
Richard Kamugisha (ku kkono) David Kironde ne Nasser Kibirige nga baggyibwa ku poliisi ya CPS okutwalibwa mu kkooti ya LDC e Makerere.
Bya Eria Luyimbazi ne Pheobe Lunkuse
ABANTU abeekobaana ne bafera omusuubuzi obukadde 600 nga bamuguza zaabu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa emisango emirala.
Bano okuli Stella Birungi Dindi, David Kironde , Richard Kamugisha, Nasser Kibirige ne Yazidi Kabonge be baavunaaniddwa mu kkooti ya LDC e Makerere oluvannyuma lw’okusomebwa emisango egy’enjawulo omuli ogw’okugezaako okufera omusuubuzi Nasri Akil.
Bano poliisi yasooka kubakwatira ku kkooti ya City Hall ku Lwokutaano nga February 9, 2018 oluvannyuma lwa poliisi okubaako fayiro endala ezaali zibalindiridde nga beetaagisa okutwalibwayo bavunaanibwe.
Mu kkooti ya City Hall baavunaanibwa emisango gy’okufera omusuubuzi okuva mu ggwanga lya Lebanon Muhammad Soubhi Assi obukadde 687.
Mu kubakwatira ku kkooti waaliwo okusika omuguwa wakati w’abajaasi ne poliisi abaali balemesa okubakwata, wabula poliisi n’ebasinza amaanyi n’ebakwata ne batwalibwa ku CPS ne baggalirwa .
Eno gye baggyiddwa ne batwalibwa mu kkooti ya LDC.

Mu kkooti ya LDC omulamuzi George Watyekere yabasomedde emisango omuli okwekobaana okuzza omusango gw’okufuna ssente akawumbi kamu n’obukadde 602 okuva ku Nasri Akil nga bagezaako okumulimba nti bamuguza zaabu omutuufu kkiro 14 n’okugezaako okumuggya ko ssente obukadde 163.
Emisango emirala kuliko okusaalimbira mu ‘laabu’ ya Yunivasite e Makerere nga kino kyaliwo nga January 10, 2018 nga balina ekigendererwa eky’okufera Nasri Akil.
Kamugisha ye yayongeddwaako omusango ogw’okweyita ky’atali bwe yeefuula omukozi mu ‘laabu’ ya yunivasite y’e Makerere nga y’omu ku beekebejja ebintu.
Munnamateeka w’abavunaanibwa, Simon Peter Musangala yeemulugunyizza olw’okukwata abantu be nga baakayimbulwa mu kkooti ya City Hall era ne baddamu okuvunaanibwa emisango gye gimu n’asaba ku mulundi guno kkooti ekkirize okweyimirirwa.

Wabula omuwaabi wa gavumenti, Roy Karungi yasabye omulamuzi Watyekere aweebwe ennaku bbiri asooke yeetegereze ebiwandiiko by’abaavuddeyo okubeeyimirira n’okwetegereza fayiro z’emisango egibavunaanibwa eri ku City Hall.
Omulamuzi Watyekere yasindise abavunaanibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira n’alagira bakomezebwewo ku Lwokuna lwa wiiki eno.