulu ekitiibwa, abeera ng’atya okukwanukula okuwakanya ky’omulagidde okukola. Omwana mufuule mukwano gwo abeere ng’akweyabiza. Buli ky’agenda okukola ajja kukwebuuzaako aleme kugwa mu nsobi.

Ezekiel Luggya Lwasi: Omwana mulage omukwano, bw’otomulaga kwagala buli kiseera agenda kubeera ng’akutya. Omwana bw’obeera omwagala, ajja kukweyabiza okubuulire ne by’obadde tosuubira. Fissaawo akadde owerekere ku mwana ng’agenda ku ssomero.

Awaka bwe wabeerawo emmotoka, omwana tomala gagimulekera. Bw’olaba ng’akuze mutwale atendekebwe okuvuga mmotoka. Nze nasooka kubatwala mu ‘driving school’ ne ndyoka mbalekera emmotoka.

Samuel Lwandasa Omusumba wa Mt Lebanon Christian Center Church Cathedral Mukono: Kyandibadde kirungi omuzadde n’anonera omwana ebigezo kubanga omwana olutegeera nti ayitidde waggula acamuka ekiyinza okumuleetera okukola ebikyamu.

Abawa abantu olukusa okuvuga mmotoka bandibadde bagabira abo bokka be bakakasizza nti ddala bayize era bafunye obumanyirivu obwetaagisa.

Robert Peter Kabanda yali sipiika wa Mukono: Omuzadde osaana okubuulirira ennyo omwana, si mu bigambo mwokka wabula we kyetaagisa omulage n’ebikolwa.

Abazadde abalina obusobozi musaana okwewala okulaga abaana nti mwabateekerateekera dda, kiyinza okubaviirako okwewanika ne bakola ebitasaana.

Omuzadde osaana okulondoola ennyo abaana bye bakola naddala mu bifo gy’otobeera okubatangira okukola ebitasaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe