TOP

Omulangira Joel Kateregga aziikibwa leero

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2018

Omulangira Joel Kateregga aziikibwa leero

Ki1 703x422

Joe Kateregga agenda okuziikibwa leero

OMULANGIRA Joel Kateregga ng’ono yeyakuba Pulani y’ebizimbe by’Obwakabaka okuli  Muganzirwazza ne  Bulange Plaza oluvanyuma ekyatuumibwa Masengere aziikibwa leero ku kiggya ky’Abalangira e  Nambeeta-Buttakesu mu Busiro.
 
Ono yavudde mu bulamu bw’ensi ku Lwokusatu February 14,2018 mu International Hospital Kampala e Namuwongo mu Kampala oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga mukosefu.
 
Kateregga abadde mmemba ku lukiiko olufuga Buganda Land Board era akulira emirimu mu kitongole kino, David Kyewalabye Male yategezezza nti omugenzi abasadde nnyo kubanga abadde n’obukugu obutasangika.
 
“Arch. Kateregga yakulemberamu ekiteeso mu bboodi okutandikawo ekiwayi ekiteekerateekera ettaka mu Buganda  Land Board (Physical Planning Unit) era abadde ku kakiiko ka bboodi akateekerateekera ettaka n’okugaba liizi.
 
Omulangira muwi w’amagezi eri ekiwayi ekiteekerateekera ettaka mu kitongole kino,” Obubaka bwa BLB obwogera ku mugezi bwe busoma.
 
Omukolo BLB kweyagabira ebyapa nga December 7,2017 yaguliko era kwoolwo naye yakwasibwa ekyapa ku limu ku ttaka lye kyokka okuva mu bbanga eryo yayongera okunafuwa.
 
Abadde ku nkiiko eziwerako ez’ebitongole era mmemba mu kibiina ekigatta abakubi ba Pulani abakugu ng’omwaka oguwedde banne bamuwa ekirabo ng’omukubi wa Pulani asinga.
 
Wafiridde nga y’omu ku bakubi ba Pulani mu Pulojekiti y’amayumba ey’e Nakawa- Naggulu era akubye Pulani z’ebizimbe nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....